Yow 7
7
1Oluvannyuma, Yezu n'ayitaayita mu Galilaaya; teyayagala kuyitaayita mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta. 2#Abal 23,34; Et 16,13.Embaga enkulu ey'Abayudaaya ey'Ensiisira yali kumpi. 3Baganda be ne bamugamba nti: “Vva wano, olage mu Buyudaaya n'abayigirizwa bo eyo balabe ku ebyo by'okola. 4Mpaawo akolera mu nkiso sso ng'agenderera okumanyika mu lwatu; oba ggwe okola bino, weeyoleke ensi.” 5Ne baganda be bennyini baali tebamukkiriza. Yezu n'abagamba nti: 6“Akadde kange tekannatuuka; mmwe akadde akammwe bulijjo weekali. 7Mmwe ensi teyinza kubakyawa; naye nze enkyawa kubanga ngirumiriza nti ebikolwa byayo bibi. 8Mmwe mwambuke ku mbaga enkulu; naye nze sijja kwambuka ku mbaga eno enkulu, kubanga akadde kange tekannatuukirira.” 9Bwe yamala okwogera ebyo, ye n'agira ng'asigala mu Galilaaya. 10Baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga enkulu, naye n'alyoka ayambuka, si mu lwatu wabula mu kyama.
11Abayudaaya ne bamumagamaga ku mbaga enkulu nga bagamba nti: “Ali ludda wa ono?” 12Oluvuuvuumo ne luba lunene mu bantu; abamu nga bagamba nti: “Muntu mulungi;” ko abalala nti: “Nedda, awubisa abantu.” 13Naye ddala nga tewali amwogerako mu lwatu olw'okutya Abayudaaya.
Yezu ayigiriza mu Kiggwa
14Embaga enkulu ng'etuuse mu makkati, Yezu n'ayambuka mu Kiggwa, n'ayigiriza. 15Abayudaaya ne beewuunya, ne bagamba nti: “Omuntu ono ng'alina amagezi sso nga tayigangako?” 16Yezu n'abaddamu nti: “Enjigiriza yange si yange, naye y'oli eyantuma. 17Buli alyagala okukola oli ky'ayagala, alitegeera oba enjigiriza yange eva wa Katonda, nandiki yange ku bwange. 18Ayogera ku bubwe agoberera kitiibwa kye; naye agoberera ekitiibwa ky'oli eyantuma oyo aba wa mazima, mu ye temuba bulimba. 19Musa teyabawa etteeka? Sso mu mmwe temuli akwata tteeka eryo. Munnoonyeza ki okunzita?” 20Ekibiina ne kyanukula nti: “Olimu omwoyo omubi. Ani anoonya okukutta?” 21Yezu n'ayanukula nti: “Nkoze kimu kyokka, mwenna ne mwewuunya. 22#Amas 17,10; Abal 12,3.Musa yabawa okutayirirwa, - sso tekwava ku Musa wabula mu bajjajjammwe - naye ne ku Sabbaato omuntu mumutayirira. 23#5,9.Oba omuntu atayirirwa ku Sabbaato, etteeka lya Musa lireme kumenyebwa, olwo nze ne munsunguwalira olw'okuwonya omuntu ku Sabbaato? 24Temusala musango nga musinziira ku ndabika, naye mulamulenga n'ennamula entuufu.”
Abantu beewunaganya ku Yezu
25Ab'omu Yeruzaalemu abamu baali bagamba nti: “Ono si gwe banoonya okutta? 26Ate nga wuuno ayogera kyere; tewali amuwuunako. Tekyandiba ng'abakulu bamutegeeredde ddala nga ye Kristu? 27Naye ono tumanyi gy'asibuka; sso nga Kristu bw'alijja, tewaliba amanya gy'ava.” 28Yezu n'ayogerera waggulu ng'ayigiriza mu Kiggwa n'agamba nti: “Weewaawo nze mmumanyi, ne gye nva mumanyiiyo, naye sajja ku bwange, wabula ow'amazima yennyini ye yantuma, mmwe gwe mutamanyi. 29Nze mummanyi, kubanga nva mu ye, yennyini ye yantuma.” 30Baali bayiiyayiiya ag'okumukwata, naye ne wataba muntu amussaako ngalo kubanga akadde ke kaali tekannatuuka. 31Naye bangi mu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti: “Kristu bw'alijja, alikola ebyewuunyo ebisinga ono by'akoze?”
32Abafarisaayo ne bawulira ekibiina nga kimwemuumuunyaako; awo bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne batuma abaweereza bamukwate. 33Yezu n'abagamba nti: “Nkyali nammwe ebbanga ttono, olwo ŋŋende eri oli eyantuma; 34mulinnoonya, naye temulinzuula; nze we ndi mmwe temuyinza kutuukawo.” 35Abayudaaya ne bagambagana nti: “Ono ategeka kugenda wa gye tutalimuzuula? Ategeka kugenda mu baasaasaanira mu Bagereeki, ayigirize Abagereeki? 36Ategeeza ki bw'agamba nti: ‘Mulinnoonya naye temulinzuula,’ ate nti: ‘Nze we ndi mmwe temuyinza kutuukawo’?”
Ab'omu Lukiiko beetemamu olwa Yezu
37 #
Abal 23,36. Ku lunaku olwafundikira embaga enkulu Yezu n'ayimirira mu Kiggwa n'ayogerera waggulu nti: “Buli alumwa ennyonta ajje gye ndi, 38#Ez 47,1; Zak 14,8; Yis 44,3; 55,1; 58,11.n'akkiriza nze anywe; ng'Ekiwandiiko ekitukuvu bwe kigamba nti: ‘Mu mutima gwe mulifumbulukukamu emigga gy'amazzi amalamu.’ ” 39#12,23; 20,22.Mu ekyo yategeeza Mwoyo, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna; kubanga Mwoyo yali tannagabibwa, kubanga Yezu yali tannaba kugulumizibwa.
40Abamu mu kibiina ekyo bwe baawulira ebigambo bye ebyo, ne bagamba nti: “Ono ye Mulanzi ddala oli.” 41Abalala ne bagamba nti: “Ono ye Kristu.” Naye abalala ne bagamba nti: “Kristu alisibuka mu Galilaaya? 42#2 Sam 7,22; Mik 5,2; Luk 2,4.Ebiwandiiko tebigamba nti: ‘Mu zzadde lya Dawudi, mu kyalo Beteleemu, Dawudi mwe yabeeranga, Kristu mw'aliva?’ ” 43Awo empaka ne zisituka mu kibiina okubeera ye. 44Abamu mu bo ne baagala okumukwata; naye ne wataba amussaako ngalo.
45Abaweereza ne baddayo eri bakabona abakulu n'eri Abafarisaayo; bo ne babagamba nti: “Lwaki temumuleese?” 46Abaweereza ne baddamu nti: “Mpaawo yali ayogedde nga muntu ono.” 47Abafarisaayo ne babaddamu nti: “Muwubisiddwa nammwe? 48Kale mu bakabona abakulu oba mu Bafarisaayo mulimu eyali amukkirizza, 49wabula ekibiina kino, abatamanyi tteeka, abakolimire?” 50#3,1-2.Awo Nikodemo, oli eyagenda gy'ali mu kusooka, yali omu mu bo, n'abagamba nti: 51“Etteeka lyaffe lisalira omuntu omusango nga terimaze kumuwuliriza ne limanya ky'akoze?” 52Bo ne bamuddamu nti: “Kazzi naawe oli Mugalilaaya? Wekenneenye Ebiwandiiko olabe; e Galilaaya teva mulanzi.”
Omukazi eyakwatirwa mu bwenzi
53 # 7,53 Ezimu ekitundu 7,53-8,11 zikirekayo. Kyandiba nga tekyawandiikibwa Yowanna, wabula Luka, nga wano baasonsekamu kisonseke oluvannyuma, ezimu kyeziva zikiddiriza Luk 21,38. Ne baddayo buli omu ewuwe.
Currently Selected:
Yow 7: BIBU1
Tõsta esile
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.