OKUVA E MISIRI 13
13
Okuwaayo eri Mukama abaana abaggulanda
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Onompanga abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi. Mu Bayisirayeli buli mwana ow'obulenzi omuggulanda wange. Era n'ensolo ennume esooka okuzaalibwa yange.”#Laba ne Kubal 3:13; Luk 2:23
Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa
3Musa n'agamba abantu nti: “Mujjukirenga olunaku luno lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugirwamu obuddu. Mukama yabaggya mu nsi eyo ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. Ku lunaku luno temuulyenga migaati gizimbulukusiddwa. 4Ku lunaku luno mu mwezi ogwa Abibu, lwe munaagenda. 5Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani n'Abahiiti, n'Abahiivi, n'Abayebusi, gye yalayirira bajjajjammwe nti aligibawa mmwe, ensi engagga era engimu, munaakolanga omukolo guno mu mwezi guno. 6Okumala ennaku musanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, era ku lunaku olw'omusanvu, wanaabangawo embaga okugulumiza Mukama. 7Emigaati egitazimbulukusiddwa gye ginaaliibwanga mu nnaku ezo omusanvu. Tewaabenga migaati gizimbulukusiddwa, wadde ekizimbulukusa mu nsi yammwe yonna. 8Ku lunaku olwo, munannyonnyolanga abaana bammwe nti: ‘Kino tukikola olw'ebyo Mukama bye yatukolera bwe twava mu Misiri.’ 9Kino kinaabanga ng'akabonero akateekeddwa ku mukono gwo oba mu kyenyi kyo, kikujjukizenga okwatulanga amateeka ga Mukama, ge wayiga, kubanga Mukama yakuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. 10Buli mwaka kyonoovanga okuuma etteeka lino mu biseera byalyo ebyaliteekerwawo.
Abaana abaggulanda
11“Mukama bw'alibatuusa mu nsi y'Abakanaani nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajjammwe nti aligibawa, 12munaawangayo eri Mukama abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi. Abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi banaabanga ba Mukama, era n'ensolo eza sseddume ezisooka okuzaalibwa, zinaabanga zize.#Laba ne Kuv 34:19-20; Luk 2:23 13Naye omwana gw'endogoyi ogwa sseddume ogusooka okuzaalibwa, munaagununulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Era oba nga temwagala kugununula, mugumenyanga ensingo. Era munaanunulanga abaana bammwe abaggulanda bonna ab'obulenzi. 14Era mu biseera ebijja, abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Kino kitegeeza ki?’ Munaabaddangamu nti: ‘Mukama yakozesa obuyinza bwe obw'amaanyi n'atuggya mu Misiri, mwe twafugirwanga obuddu. 15Kabaka w'e Misiri bwe yaguguba, n'agaana okutuleka okugenda, Mukama n'atta mu nsi y'e Misiri abaana abaggulanda bonna ab'obulenzi, n'ensolo zonna eza sseddume ezisooka okuzaalibwa. Kyetuva tuwaayo ekitambiro eri Mukama ekya buli kisolo ekya sseddume ekisooka okuzaalibwa, naye ne tununula abaana baffe abaggulanda bonna ab'obulenzi.’ 16Era ekyo kinaabanga ng'akabonero akateekebwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi byammwe, okubajjukizanga nga Mukama bwe yabaggya mu Misiri, ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi.”
Empagi ey'ekire n'empagi ey'omuliro
17Awo kabaka w'e Misiri bwe yamala okuleka abantu okugenda, Katonda n'atabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y'Abafilistiya, newaakubadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yagamba nti: “Sikulwa ng'abantu bakyusa ebirowoozo byabwe, ne baddayo e Misiri, bwe baliraba nga bateekwa okulwana.” 18Kyeyava abeekooloobesa mu kkubo ery'omu ddungu, ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu. Abayisirayeli baava mu nsi ey'e Misiri nga balina ebyokulwanyisa.
19Bwe baali nga bagenda, Musa n'atwala amagumba ga Yosefu, nga Yosefu bwe yalayiza Abayisirayeli ng'agamba nti: “Katonda bw'alibanunula, mutwalanga amagumba gange nga muva wano.”#Laba ne Nta 50:25; Yos 24:32 20Abayisirayeli ne bava mu Sukkoti nga batambula, ne basula mu Etamu, ku nsalo n'eddungu. 21Emisana Mukama n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'ekire okubalaga ekkubo, ekiro n'abakulemberamu ng'ali mu mpagi ey'omuliro okubawa ekitangaala, balyoke basobole okutambula emisana n'ekiro. 22Bulijjo empagi ey'ekire yabakulemberangamu emisana, empagi ey'omuliro n'ebakulemberangamu ekiro.
Actualmente seleccionado:
OKUVA E MISIRI 13: LB03
Destacar
Compartir
Copiar

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.