YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 18

18
Ani asinga okuba oweekitiibwa
(Laba ne Mak 9:33-37; Luk 9:46-48)
1Mu kaseera ako, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti: “Kale ani asinga okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu?”#Laba ne Luk 22:24
2Awo Yesu n'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza mu makkati gaabwe, 3n'agamba nti: “Mazima mbagamba nti: bwe mutakyuka ne muba ng'abaana abato, temuliyingira Bwakabaka bwa mu ggulu.#Laba ne Mak 10:15; Luk 18:17 4Kale nno buli eyeetoowaza ng'omwana ono omuto, ye asinga okuba oweekitiibwa mu Bwakabaka obw'omu ggulu. 5Era buli ayaniriza omwana ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze.
Ebisikiriza abantu okukola ekibi
(Laba ne Mak 9:42-48; Luk 17:1-2)
6“Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, asaanye okusibibwa ejjinja mu bulago, asuulibwe mu nnyanja ebuziba. 7Ensi ya kubonaabona olw'ebyo ebisuula abantu mu kibi. Bino tebirema kubaawo, kyokka omuntu abireeta, wa kubonaabona!
8“Singa omukono gwo oba okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu, ng'oli wa mukono gumu oba wa kugulu kumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi oba amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu muliro ogutazikira.#Laba ne Mat 5:30 9Era singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu olisuule. Kirungi okufuna obulamu, ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, omuli omuliro ogutazikira.#Laba ne Mat 5:29
Olugero lw'endiga eyabula
(Laba ne Luk 15:3-7)
10“Mwekkaanye: temunyoomanga n'omu ku bato bano, kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe, baba bulijjo mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.#Laba ne Luk 19:10 [ 11Omwana w'Omuntu yaija okulokola abaabula.]#18:11 Ebiwandiiko ebimu ebiy'edda tebirina lunyiriri luno.
12“Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo n'ebula, taleka ekyenda mu omwenda ku nsozi, n'agenda anoonya eyo ebuze? 13Mazima mbagamba nti: ng'agizudde, asanyuka nnyo olw'eyo emu, okusinga olwa ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. 14Bwe kityo, Kitammwe ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.
Owooluganda akukola obubi
15“Muganda wo bw'akola ebikulumya, genda gy'ali omubuulire nga muli mwekka, ggwe naye. Singa akuwulira, olwo ng'okomezzaawo muganda wo oyo.#Laba ne Luk 17:3 16Kyokka bw'atakuwulira, ddayo gy'ali ne munno omu oba babiri, olwo buli kigambo kiryoke kikakasibwe nga waliwo abajulirwa babiri oba basatu.#Laba ne Ma 19:15 17Kyokka bw'agaana okubawulira, olwo tegeeza ekibiina ky'abakkiriza Kristo. Singa agaana okuwulira ekibiina ky'abakkiriza Kristo, omuyisanga ng'atalina kukkiriza, era ng'omusolooza w'omusolo.
Okusiba n'okusumulula
18“Mazima mbagamba nti: kyonna kye mulisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu. Era kyonna kye mulisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.#Laba ne Mat 16:19; Yow 20:23
19“Era mbagamba nti: ababiri ku mmwe bwe baneetabanga ku nsi, ne babaako kye basaba Kitange ali mu ggulu, alikibakolera, 20kubanga ababiri oba abasatu we baba nga bakuŋŋaanye ku lwange, nange mbaawo wamu nabo.”
Olugero lw'omuddu atasonyiwa
21Awo Peetero n'ajja awali Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, emirundi emeka muganda wange gy'anaakolanga ebinnumya ne mmusonyiwa? Emirundi musanvu?”#Laba ne Luk 17:3-4
22Yesu n'amuddamu nti: “Sikugamba nti emirundi musanvu, naye nti nsanvu emirundi musanvu. 23Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaanaanyirizibwa ne kabaka, eyayagala okuwozesa abaddu be ku bintu bye, bye baalina. 24Bwe yali ng'atandise okubawozesa, ne bamuleetera omu gw'abanja talanta omutwalo gumu.#18:24 Talanta omutwalo gumu: Talanta emu, omupakasi yagikolereranga emyaka nga kkumi n'etaano. Kale talanta omutwalo ogumu, zaali ensimbi mpitirivu obungi! 25Kyokka teyalina nsimbi z'anaasasuza bbanja. N'olwekyo mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'e bintu bye byonna, ebbanja lisasulwe. 26Awo omuddu n'afukamira, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula byonna.’ 27Mukama w'omuddu oyo n'amukwatirwa ekisa, n'amusonyiwa ebbanja, n'amuta.
28“Kyokka omuddu oyo bwe yafuluma, n'asanga muddu munne gw'abanja denaari kikumi.#18:28 Denaari kikumi: Denaari emu ye yabanga empeera omupakasi gy'afuna olunaku. N'olwekyo denaari ekikumi yali mpeera ya myezi ng'esatu, sso nga talanta omutwalo gumu zaali za kupakasiza emyaka kkumi n'etaano emirundi omutwalo gumu! N'amugwa mu bulago nga bw'agamba nti: ‘Sasula ebbanja lyange!’ N'amugwamu bulago nga bw'agamba nti: ‘Sasula ebbanja lyange!’ 29Awo muddu munne n'agwa wansi, n'amwegayirira ng'agamba nti: ‘Ŋŋumiikiriza, ndikusasula.’ 30Ye n'atakkiriza, wabula n'agenda n'amuggalira mu kkomera, okutuusa lw'alimala okumusasula ebbanja.
31“Baddu banne bwe baalaba ebikoleddwa, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe byonna ebibaddewo. 32Awo mukama we n'amuyita, n'amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, nakusonyiye ebbanja lyonna kubanga wanneegayiridde. 33Kale naawe obadde togwanira kukwatirwa muddu munno kisa, nga nze bwe nakukwatiddwa ekisa?’ 34Mukama we n'asunguwala, n'amukwasa abaserikale bamubonyeebonye, okutuusa lw'alimala okusasula ebbanja lyonna.”
35Bw'atyo ne Kitange ali mu ggulu bw'alibakola mmwe, singa buli muntu tasonyiwa muganda we, mu mutima gwe.

Currently Selected:

MATAYO 18: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in