YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 15

15
Entegeka ya Nikanori ey'obukambwe
1Nikanori bwe yawulira nti Yuda ne basajja be bali mu kitundu ky'e Samariya, n'asalawo okubalumba ku lunaku lwa Sabbaato lwe batasobola kumukolerako kabi. 2Abayudaaya be yali awalirizza okumuwerekera ne bamwegayirira aleme kukola kikolwa kya bukambwe era eky'obutemu ng'ekyo, wabula asseemu ekitiibwa olunaku Katonda alaba byonna lwe yawa ekitiibwa n'alutukuza okusinga ennaku endala zonna. 3Naye omusajja oyo omugwagwa n'abuuza oba nga mu ggulu eriyo omufuzi eyabalagira okukuza Sabbaato. 4Abayudaaya ne baddamu nti: “Mukama yennyini omulamu ali mu ggulu ye yatulagira okukuzanga Sabbaato.” 5Nikanori n'addamu nti: “Nange omufuzi ku nsi mbalagira okukwata ebyokulwanyisa byammwe mukole ekyo kabaka ky'alagira.” Kyokka n'atasobola kutuukiriza ntegeka ye eyo embi.
Yuda agumya basajja be okulwana
6Nikanori olw'okwekulumbaza yali alowooza okuzimba ekijjukizo, abantu kwe banaalabiranga nti yawangula Yuda. 7Kyokka ye Makkabeewo yeesigiranga ddala bulijjo nti Mukama ajja kumuyamba 8kyeyava akubiriza basajja be baleme kutya balabe baabwe. N'abagamba bajjukire nga Katonda Omuyinzawaabyonna bwe yabayamba mu biro eby'edda, era bakakase ne ku mulundi guno nti ajja kubasobozesa okuwangula. 9N'ayongera okubagumya ng'abasomera eby'omu Kitabo ky'Amateeka n'eky'Abalanzi era ng'abajjukiza entalo ze baali bamaze okuwangula. 10Bwe yamala okubazzaamu amaanyi, n'abalagira eby'okukola era nga bw'abajjukiza nti ab'amawanga amalala tebeesigika, kubanga tebakuuma ndagaano zaabwe n'akatono. 11Bwe yamala okubawa ebyokulwanyisa ebitali ngabo na bitala, wabula ebigambo ebirungi ennyo ebibawooyawooya, n'abanyumizaayo n'ekirooto kye ekyesigika, ekyabasanyusa bonna.
12N'abalootolola nti yalaba Oniya edda eyali Ssaabakabona, omusajja omulungi, ow'ekisa, omuwombeefu era omwogezi omulungi, eyayigirizibwa okuba ow'empisa ennungi okuviira ddala mu buto. Yamulaba ng'agolodde emikono, ng'asabira eggwanga ly'Abayudaaya. 13Bwe yamala okulaba ono, n'alaba n'omusajja omulala ow'omutwe ogutukula envi, eyalabika nga waakitiibwa naye era nga wa buyinza. 14Oniya n'agamba nti: “Ono ye muntu ayagala baganda be Abayisirayeli era asabira ennyo abantu n'ekibuga ekitukuvu. Ye Yeremiya omulanzi wa Katonda.” 15Awo Yeremiya n'agolola omukono gwe ogwa ddyo, n'awa Yuda ekitala ekya zaabu, nga bw'agamba nti: 16“Kwata ekitala kino ekitukuvu. Kye kirabo ekivudde eri Katonda, ky'onossisa abalabe.”
17Ebigambo bya Yuda ebirungi ennyo ne bizzaamu buli omu amaanyi n'aba muzira, n'abalenzi abato ne balwana masajja. Ne bamalirira obutamala biseera wabula okulumba omulabe beetaase nga beerwanako n'obuzira, kubanga ekibuga ekitukuvu n'Essinzizo byali mu kabi. 18Kye baali basinga okulumirwa si bakazi baabwe na baana n'ab'eŋŋanda zaabwe, naye Essinzizo. 19N'abaasigala mu kibuga ne beeraliikirira abo abaali banaatera okufuluma okulwana olutalo.
Okuwangulwa n'okuttibwa kwa Nikanori
20Buli omu yali mu kulindirira olutalo gye lunakkira. Abalabe baali batuuse, eggye lyabwe nga lyetereezezza bulungi: abeebagadde embalaasi nga basimbye ku buli ludda, enjovu nga ze batadde wakati. 21Makkabeewo bwe yeetegereza amagye g'omulabe agamuli mu maaso n'alaba ebyokulwanyisa ebya buli ngeri bye garina n'obukambwe bw'enjovu, n'agololera emikono gye eri eggulu n'akoowoola Mukama akola ebyamagero, era awa obuwanguzi abo ababusaanira sso si abo ababa n'eggye ery'amaanyi. 22N'asaba ng'agamba nti: “Ayi Mukama, Heezeekiya bwe yali nga ye kabaka wa Buyudaaya, watuma malayika wo n'atta abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano mu ggye lya Sennakeribu.#Laba ne 2 Bassek 19:35 23Ne kaakano ayi Mukama w'eggulu, tuma malayika wo omulungi atukulembere, aleetera abalabe baffe okutya n'okukankana. 24Kozesa obuyinza bwo obw'amaanyi ozikirize abantu abo abaakuvuma era abazze okulumba abantu bo abalondemu.” N'akoma ku ebyo.
25Nikanori n'eggye lye ne batala okulwana nga bafuuwa eŋŋombe era nga bayimba.#Laba ne 1 Bamak 7:43-50 26Naye Yuda ne basajja ne bagenda nga bakoowoola Katonda abayambe. 27Bwe batyo ne balwanyisa emikono naye nga mu mitima basaba Katonda. Ekyavaamu ne batta abantu abasoba mu mitwalo esatu mu enkumi ttaano. Ne basanyuka nnyo, kubanga Mukama yali nabo ng'abayamba.
28Olutalo nga luwedde, bwe baali nga baddayo eka nga beekulisa okuwangula, ne balaba Nikanori ng'alambadde afudde, ali mu byambalo eby'olutalo. 29Ne baleekaana ne bakuba embeekuulo mu lulimi lwabwe, ne batendereza Mukama Omuyinzawaabyonna.
30Yuda eyabeeranga omwetegefu bulijjo mu mwoyo ne mu mubiri okulwanirira Bayudaaya banne era eyayagala eggwanga lye okuviira ddala mu buto, n'alagira batemeko Nikanori omutwe n'omukono, babitwale e Yerusaalemu. 31Bwe yatuukayo n'ayita abantu bonna bakuŋŋaane. Bakabona ne bajja ku alutaari, era n'atumya ab'omu kigo eky'okwerindiramu. 32N'abalaga omutwe gwa Nikanori, n'omukono, omusajja oyo omubi gwe yali agolodde n'olwetumbu ng'agwolekeza eri Essinzizo lya Katonda Omuyinzawaabyonna. 33Awo n'asalamu olulimi lwa Nikanori atatya Katonda, n'alagira balusaleesalemu obutundu, ebinyonyi birulye. Era n'alagira nti omukono gwa Nikanori guwanikibwe nga gutunuulidde Essinzizo, nga ye mpeera y'ebibi bye yakola. 34Bonna ne batendereza Mukama ow'omu ggulu nga bagamba nti: “Atenderezebwe eyakuuma Essinzizo lye ne litayonoonebwa.” 35Awo Yuda n'awanika omutwe gwa Nikanori ku kisenge ky'ekigo eky'okwerindiramu, gubeere akabonero akalaga bonna nti Mukama ye abayamba. 36Abantu bonna ne bakkaanya ne basalawo nti olunaku olwo teruuyitengawo nga terukuziddwa, naye lukuzibwenga buli mwaka, ku lukulembera olunaku lwa Moruddekaayi, olw'ekkumi n'essatu, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, oguyitibwa Adaari mu lulimi Olwaramayika.#Laba ne 1 Bamak 7:49
Ebisembayo
37Ebya Nikanori bwe byagenda bwe bityo. Okuva olwo ekibuga Yerusaalemu ne kisigala nga kya Beebureeyi. Naye bye mbadde nnyumya ka mbikomye wano. 38Bwe biba biwandiikiddwa bulungi nga bwe bisaanidde okubeera, ekyo nange kye njagala. Bwe biba nga biwandiikiddwa bubi era nga tebiigase nnyo, ekyo kye nsobodde okukola. 39Nga bwe kitali kirungi okunywanga omwenge ogw'emizabbibu gwokka oba okunywanga amazzi ameereere bulijjo, sso nga kirungi okugunywa ng'otabuddemu ku mazzi, bwe kityo bwe kiri ne mu kuwandiika ebinaanyumira abasomi. Nkomye ku ebyo.

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 15: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in