OKUVA E MISIRI 12
12
Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
1Mukama n'agamba Musa ne Arooni mu nsi ey'e Misiri nti:#Laba ne Leev 23:5; Kubal 9:1-5; 28:16; Ma 16:1-2 2“Omwezi guno munaagubalanga nga gwe mukulu mu myezi, era nga gwe mubereberye mu mwaka gwammwe. 3Mutegeeze ekibiina kyonna ekya Yisirayeli nti ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, buli ssemaka alonde endiga ento olw'ab'omu maka ge, endiga ento emu buli maka. 4Ab'omu maka ge bwe baba abatono nga tebaamaleewo ndiga nto eyo, beegatta n'ab'omu maka ga muliraanwa we, okusinziira ku bantu nga bwe benkana obungi, ne ku buli omu nga bw'asobola okulya. 5Muyinza okulonda endiga ento oba embuzi ento eya sseddume, nga ya mwaka gumu, era nga teriiko kamogo. 6Mugikuume okutuuka ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, olwo eya buli maka eryoke ettibwe olweggulo ng'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli kikuŋŋaanye. 7Abantu batoole ku musaayi basiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi ez'ennyumba mwe banaaguliira. 8Balye ennyama yaagwo mu kiro ekyo nga njokye, era bagiriireko emigaati egitazimbulukusiddwa, n'enva ezikaawa. 9Temugirya nga mbisi oba nga nfumbe mu mazzi, wabula nga njokye yonna ku muliro: n'omutwe n'ebigere, n'ebyomunda. 10Era temubaako gye mulekawo okutuusa enkya. Bwe wabaawo esigaddewo, mugisaanyeewo n'omuliro. 11Munaagirya mangu mangu, nga mwetegekedde olugendo: nga mwesibye ebimyu, nga mwambadde n'engatto mu bigere, era nga mukutte n'omuggo mu ngalo. Eyo y'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako kwa Mukama, 12kubanga mu kiro ekyo nja kuyita mu nsi ey'e Misiri, nzite buli mwana omuggulanda ow'abantu n'ow'ensolo, era mbonereze balubaale bonna ab'e Misiri, Nze Mukama. 13Bwe nnaaba mbonereza ensi ey'e Misiri, omusaayi ku myango gy'enzigi, gwe gunaaba akabonero akalaga ennyumba ze mulimu. Bwe nnaalaba omusaayi, mbayiteko mmwe nneme kubakolako kabi. 14Olunaku olwo munaalukuumanga okujjukira ebyo Nze Mukama bye nkoze. Munaalukuumanga ennaku zonna, nga lunaku lukulu, era nga lwa tteeka ery'olubeerera.#Laba ne Kuv 23:15; 34:18; Leev 23:6-8; Kubal 28:17-25; Ma 16:3-8
Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa
15“Okumala ennaku musanvu, munaalya migaati egitazimbulukusiddwa. Ku lunaku olw'olubereberye, munaggya ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga mu nnaku ezo omusanvu, buli anaalya emigaati egizimbulukusiddwa, anaaba takyabalirwa mu Bayisirayeli. 16Ku lunaku olw'olubereberye n'olw'omusanvu, munaakuŋŋaana okusinza. Tewaabe mirimu gikolebwa mu nnaku ezo, okuggyako egyetaagisa okuteekateeka emmere gye munaalya.
17“Mukuumanga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, kubanga ku lunaku olwo lwennyini lwe nnaggyirako ebika byammwe mu nsi ey'e Misiri, kyemunaavanga mulukuuma ennaku zonna nga lwa tteeka ery'olubeerera. 18Okuva mu kawungeezi ak'olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi omubereberye, okutuusa ku kawungeezi ak'olunaku olw'amakumi abiri mu olumu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa. 19Mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa tekiibeerenga mu nnyumba zammwe, kubanga buli alirya ekizimbulukusiddwa, k'abe mugwira oba mwana nzaalwa, aliba takyabalirwa mu kibiina kya Yisirayeli. 20Temuulyenga kizimbulukusiddwa; naye mu maka gammwe, mulyenga migaati egitazimbulukusiddwa.”
Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako eyasooka
21Musa n'ayita abakulembeze bonna ab'Abayisirayeli, n'abagamba nti: “Buli omu mu mmwe alonde omwana gw'endiga oba embuzi ento, amaka gakuze Okuyitako. 22Munaakwata akaganda k'obuti obuyitibwa yisopo, ne mukannyika mu musaayi oguli mu kibya, mugusiige ku myango gyombi egy'enzigi, ne waggulu w'enzigi z'ennyumba zammwe. Tewaba n'omu ku mmwe afuluma nnyumba ye, okutuusa ku makya. 23Mukama bw'anaayita okutta Abamisiri, n'alaba omusaayi waggulu w'enzigi ne ku myango gyombi, anaayita ku mulyango, n'ataleka muzikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe kubatta.#Laba ne Beb 11:28 24Ekyo linaabanga tteeka, mmwe n'abaana bammwe lye munaakuumanga ennaku zonna. 25Awo bwe muliba mutuuse mu nsi, Mukama gy'alibawa nga bwe yasuubiza, munaakuumanga omukolo ogwo. 26Abaana bammwe bwe banaababuuzanga nti: ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 27Munaddangamu nti: ‘Kye kitambiro eky'Okuyitako kwa Mukama, kubanga yayita ku nnyumba z'Abayisirayeli mu Misiri, bwe yatta Abamisiri, naye n'ataliza ennyumba zaffe.’ ”
Abayisirayeli ne bakutamya emitwe gyabwe ne basinza. 28Awo ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni.
Abaana abaggulanda bafa
29Awo mu ttumbi, Mukama n'atta abaana bonna abaggulanda ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mwana omuggulanda owa kabaka eyali atudde ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku mwana ow'omusibe mu kkomera. Era n'abaana ababereberye ab'ensolo nabo ne bafa.#Laba ne Kuv 4:22-23 30Mu kiro ekyo kabaka n'abakungu be era n'Abamisiri bonna ne bagolokoka. Ne wabaawo okukuba ebiwoobe mu Misiri, kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. 31Mu kiro ekyo kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Musituke, muve mu bantu bange, mmwe mwembi n'Abayisirayeli, mugende muweereze Mukama, nga bwe mwasaba. 32Mutwale endiga n'embuzi n'ente zammwe nga bwe mwasaba, mugende. Nange munsabire omukisa.”
33Abamisiri ne bakubiriza abantu banguwe okuva mu Misiri, kubanga baagamba nti: “Tujja kufa ffenna!” 34Abantu ne bajjuza ebibbo byabwe obuwunga obw'eŋŋaano obugoyeddwa, naye nga tebuzimbulukusiddwa, ebibbo ne babisiba mu ngoye zaabwe, ne basitulira ku bibegabega byabwe. 35Abayisirayeli baali bakoze nga Musa bwe yabagamba: nga basabye Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu era n'engoye.#Laba ne Kuv 3:21-22 36Mukama n'abawa okwagalibwa mu Bamisiri, ne babawa bye baasaba. Bwe batyo Abayisirayeli ne batwala ebyobugagga by'Abamisiri.
Abayisirayeli bava mu Misiri
37Abayisirayeli ne batambuza bigere okuva e Rameseesi okutuuka e Sukkoti. Baali abasajja emitwalo nga nkaaga, nga tobaze bakazi na baana. 38Abantu bangi nnyo ab'ekintabuli ne bagenda wamu nabo, n'amagana g'endiga n'embuzi n'ente. 39Ne bafumba emigaati egitazimbulukusiddwa, nga batoola ku buwunga obugoyeddwa, bwe baggya mu Misiri, kubanga baagobwa mangu mu Misiri nga tebannaba kubuteekamu kizimbulukusa, era nga tebannaba kwefumbira mmere.
40Abayisirayeli baali bamaze emyaka ebikumi bina mu asatu mu Misiri.#Laba ne Nta 15:13; Bag 3:17 41Ku lunaku olwo lwennyini emyaka egyo ebikumi ebina mu asatu lwe gyaggwaako, ebika byonna eby'abantu ba Mukama ne biryoka biva mu Misiri. 42Kyali ekiro Mukama kye yakuumiramu okubaggya mu Misiri. N'olwekyo ekiro ekyo kyennyini kinaakuumibwanga Abayisirayeli nga kya Mukama mu biseera byabwe byonna eby'omu maaso.
Amateeka ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako
43Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Gano ge mateeka ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Omugwira taagiryengako. 44Naye omuddu gwe mwagula anaagiryangako, nga mumaze kumukomola. 45Omugenyi n'omukozi akolera empeera, nabo tebaagiryengako. 46Eneeriirwanga mu nnyumba mw'eteekeddwateekeddwa. Temuufulumyenga bweru wa nnyumba ku nnyama ya mbaga eyo, era temuumenyenga ggumba na limu ery'ennyama eyo.#Laba ne Kubal 9:12; Yow 19:36 47Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli kinaakuzanga embaga eno. 48Naye omusajja atali mukomole taagiryengako. Omugwira asenze mu mmwe, bw'anaayagalanga okukuza Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, okugulumiza Mukama, abasajja bonna ab'omu maka ge, banaamalanga kukomolebwa. Olwo anaayisibwanga ng'Omuyisirayeli enzaalwa, n'akkirizibwa okugikuza. Naye atali mukomole, taagiryengako. 49Amateeka ago ganaakuumibwanga Abayisirayeli enzaalwa, n'abagwira abasenze mu mmwe.”
50Abayisirayeli bonna ne bawulira, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Arooni. 51Ku lunaku olwo Mukama n'aggya ebika by'Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri.
Actualmente seleccionado:
OKUVA E MISIRI 12: LB03
Destacar
Compartir
Copiar

¿Quieres guardar tus resaltados en todos tus dispositivos? Regístrate o Inicia sesión
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.