YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 6

6
Abe Nazaareeti bagaana okukkiriza Yesu
(Laba ne Mat 13:53-58; Luk 4:16-30)
1Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu nsi y'ewaabwe, n'abayigirizwa be ne bagenda naye. 2Olunaku lwa Sabbaato bwe lwatuuka, n'atandika okuyigiriza mu kkuŋŋaaniro. Abantu bangi abaaliwo. Bwe baawulira by'ayigiriza, ne bawuniikirira! Ne bagamba nti: “Bino byonna yabiggya wa? Magezi ga ngeri ki gano ge yaweebwa? Era asobola atya okukola ebyamagero bino? 3Ono si ye mubazzi, mutabani wa Mariya, era muganda wa Yakobo ne Yose, ne Yuda, ne Simooni? Era bannyina tebabeera kuno naffe?” Awo ne bamukwatirwa obuggya.
4Yesu n'abagamba nti: “Omulanzi assibwamu ekitiibwa wonna wonna, okuggyako mu kitundu ky'ewaabwe, ne mu kika kye, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”#Laba ne Yow 4:44
5Era eno Yesu teyasobola kukolerayo byamagero, okuggyako okuwonyaayo abalwadde abatonotono, ng'abakwatako. 6Yeewuunya nnyo kubanga abantu baayo tebaalina kukkiriza. Awo n'agenda ng'ayigiriza mu byalo ebiriraanyeewo.
Yesu atuma abayigirizwa be ekkumi n'ababiri
(Laba ne Mat 10:5-15; Luk 9:1-6)
7Awo Yesu n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abatuma babiri babiri. Era n'abawa obuyinza okugoba emyoyo emibi ku bantu. 8N'abakuutira nti: “Mu lugendo luno temugenda na kantu na kamu, okuggyako omuggo. Temutwala mmere, wadde ensimbi, oba ensawo ng'ez'abasabiriza.#Laba ne Luk 10:4-11 9Naye mwambale engatto, era buli omu ayambale ekkanzu emu yokka, tatwala yaakubiri.” 10Era n'abagamba nti: “Buli kibuga kye muba mutuuseemu, musule mu maka g'abantu ababaanirizza, okutuusa lwe muliva mu kibuga ekyo. 11Bwe mutuuka mu kifo ne batabaaniriza, oba ne bagaana okubawuliriza, nga muvaayo. Era bwe muba muvaayo, n'enfuufu eba ebakutte ku bigere mugyekunkumulangako, olw'okulabula abantu abo.”#Laba ne Bik 13:51
12Awo abayigirizwa ne bagenda nga bategeeza abantu nti: “Musaanidde okuleka ebikolwa byammwe ebibi.” 13Ne bagoba emyoyo emibi mingi ku bantu. Ne basiiga abalwadde omuzigo ne babawonya.#Laba ne Yak 5:14
Yowanne Omubatiza attibwa
(Laba ne Mat 14:1-12; Luk 9:7-9)
14Awo Kabaka Herode n'awulira ettutumu lya Yesu, kubanga yali ayogerwako wonna. Abamu nga bagamba nti: “Ye Yowanne Omubatiza azuukidde, kyava aba n'obuyinza okukola ebyamagero.”#Laba ne Mat 16:14; Mak 8:28; Luk 9:19
15Naye abalala nga bagamba nti: “Ye Eliya.” N'abalala nti: “Mulanzi, omu ku balanzi ab'edda.”
16Herode bwe yabiwulira n'agamba nti: “Yowanne Omubatiza gwe natemako omutwe, ye azuukidde!” 17Herode yennyini ye yali alagidde, Yowanne akwatibwe era aggalirwe mu kkomera, kino kisanyuse Herodiya, Herode gwe yali awasizza, ng'amusigudde ku muganda we Filipo.#Laba ne Luk 3:19-20 18Yowanne Omubatiza yagambanga Herode emirundi mingi nti: “Tokkirizibwa kusigula muka muganda wo n'omufuula mukazi wo.”
19Kino ne kireetera Herodiya okuwalana Yowanne, n'ayagala n'okumutta, kyokka nga tasobola. 20Herode yali atya Yowanne, ng'amanyi nti Yowanne musajja mwesimbu, era mutuukirivu, kyeyava amukuuma aleme kubaako kabi. Yayagalanga okumuwuliriza, newaakubadde buli lwe yamuwulirizanga, yeeraliikiriranga nnyo mu mutima.
21Naye olunaku lwatuuka, Herodiya n'afuna akakisa. Lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Herode. Herode n'afumba embaga, n'ayita abakungu be, n'abakulu b'abaserikale, n'abantu abatutumufu mu Galilaaya. 22Muwala wa Herodiya bwe yajja n'azina, n'asanyusa nnyo Herode n'abagenyi be. Awo kabaka n'agamba omuwala nti: “Nsaba kyonna ky'oyagala, nnaakikuwa.” 23N'alayira n'okulayira nti: “Kyonna kyonna ky'ononsaba nnaakikuwa, ne bw'onooyagala obwakabaka bwange tubugabanire wakati.”
24Awo omuwala n'afuluma, ne yeebuuza ku nnyina nti: “Kiki kye mba nsaba?” Nnyina n'addamu nti: “Omutwe gwa Yowanne Omubatiza gw'oba osaba.”
25Amangwago omuwala n'ayanguwako okudda eri kabaka, n'amusaba nti: “Kye njagala, kwe kumpeerawo mu kaseera kano, omutwe gwa Yowanne Omubatiza, nga guteekeddwa ku ssowaani.”
26Kino ne kinakuwaza nnyo kabaka, naye olw'okuba nga yali alayidde, ate nga n'abagenyi be bawulidde, n'atayagala kumumma ky'amusabye. 27Amangwago kabaka n'atuma omuserikale omukuumi w'ekkomera okuleeta omutwe gwa Yowanne. Gwe yatuma, n'agenda mu kkomera n'atemako Yowanne omutwe. 28Era n'aguleetera ku ssowaani, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa nnyina. 29Abayigirizwa ba Yowanne bwe baamanya, ne bajja ne batwala omulambo gwe, ne baguziika.
Yesu akkusa abantu enkumi ttaano
(Laba ne Mat 14:13-21; Luk 9:10-17; Yow 6:1-14)
30Awo abatume ne bakomawo awali Yesu, ne bamunyumiza byonna bye baali bakoze ne bye baali bayigirizza. 31Ye n'abagamba nti: “Mujje, tugende mu kifo mwe tunaasobolera okuba ffekka, muwummuleko.” Baali babuliddwa n'akaseera okulya emmere olw'abantu abangi abajjanga we bali. Bano baabanga bavaawo, ng'ate abalala batuuka. 32Awo ne basaabala mu lyato, ne bagenda bokka, mu kifo ekitaalimu bantu.
33Naye abantu bangi ne babalaba nga bagenda, ne babategeera nti be bo. Olwo ne bava mu bibuga byonna, ne bayita ku lukalu, nga bagenda badduka, ne babeesooka mu kifo Yesu n'abayigirizwa be gye baali balaga. 34Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba abantu bangi abakuŋŋaanye, n'abakwatirwa ekisa, kubanga baali ng'endiga ezitalina musumba! Awo n'amala ekiseera kiwanvu ng'abayigiriza.#Laba ne Kubal 27:17; 1 Bassek 22:17; 2 Byom 18:16; Ezek 34:5; Mat 9:36 35Abayigirizwa bwe baalaba ng'obudde bunaatera okuwungeera, ne bajja awali Yesu, ne bamugamba nti: “Ekifo kino kya ddungu, ate n'obudde buubuno buwungeera. 36Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bubuga obuliraanye wano.”
37Yesu n'abaddamu nti: “Mmwe muba mubawa emmere balye.” Bo ne bamubuuza nti: “Oyagala tugende tubagulire emigaati egya denaari ebikumi bibiri,#6:37 denaari ebikumi bibiri: Denaari emu ye yabanga empeera y'omupakasi ey'olunaku olumu. tubawe balye?”
38Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka? Mugende mulabe” Bwe baamala okwetegereza, ne bamugamba nti: “Etaano, n'ebyennyanja bibiri.”
39Awo Yesu n'alagira abantu bonna batuule ku muddo mu bibinja. 40Ne batuula nga bali mu bibinja, ebimu nga birimu abantu kikumi kikumi, ebirala amakumi ataano ataano. 41Yesu n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'ayimusa amaaso eri eggulu, ne yeebaza Katonda. N'amenyaamenya mu migaati, n'agiwa abayigirizwa be bagigabire abantu. Era n'ebyennyanja ebibiri n'abimenyaamenyamu, bonna ne bafuna. 42Buli muntu n'alya n'akkuta. 43Abayigirizwa ne bakuŋŋaanya ebitundutundu by'emigaati n'eby'ebyennyanja ebyasigalawo, ne bijjuza ebibbo kkumi na bibiri. 44Ku bantu abaalya, omuwendo gw'abasajja gwali enkumi ttaano.
Yesu atambula ku mazzi
(Laba ne Mat 14:22-33; Yow 6:15-21)
45Amangwago Yesu n'alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bamukulemberemu, bagende e Betusayida, emitala w'ennyanja, nga ye akyasiibula abantu. 46Bwe yamala okubasiibula, n'ayambuka ku lusozi okusinza Katonda. 47Obudde we bwazibira, ng'abayigirizwa be bali mu lyato ku nnyanja, Yesu ye ng'ali yekka ku lukalu. 48Awo n'abalengera nga bategana okuvuga eryato n'enkasi, olw'omuyaga ogwali gubafuluma gye balaga. Obudde bwali bunaatera okukya, n'ajja gye bali ng'atambula ku mazzi. N'aba ng'ayagala okubayitako. 49Naye bo bwe baamulaba ng'atambula ku mazzi, ne balowooza nti muzimu. Ne baleekaana, 50kubanga bonna baamulaba, ne batya nnyo. Kyokka amangwago n'ayogera nabo, n'abagamba nti: “Mugume omwoyo, ye nze. Temutya!” 51Awo n'asaabala mu lyato mwe baali. Omuyaga ne gulekera awo okukunta. Abayigirizwa be ne bawuniikirira nnyo, 52kubanga ekyewuunyo eky'emigaati baali tebategedde makulu gaakyo. Emitima gyabwe gyali mikakanyavu.
Yesu awonya abalwadde e Gennesareeti
(Laba ne Mat 14:34-36)
53Bwe baatuuka emitala w'ennyanja, mu kitundu eky'e Gennesareeti, ne bagoba ku lubalama. 54Bwe baava mu lyato, abantu ne bategeera Yesu amangwago. 55Ne badduka nga bayita buli wantu mu kitundu ekyo, ne baleeta abalwadde, nga babasitulidde ku butanda, ne babatwala wonna we baawuliranga nti Yesu w'ali. 56Wonna wonna we yalaganga, mu butale, mu bibuga, oba mu byalo, abantu bassanga abalwadde mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, ne bamwegayirira akkirize waakiri bakwate ku lukugiro lw'ekyambalo kye. Era bonna abaakikwatako, baawona.

Currently Selected:

MARIKO 6: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in