YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 17

17
Okufuuka kw'endabika ya Yesu
(Laba ne Mak 9:2-13; Luk 9:28-36)
1Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, n'abooluganda Yakobo ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu.#Laba ne 2 Peet 1:17-18 2Awo endabika ye n'efuuka nga balaba. Amaaso ge ne gaakaayakana ng'enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng'omuzira. 3Musa ne Eliya ne balabika nga boogera naye. 4Peetero n'agamba nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Bw'oyagala, nnaazimba wano ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.”
5Bwe yali ng'akyayogera, ekire ekitangalijja ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala, mumuwulirize.”#Laba ne Nta 22:2; Ma 18:15; Zab 2:7; Yis 42:1; Mat 3:17; 12:18; Mak 1:11; Luk 3:22
6Abayigirizwa bwe baawulira, ne batya nnyo, ne bagwa wansi nga beevuunise. 7Awo Yesu n'ajja we bali, n'abakwatako, n'agamba nti: “Muyimuke, muleke kutya!” 8Bwe baayimusa amaaso, ne batalaba muntu mulala, wabula Yesu yekka.
9Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.”
10Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya y'ateekwa okusooka okujja?”#Laba ne Mal 4:5
11Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya y'ateekwa okusooka okujja, era alitereeza byonna. 12Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, abantu ne batamutegeera, era ne bamukolako byonna bye baayagala. Bw'atyo n'Omwana w'Omuntu balimubonyaabonya.”#Laba ne Mat 11:14
13Olwo abayigirizwa ne bategeera nti yali ayogera ku Yowanne Omubatiza.
Yesu awonya omulenzi aliko emyoyo emibi
(Laba ne Mak 9:14-29; Luk 9:37-43)
14Bwe baatuuka awali ekibiina ky'abantu, omuntu omu n'ajja eri Yesu n'amufukaamirira, 15nga bw'agamba nti: “Ssebo, kwatirwa mutabani wange ekisa, kubanga mulwadde wa nsimbu, ali bubi nnyo. Emirundi mingi agwa mu muliro, era emirundi mingi agwa mu mazzi. 16Namuleetedde abayigirizwa bo, ne batayinza kumuwonya.” 17Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere wano.” 18Awo Yesu n'aboggolera omwoyo omubi, ne guva ku mulenzi, n'awona mu kaseera ako.
19Abayigirizwa ne bajja eri Yesu mu kyama, ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?”
20Yesu n'abaddamu nti: “Kubanga temulina kukkiriza kumala. Mazima mbagamba nti: singa muba n'okukkiriza wadde okutono ng'akasigo ka kaladaali, muyinza okugamba olusozi luno nti: ‘Va wano, genda wali,’ ne lugenda, era tewali kiribalema.#Laba ne Mat 21:21; Mak 11:23; 1 Kor 13:2 [ 21Naye omwoyo omubi ogw'engeri eno, tegugobeka ku muntu awatali kusaba Katonda era n'okusiba.”]#17:21 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno.
Yesu ayogera nate ku kufa kwe
(Laba ne Mak 9:30-32; Luk 9:43-45)
22Abayigirizwa bwe baakuŋŋaanira mu Galilaaya, Yesu n'abagamba nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, 23era bajja kumutta. Kyokka ku lunaku olwokusatu alizuukira.” Abayigirizwa ne banakuwala nnyo.
Okuwa omusolo ogw'Essinzizo
24Yesu n'abayigirizwa be bwe batuuka e Kafarunawumu, abasolooza omusolo ogw'Essinzizo ne bajja eri Peetero, ne bamubuuza nti: “Mukama wammwe tawa musolo gwa Ssinzizo?”#Laba ne Kuv 30:13; 38:26 25N'addamu nti: “Awa.”
Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Yesu n'amwesooka, n'agamba nti: “Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi, empooza oba omusolo babiggya ku bantu ki? Ku baana baabwe, oba ku bantu balala?”
26Peetero n'addamu nti: “Ku balala.”
Yesu n'amugamba nti: “N'olwekyo abaana tebateekwa kuwa. 27Naye obutabeesittaza, genda osuule eddobo mu nnyanja, ekyennyanja ky'onoosooka okukwasa, bw'onooyasamya akamwa kaakyo, onoosangamu ssente, ogitwale ogibawe, esasulire nze naawe.”

Currently Selected:

MATAYO 17: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in