YouVersion Logo
Search Icon

EBBALUWA YA YEREMIYA 1

1
1Eno ye bbaluwa Yeremiya gye yaweereza abantu b'e Yerusaalemu nga banaatera okukwatibwa kabaka wa Babilooniya okubatwala e Babilooni. Erimu obubaka Katonda bwe yalagira Yeremiya okubawa.#Laba ne Yer 29:1
Abantu ba kusibwa ebbanga ddene
2Mwasobya mu maaso ga Katonda, kyemunaava mutera okutwalibwa Kabaka Nebukadunezzari e Babilooni nga muli basibe. 3Mulimalayo emyaka mingi: emirembe musanvu mu buwaŋŋanguse. Oluvannyuma Katonda alibaggyayo e Babilooni n'abazzaayo mirembe eka.
4Eyo e Babilooni muliraba balubaale abakole mu miti, mu ffeeza ne mu zaabu, abantu be batwalira ku bibegabega, era abajjuza abakaafiiri okutya. 5Mwegenderezenga obutakoppa bantu abo ab'amawanga amalala. Balubaale baabwe balemenga kubajjuza mmwe kutya bwe munaalabanga nga batwalibwa mu nnyiriri era nga basinzibwa. 6Naye mmwe mugambenga nti: “Ggwe wekka ayi Mukama, ggwe tuteekwa okusinza.” 7Malayika wa Katonda alibeerayo nammwe era alibalabirira.
Ebifaananyi tebyeyamba
8Ebifaananyi byabwe bitimbiddwako ffeeza ne zaabu, ennimi zaabyo zaakolebwa babazzi. Naye si ye Katonda era tebasobola wadde kwogera. 9Abantu bakola engule eza zaabu ne bazitikkira ku mitwe gya balubaale baabwe, ebifaananyi ebyo ne biba ng'abawala abaagala eby'okwewunda. 10Oluusi bakabona babba ffeeza ne zaabu ow'oku balubaale baabwe, ne bamukozesa ebyabwe. 11Omu bawaako ne bamalaaya b'omu ssabo. Abantu baddira balubaale abo ab'emiti, aba ffeeza n'aba zaabu ne babambaza engoye ng'abantu. 12Newaakubadde balubaale bambazibwa engoye eza kakobe nga bakabaka, naye tebayinza kwekuuma butafuma, wadde okuliibwa enkuyege. 13Enfuufu y'omu ssabo bw'ebagwa ku maaso, wateekwa okubaawo agibasiimuulako. 14Bakwata emiggo mu ngalo ng'abalamuzi, naye tebasobola kubonereza n'omu abakola akabi. 15Olumu baba n'ebitala era n'embazzi mu ngalo zaabwe, naye tebasobola kwetaasa kuzikirizibwa mu lutalo, oba okutwalibwa ababbi. 16Ebyo byonna bikakasa nti abo si ye Katonda. Kale mmwe temubasinzanga.
17Balubaale abo mu masabo gaabwe mwe babeera, bali ng'ekibya ekyatise, ekitalina mugaso. Amaaso gaabwe gajjudde enfuufu. Abantu bwe bayingira be bagibasiimuulako. 18Bakabona banyweza amasabo nga bateekako enzigi ezisibwa n'emitayimbwa, ababbi baleme kumenya kuyingiramu. Balubaale basibirwamu ng'abasibe ab'okuttibwa olw'okuzza omusango ku kabaka. 19Bakabona bakoleereza balubaale ettaala ezisinga ezo bo bennyini ze beetaaga okukozesa, naye ebifaananyi tebisobola kulaba wadde emu ku zo. 20Munda waabyo mwaliibwa enkuyege mu ngeri y'emu ng'empagi ez'emiti mu ssabo, n'engoye zaabyo zaayonoonebwa. Naye n'okukimanya tebikimanyi. 21Amaaso gaabyo gaddugazibwa omukka mu ssabo. 22Obuwundo, obutaayi n'ebinyonyi ebirala bibisuulako kalimbwe, wadde ne kkapa zibituulako. 23Ebyo byonna bikakasa nti ebyo si ye Katonda. Kale mmwe temubisinzanga.
24Ebifaananyi ebyo bisiigibwako zaabu okubirungiya, naye tebimasamasa, wabula nga waliwo abisiimudde. Bwe byayiibwa mu ntiba tebyawulira kantu. 25Ne bwe bigula omuwendo ogwenkana ki, tebisobola kussa mukka. 26Mulabe nga bwe bitalina mugaso: tebisobola kwetambuza byokka, naye birina kusitulwa ne bitwalibwa. 27N'abo ababirabirira basoberwa, kubanga omu ku balubaale baabwe abo bw'agwa wansi, balina kumulondawo. Bwe bayimiriza ekimu ku bifaananyi ebyo mu kifo, tekisobola kwenyenya. Era bwe kikyama, tekisobola kwetereeza. Okubatonera ebirabo, kuba ng'okutonera ebirabo ebyo omulambo. 28Bakabona batunda ebitambiriddwa balubaale baabwe, ensimbi ne bazeekozeseza bye baagala. Ne bakazi baabwe bakuuma ebitambiro nga babirungamu omunnyo, basobole okubikozesa oluvannyuma, mu kifo ky'okubigabana n'abaavu ne bakateeyamba. 29N'abakazi abali mu kiseera eky'empisa yaabwe ey'omwezi oba abo abaakazaala, bakkirizibwa okukwata ku bitambiro. Ebyo byonna bikakasa nti ebyo si ye Katonda. Kale mmwe temubasinzanga.
30Biyinza bitya okuyitibwa Katonda ng'abakazi bakkirizibwa okuwaayo ebirabo eri ebintu bino ebikoleddwa mu miti, mu ffeeza ne mu zaabu? 31Bakabona batuula ne mu masabo nga bakungubaga mu ngoye enjulifu, nga tebeemwedde, era nga tebabisse mitwe. 32Bakabona bawowoggana ne baleekaana mu maaso ga balubaale baabwe ng'abali ku mukolo ogw'okuziika. 33Bambulamu balubaale baabwe engoye ne baziwa bakazi baabwe n'abaana baabwe. 34Oli ne bw'ayamba oba ne bw'akola obubi balubaale abo, kye kimu, kubanga tebasobola kwesasuza. Tebayinza kufuula muntu n'omu kabaka oba okumuggyako ku ntebe ey'obwakabaka. 35Era tebayinza kugaggawaza muntu wadde okumuwa ensimbi. Omuntu bw'abaako kye yeetemye okubakolera n'atakituukiriza, tebayinza kumusasuza. 36Tebaliwonya muntu kufa, era tebaliyamba munafu kuwangula wa maanyi. 37Muzibe tebasobola kumuddiza kulaba wadde okuggya omuntu mu buyinike. 38Tebayinza kulaga busaasizi oba okuyamba bannamwandu oba bamulekwa. 39Ebintu bino ebikolebwa mu miti ne bibikkibwako ffeeza ne zaabu tebiriimu buyinza n'akatono. Biri ng'ejjinja eriggyibwa mu nsozi, era ababisinza baliswazibwa. 40Omuntu ayinza atya okulowooza nti ebyo ye Katonda oba okubiyita Katonda?
Obusiru bw'abasinza ebifaananyi
Ab'e Babilooni bamalamu balubaale baabwe ekitiibwa. 41Omuntu bw'aba nga tasobola kwogera, bamutwala mu ssabo ne basaba Beeli amusobozese okwogera, sso nga Beeli talina ky'ategeera.#Laba ne Yis 46:1 42Naye abantu ne bwe bategeera nti balubaale baabwe tebasobola kubayamba, olw'obusiru bwabwe bongera okubasinzanga. 43Tebakoma ku ekyo kyokka, naye abakazi beezingirirako emiguwa ne batuula ku mabbali g'ekkubo nga banyookeza obubaane era nga beewaayo nga bamalaaya. Omu ku bo, omusajja bw'amutwala okwebaka naye, akomawo n'asekerera mukazi munne amuliraanye olw'obutaba mulungi kimala okusobola okulondebwamu. 44Buli kintu ekifa ku bifaananyi ebyo kya bulimba. Omuntu ayinza atya okulowooza nti ebyo ye Katonda oba okubiyita Katonda?
45Ababazzi n'abaweesi be bakola balubaale abo. N'olwekyo tebayinza kusinga ku ekyo abo ababakola kye baagala babeere. 46Bo bennyini ababakola tebawangaala nnyo. Kale bayinza batya okukola Katonda? 47Abantu bano kye balekera ab'emirembe egiribaddirira bwe bulimba n'obugwagwa. 48Entalo bwe zijja, bakabona ne bategeka gye banaalaga okwekweka ne balubaale baabwe. 49Ebifaananyi bino tebigasa nga waliwo entalo n'obutabanguko. Lwaki abantu tebasobola kutegeera nti ebifaananyi bino si ye Katonda?
50Ebifaananyi bino miti buti egibikkiddwako ffeeza ne zaabu. Olumu kirirabika lwatu nti ddala ebyo si ye Katonda. 51Amawanga gonna ne bakabaka balitegeera ng'ebifaananyi bye bintu ebikolebwa abantu. Tebirina buyinza bwa Katonda, 52era buli muntu asaanidde okumanya nti ebyo ddala si ye Katonda.
53Balubaale bano tebayinza kufuula muntu kabaka wadde okutonnyesa enkuba. 54Tebayinza kwesalirawo ku bibafaako oba okusalirawo ekituufu omuntu ayisiddwa obubi. Tebalina kye bayinza kukola n'akatono. Tebalina mugaso. Bali nga binnamuŋŋoona ebibuuka mu bbanga. 55Essabo bwe likwata omuliro, bakabona badduka okwewonya, balubaale abakole mu miti era ababikkeko ffeeza ne zaabu balekebwa omwo okuggya ng'empagi ez'emiti. 56Tebasobola kulwanyisa bakabaka. Omuntu ayinza atya okukkiriza nti abo ye Katonda?
57Balubaale abo abaakolebwa mu miti ne babikkibwako ffeeza ne zaabu tebayinza kwetaasa babbi na banyazi, 58abaggya ffeeza ne zaabu n'engoye ku balubaale abo ne bagenda nabyo. Balubaale tebalina kye bayinza kukola kubaziyiza. 59Buli kintu okuva ku kabaka omuvumu okutuuka ku kibumbe eky'omugaso, bisinga balubaale. N'oluggi lusinga lubaale, kubanga wadde lwo lukuuma ebintu ebiri mu nnyumba. N'empagi ey'omuti mu lubiri esinga lubaale.
60Katonda yateekawo enjuba n'omwezi n'emmunyeenye okuleeta ekitangaala, era bimuwulira. 61Era bwe kiri ku kumyansa ne ku mbuyaga. Okumyansa kulabibwa okumpi n'ewala, n'embuyaga ekuntira buli wantu. 62Katonda bw'alagira ebire okubikka ensi yonna, bimuwulira. 63Bw'atonnyesa omuliro okuva mu ggulu okwokya ensozi n'ebibira, gukola ky'agugambye. Ebifaananyi tebisobola kukola ebyo wadde okubigeegeenyaako. 64Lwaki biyitibwa Katonda nga tebisobola kutuyamba wadde okutukola akabi nga tuliko engeri gye tubinyiizizzaamu? 65Mumanyi nti ebyo si ye Katonda. Kale mmwe temubisinzanga.
66Balubaale abo tebalina buyinza ku bakabaka, tebasobola kubakolimira wadde okubawa emikisa. 67Tebasobola kuwa mawanga kabonero na kamu ku ggulu. Tebasobola kwakaayakana nga njuba wadde ng'omwezi. 68N'ebisolo eby'omu ttale bisinga ebifaananyi ebyo, kubanga wadde byo ebisolo bisobola okudduka akabenje ne byewonya. 69N'olwekyo tewali kubuusabuusa nti ebifaananyi ebyo si ye Katonda. Kale mmwe temubisinzanga.
70Balubaale baabwe abo abakolebwa mu miti ne babikkibwako ffeeza ne zaabu, omugaso gwabwe guli ng'ogwakafaananyi ak'ekiwero akateekebwa mu nnimiro okukanga ebinyonyi. Tekalina kye kakuuma n'akatono. 71Omugaso gwabwe guli ng'ogw'akasaka akali mu nnimiro. Mu kifo ky'okugoba ebinyonyi, kabiwa kifo kya kwekwekamu. Balubaale abo bali ng'omulambo ogusuuliddwa ebweru mu nzikiza. 72Engoye eza kakobe ze bambala zivunda, kyetuva tumanya nti abo si ye Katonda. N'oluvannyuma baliriibwa enkuyege, olwo nga buli wantu tewakyali abaggyamu mugaso.
73Omuntu akola ebituufu asinga ku bantu abalala. Oyo taba na bifaananyi, era tebiyinza kumusiruwaza.

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in