MARIKO 8
8
Yesu akkusa abantu enkumi ennya
(Laba ne Mat 15:32-39)
1Awo mu nnaku ezo, abantu ne bakuŋŋaana bangi nate. Bwe baali nga tebakyalina mmere, Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: 2“Abantu bano mbakwatirwa ekisa, kubanga babadde nange ennaku ssatu nnamba, ate tebakyalina kye balya. 3Bwe mbasiibula okuddayo ewaabwe ng'enjala ebaluma, bajja kuzirikira mu kkubo, kubanga abamu baava wala.”
4Abayigirizwa be ne baddamu nti: “Mu ddungu omuntu aggya wa emigaati egiyinza okukkusa abantu bano?”
5Ye n'ababuuza nti: “Mulinawo emigaati emeka!” Ne baddamu nti: “Musanvu.”
6Awo n'alagira abantu batuule wansi. N'atoola emigaati omusanvu, ne yeebaza Katonda, n'agimenyaamenyamu, n'agikwasa abayigirizwa be bagigabire abantu. Ne bagibagabira. 7Baalinawo n'obwennyanja mpa we buzira. Bwe yamala okwebaza Katonda, nabwo n'alagira babubagabire. 8Abantu ne balya ne bakkuta. Abayigirizwa be ne bakuŋŋaanya ebitundutundu ebyalemerawo, ne bijjuza ebibbo musanvu. 9Abantu baali bawera ng'enkumi nnya. 10Awo Yesu n'abasiibula. Amangwago n'asaabala mu lyato wamu n'abayigirizwa be, n'alaga mu kitundu eky'e Dalumanuta.
Abafarisaayo basaba Yesu akabonero
(Laba ne Mat 12:38-42; 16:1-4)
11Abafarisaayo ne bagenda eri Yesu, ne batandika okuwakana naye, ne bamusaba nga bamukema, abawe akabonero akalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.#Laba ne Mat 12:38; Luk 11:16 12Awo n'assa ekikkowe, olw'okulumwa mu mwoyo gwe, n'agamba nti: “Abantu b'omulembe guno lwaki basaba akabonero? Mazima mbagamba nti ab'omulembe guno tewali kabonero kanaabaweebwa.”#Laba ne Mat 12:39; Luk 11:29
13N'abavaako, n'asaabala mu lyato nate, n'alaga ku ludda olulala olw'ennyanja.
Ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'ekya Herode
(Laba ne Mat 16:5-12)
14Awo abayigirizwa ne beerabira okutwala emigaati. Wabula mu lyato baalinamu omugaati gumu. 15Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa eky'Abafarisaayo, n'ekizimbulukusa ekya Herode.”#Laba ne Luk 12:1
16Bo ne bagambagana nti: “Tetulina migaati!”
17Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Lwaki mugambagana nti temulina migaati? N'okutuusa kati temunnaba kwetegereza na kutegeera? Emitima gyammwe gikyali mikakanyavu? 18Mulina amaaso, naye temulaba? N'amatu ge mulina tegawulira? Era temujjukira?#Laba ne Yer 5:21; Ezek 12:2; Mak 4:12 19Bwe nagabira abantu enkumi ettaano emigaati etaano, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Kkumi na bibiri.”
20“Ate bwe nagabira abantu enkumi ennya emigaati omusanvu, mwakuŋŋaanya ebibbo bimeka ebijjudde ebitundutundu ebyalemerawo?” Ne baddamu nti: “Ebibbo musanvu.”
21Awo n'ababuuza nti: “N'okutuusa kati temunnaba kutegeera?”
Yesu awonya muzibe e Betusayida
22Awo Yesu n'abayigirizwa be, ne batuuka e Betusayida. Abantu abamu ne baleeta muzibe awali Yesu, ne bamwegayirira amukwateko. 23Yesu n'akwata muzibe ku mukono, n'amuggya mu kabuga ako. Bwe yamala okufujja amalusu ku maaso ga muzibe, n'okugakwatako, n'amubuuza nti: “Oliko ky'olaba?”
24Muzibe n'alabamu katono, n'agamba nti: “Ndaba abantu abatambula, wabula bandabikira ng'emiti.”
25Yesu n'ayongera okumukwata ku maaso, ne gazibukira ddala, n'alaba bulungi buli kintu. 26Yesu n'agamba eyali muzibe nti: “Genda ewammwe, n'eri mu kabuga toddayo.”
Peetero ayatula ekifa ku Yesu
(Laba ne Mat 16:13-20; Luk 9:18-21)
27Awo Yesu n'agenda n'abayigirizwa be mu bubuga bw'omu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo. Bwe baali nga batambula, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba banjogerako, bampita ani?”
28Ne bamutegeeza nti: “Abamu bakuyita Yowanne Omubatiza. Abalala bagamba nti ggwe Eliya, ate abalala nti oli omu ku balanzi.”#Laba ne Mak 6:14-15; Luk 9:7-8
29Awo n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo.”#Laba ne Yow 6:68-69 30Yesu n'abakuutira, kino baleme kukibuulirako muntu mulala.
Yesu alanga okufa kwe n'okuzuukira kwe
(Laba ne Mat 16:21-28; Luk 9:22-27)
31Awo Yesu n'atandika okubayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ateekwa okubonaabona ennyo, n'okwegaanibwa abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka. Era alittibwa, naye nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.” 32Bino yabyogera mu lwatu.
Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya. 33Kyokka Yesu bwe yakyuka n'atunula emabega, n'alaba abayigirizwa be abalala, n'akangukira Peetero nti: “Nva mu maaso, oli Sitaani! Ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
34Awo Yesu n'ayita ekibiina ky'abantu, n'abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.#Laba ne Mat 10:38; Luk 14:27 35Buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli afiirwa obulamu bwe ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi, alibulokola.#Laba ne Mat 10:39; Luk 17:33; Yow 12:25
36“Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? 37Tewali kintu na kimu, muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe. 38Buli akwatirwa nze n'ebigambo byange ensonyi mu bantu b'omulembe guno abava ku Katonda era ababi, n'Omwana w'Omuntu alimukwatirwa ensonyi lw'alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika abatuukirivu.”
Currently Selected:
MARIKO 8: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.