YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 7

7
Obulombolombo bw'Abayudaaya
(Laba ne Mat 15:1-9)
1Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka abaali bavudde e Yerusaalemu, bwe baakuŋŋaanira awali Yesu, 2ne balaba abamu ku bayigirizwa be nga baliisa engalo ezitatukuziddwa, kwe kugamba, nga tebazinaabye ng'obulombolombo bw'Abayudaaya bwe bulagira.
3Abafarisaayo n'Abayudaaya abalala bonna, baakuumanga empisa ya bajjajjaabwe ey'obutalya nga tebamaze kunaaba mu ngalo, ng'obulombolombo bwabwe bwe bulagira. 4Era bye baggyanga mu katale nga tebabirya, okuggyako nga bimaze okutukuzibwa. Baalina n'obulombolombo obulala bungi bwe baakuumanga, ng'okwoza ebikopo, ebibya, n'entamu ez'ekikomo.
5Awo Abafarisaayo n'abannyonnyozi b'amateeka ne babuuza Yesu nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe, naye ne balya ng'engalo zaabwe tezitukuziddwa?”
6Yesu n'abaddamu nti: “Bakuusa mmwe, Yisaaya omulanzi eyaboogerako, bye yawandiika bituufu nti:
‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa
mu bigambo bugambo,
naye emitima gyabwe tegindiiko.#Laba ne Yis 29:13
7N'engeri gye bansinzaamu si ntuufu,
kubanga ebigambo eby'abantu obuntu,
bye bayigiriza ng'amateeka ga Katonda.’
8“Muleka ekiragiro kya Katonda, ne mukuuma obulombolombo bw'abantu.”
9N'abagamba nate nti: “Mukola bubi okugaana ekiragiro kya Katonda, mulyoke mukuume obulombolombo bwammwe. 10Musa yalagira nti: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ Era nti: ‘Anaavumanga kitaawe oba nnyina, ateekwa kuttibwa.’#Laba ne Kuv 20:12; 21:17; Leev 20:9; Ma 5:16
11“Naye mmwe mugamba nti: ‘Singa omuntu ategeeza kitaawe oba nnyina nti kye yandimuwadde okumuyamba, kifuuse Korubaani,’ ekitegeeza nti kiwongeddwa eri Katonda, 12olwo nga temukyamukkiriza kubaako kantu na kamu k'akolera kitaawe oba nnyina. 13Bwe mutyo ekyo Katonda ky'agamba ne mukidibya nga mugoberera obulombolombo bwammwe bwe muyigiriza. Era mukola n'ebirala bingi eby'engeri eyo.”
Ebyonoona omuntu
(Laba ne Mat 15:10-20)
14Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu nate, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumpulirize mwenna, era mwetegereze. 15Ebyo omuntu by'alya, si bye byonoona empisa ze, wabula ebyo ebiva mu mutima gwe, bye bizoonoona. [16Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”]#7:16 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno. Oba nga waliwo alina amatu ag'okuwulira, awulire.”
17Olwo n'aleka awo ekibiina ky'abantu, n'ayingira mu nnyumba. Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g'ekyo ky'ayogedde. 18N'abagamba nti: “Bwe mutyo nammwe temutegedde? Temulaba nti omuntu by'alya si bye byonoona empisa ze? 19Emmere teyingira mu mutima gwe, wabula egenda mu lubuto, mw'eva n'efuluma.” (Yesu, mu kwogera bw'atyo, yalaga nti tewali byakulya, abantu bye bateekwa okuziza).
20Era n'agamba nti: “Omuntu by'akola ne by'ayogera, bye byonoona empisa ze, 21kubanga mu mutima gw'omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi, obukaba, obubbi, obutemu, 22obwenzi, okululunkanira ebintu, ebikolwa ebibi ebya buli ngeri, obukumpanya, obuluvu, obuggya, okwogera obubi ku balala, okwekulumbaza, n'obugwagwa. 23Ebintu bino byonna ebibi biva mu mutima, ne byonoona empisa z'omuntu.”
Omukazi alina okukkiriza
(Laba ne Mat 15:21-28)
24Yesu bwe yava awo, n'alaga mu kitundu ekiriraanye ebibuga Tiiro ne Sidoni, n'abeera mu maka agamu, n'atayagala bantu bamanye, kyokka n'atasobola kwekisa. 25Waaliwo omukazi eyalina kawala ke akaliko omwoyo omubi. Bwe yawulira ettutumu lya Yesu, amangwago n'agenda gy'ali, n'afukamira okumpi n'ebigere bye. 26Omukazi oyo teyali Muyudaaya. Yali nzaalwa y'e Fenikiya mu nsi y'e Siriya. N'asaba Yesu agobe omwoyo omubi ku kawala ke.
27Yesu n'amuddamu nti: “Leka abaana, be baba basooka okulya bakkute, kubanga bwe baba tebannakkuta, si kirungi okuddira emmere yaabwe, n'esuulirwa embwa.”
28Omukazi n'addamu Yesu nti: “Weewaawo Ssebo, naye n'embwa, bwe ziba wansi w'emmeeza, zirya ku bukunkumuka obuva ku mmere y'abaana.”
29Yesu n'amugamba nti: “Olw'ebigambo bino by'ozzeemu, weddireyo eka, muwala wo, omwoyo omubi gumuvuddeko.”
30Awo n'addayo eka, n'asanga nga muwala we agalamidde ku buliri, era ng'omwoyo omubi gumuvuddeko.
Yesu awonya kiggala
31Awo Yesu n'ava mu kitundu eky'e Tiiro, n'alaga ku nnyanja y'e Galilaaya, ng'ayita mu bitundu eby'e Sidoni ne Dekapoli. 32Ne wabaawo abaamuleetera kiggala, era eyali tasobola kwogera bulungi, ne bamwegayirira amukwateko.
33Awo Yesu n'aggya omuntu ono mu kibiina ky'abantu, n'amuzza ku bbali, n'amussa engalo mu matu, n'awanda amalusu, n'amukwata ku lulimi. 34Ate n'ayimusa amaaso eri eggulu, n'assa ekikkowe, n'agamba omuntu oyo nti: “Effata”, ekitegeeza nti: “Zibuka.”
35Awo amatu ge ne gazibuka, n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka, n'ayogera bulungi. 36Yesu n'akuutira abantu, kino obutakibuulirako balala. Naye gye yakomya okubakuutira, ate bo gye baakomya okukibunyisiza ddala wonna. 37Bonna abaakiwulira, ne bawuniikirira nnyo, nga bagamba nti: “Byonna abikola bulungi: ababadde abaggavu b'amatu, abasobozesa okuwulira; ate ababadde bakasiru, n'abasobozesa okwogera.”

Currently Selected:

MARIKO 7: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in