YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 16

16
Basaba Yesu akabonero
(Laba ne Mak 8:11-13; Luk 12:54-56)
1Awo Abafarisaayo n'Abasaddukaayo ne bajja eri Yesu okumukema. Ne bamusaba abawe akabonero akabalaga nti obuyinza bwe bwava wa Katonda.#Laba ne Mat 12:38; Luk 11:16 2Kyokka Yesu n'abaddamu nti: “Obudde bwe buba buwungeera, mugamba nti: ‘Bunaaba bulungi, kubanga eggulu limyuse.’ 3Ku makya, mugamba nti: ‘Olwaleero wanaabaayo omuyaga, kubanga eggulu limyuse, era lizimbagadde.’ Mumanyi okuvvuunula amakulu g'endabika y'eggulu, naye temusobola kutegeera bye mulaba mu kiseera kino! 4Abantu ab'omulembe guno ababi, era abaava ku Katonda, basaba akabonero, naye tebaliweebwa kabonero kalala, wabula akabonero ka Yona.” Awo n'abavaako n'agenda.#Laba ne Mat 12:39; Luk 11:29
Ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo
(Laba ne Mak 8:14-21)
5Abayigirizwa bwe baatuuka emitala w'ennyanja, ne bajjukira nti tebaaleese migaati. 6Yesu n'abagamba nti: “Mulabuke, mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo.”#Laba ne Luk 12:1
7Bo ne bagambagana nti: “Tetuleese migaati.” 8Yesu bwe yamanya kye bagamba, n'ababuuza nti: “Mmwe abalina okukkiriza okutono, lwaki mugambagana nti temulina migaati? 9Temunnaba kutegeera, era temujjukira emigaati etaano, egyakkusa abantu enkumi ettaano, n'ebibbo bye mwakuŋŋaanya?#Laba ne Mat 14:17-21 10Ate emigaati omusanvu egyakkusa abantu enkumi ennya?#Laba ne Mat 15:34-38 11Kale lwaki temutegedde nti soogedde ku migaati, bwe mbagambye nti: Mwekuume ekizimbulukusa ky'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo!”
12Olwo ne bategeera nti tagambye kwekuuma kizimbulukusa kya migaati, wabula kwekuuma Abafarisaayo n'Abasaddukaayo bye bayigiriza.
Peetero ayatula ebifa ku Yesu
(Laba ne Mak 8:27-30; Luk 9:18-21)
13Awo Yesu n'atuuka mu kitundu ekiyitibwa Kayisaariya ekya Filipo, n'abuuza abayigirizwa be nti: “Abantu bwe baba boogera ku Mwana w'Omuntu, bamuyita ani?”
14Ne baddamu nti: “Abamu bamuyita Yowanne Omubatiza, abalala bagamba nti: ye Eliya, ate abalala nti: Yeremiya, oba omu ku balanzi.”#Laba ne Mat 14:1-2; Mak 6:14-15; Luk 9:7-8
15Awo ye n'ababuuza nti: “Naye mmwe mumpita ani?”
16Simooni Peetero n'amuddamu nti: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda Nnannyinibulamu.”#Laba ne Yow 6:68-69
17Yesu n'amugamba nti: “Simooni, omwana wa Yona, oli wa mukisa! Kubanga omuntu si ye yakumanyisa ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu. 18Nange nkugamba nti: ggwe oli Peetero (ekitegeeza nti Lwazi), era ku lwazi luno, kwe ndizimbira ekibiina kyange eky'abakkiriza; n'amaanyi ag'emagombe tegalikisobola. 19Ndikuwa ebisumuluzo by'Obwakabaka obw'omu ggulu: kyonna kyonna ky'olisiba ku nsi, kirisibibwa mu ggulu; kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi, kirisumululwa mu ggulu.”#Laba ne Mat 18:18; Yow 20:23
20Awo n'akuutira abayigirizwa obutabuulirako muntu nti Ye, ye Kristo.
Yesu alanga okufa kwe n'okuzuukira kwe
(Laba ne Mak 8:31–9:1; Luk 9:22-27)
21Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abayigirizwa be nti ateekwa okugenda e Yerusaalemu, n'okubonyaabonyezebwa ennyo abantu abakulu mu ggwanga, ne bakabona abakulu, n'abannyonnyozi b'amateeka, n'okuttibwa, era n'okuzuukira ku lunaku olwokusatu.
22Awo Peetero n'azza Yesu ku bbali n'amunenya, n'agamba nti: “Nedda, Mukama wange, ekyo tekirikutuukako n'akatono!”
23Yesu n'akyuka n'atunula emabega, n'agamba Peetero nti: “Nva mu maaso, Sitaani! Oli nkonge mu kkubo lyange, kubanga ebya Katonda si by'ofaako, wabula ofa ku bya bantu!”
24Awo Yesu n'agamba abayigirizwa be nti: “Buli muntu ayagala okuba omugoberezi wange, ateekwa okwefeebya, ne yeetikka omusaalaba gwe, n'angoberera.#Laba ne Mat 10:38; Luk 14:27 25Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa, naye buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibuddizibwa.#Laba ne Mat 10:39; Luk 17:33; Yow 12:25 26Kale omuntu kimugasa ki okufuna obugagga bwonna obw'oku nsi, ate n'afiirwa obulamu bwe? Tewali kintu na kimu muntu ky'ayinza kuwaayo okuzzaawo obulamu bwe. 27Omwana w'Omuntu agenda kujjira mu kitiibwa kya Kitaawe, ng'ali ne bamalayika be, awe buli muntu empeera ye, ng'asinziira ku ebyo buli muntu bye yakola.#Laba ne Mat 25:31; Zab 62:12; Bar 2:6 28Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba Omwana w'Omuntu ng'ajja mu Bwakabaka bwe.”

Currently Selected:

MATAYO 16: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in