YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAMAKKABEEWO 14

14
Alikimo alimirira Yuda
(Laba ne 1 Bamak 7:1-21)
1Bwe waayitawo emyaka esatu, Yuda ne basajja be ne bamanya nti Demetiriyo mutabani wa Selewuko agobye ku mwalo gw'e Tripoli, ng'ali n'eggye ery'amaanyi, n'amaato amalwanyi, 2era nti yatta Kabaka Antiyooko n'omukuza we Lisiya, ensi n'agyefuga.
3Waaliwo omusajja ayitibwa Alikimo, eyaliko Ssaabakabona, kyokka ne yeeyonoona ng'akkiriza okugoberera empisa z'Abayonaani mu kiseera we baagerezaako okuziyingiza mu Buyudaaya. Bwe yalaba nga talina magezi malala oba kkubo ddala mw'ayinza kuyita okudda ku Bwassaabakabona, 4n'agenda eri Kabaka Demetiriyo mu mwaka 151.#14:4 omwaka 151: Gwe mwaka ogwe 161 nga Kristo tannazaalibwa. Ku olwo n'amutwalira engule eya zaabu n'olusansa, n'amatabi g'emiti emizayiti agaweebwayo mu Ssinzizo ng'empisa bw'eri. Kyokka n'atayogera ky'agenderedde. 5Naye oluvannyuma n'afuna omukisa okwanjula entegeka ze ez'ekisiru, nga Demetiriyo amuyise mu lukiiko lw'abamuwa amagezi, n'amubuuza Abayudaaya kye balowooza, ne kye bategeka okukola.
Alikimo n'addamu nti: 6“Abagoberezi ba Yuda Makkabeewo beeyita basomi era abalumirwa eggwanga lyabwe. Baagala nnyo entalo n'okujeemesa abantu era tebagenda kuleka ggwanga kufuna mirembe. 7Era nange be banzigyako ekitiibwa kyange eky'obwa Ssaabakabona eky'ensikirano. Kyenvudde nzija wano, 8okusookera ddala lwa kulumirwa ebyo kabaka by'ayagala, n'ekyokubiri, lwa kulowooza ku bantu b'eggwanga lyange, kubanga eggwanga lyaffe libonyeebonye nnyo olw'obusiru bwa Yuda n'abagoberezi be. 9Kale ayi kabaka, bw'onoomala okwetegereza buli kimu ku ebyo nga bwe kiri, nkusaba okozese ekisa kyo ekimanyiddwa wonna, okuyamba eggwanga lyaffe n'abantu baalyo, 10kubanga Yuda ng'akyali mulamu, tewajja kubaawo mirembe mu ggwanga lyaffe.”
Demetiriyo atuma Nikanori okulumba Yuda
11Alikimo olwamala okwogera ebyo, mikwano gya kabaka abalala abakyawa Yuda ne bongera okukuma omuliro mu Demetiriyo asunguwalire Yuda. 12Amangwago Kabaka Demetiriyo n'alonda Nikanori, omuduumizi w'eggye ery'enjovu n'amufuula omufuzi wa Buyudaaya. 13N'amuweerezaayo ng'amulagidde okutta Yuda, n'okusaasaanya abagoberezi be, n'okuteekawo Alikimo ku Bwassaabakabona obw'omu Ssinzizo erisinga obukulu mu nsi yonna. 14Olwo abagwira bonna abaali badduse Yuda ne bava mu Buyudaaya, ne beekuŋŋaanya okwegatta ku Nikanori, nga balowooza nti obuyinike n'ebizibu ebinaatuuka ku Bayudaaya bo bijja kubaviiramu muganyulo.
15Abayudaaya bwe baawulira nti Nikanori ajja era abagwira ab'omu nsi yaabwe bamwegasseeko, ne beesiiga ettaka, ne beegayirira Katonda eyalonda eggwanga lyabwe okuba erirye ennaku zonna era atagaanangako kubayamba nga bali mu buzibu.#Laba ne 1 Bamak 7:27-28 16Awo Yuda omukulembeze waabwe n'abalagira amangwago ne bava mu kifo ekyo mwe baali, ne bagenda okulwanyisa omulabe ku mutala Dessawu. 17Simooni muganda wa Yuda n'alwanyisa Nikanori, kyokka n'azzibwa emabega olw'abalabe okumufubutukira nga tategedde. 18Naye Nikanori bwe baamubuulira obuzira bwa Yuda ne basajja be, era nga bwe balwanyisa obumalirivu okutaasa ensi yaabwe, n'atya okutereeza ensonga ng'ayita mu lutalo. 19Kyeyava atuma Posidooniyo ne Tewodooto ne Matatiya okuteeseganya n'Abayudaaya. 20Bwe baamala okubiteesaako, ne Yuda n'abyanjulira abantu be, bonna ne bakkaanya okukkiriza eby'omukago. 21Ne bateekawo olunaku abakulembeze ab'enjuyi zombi lwe banaasisinkanirako, buli ludda ne luleeta entebe kwe banaatuula. 22Naye Yuda yali ataddewo amagye ge mu bifo ebikulu, sikulwa ng'abalabe bamwefuukira. Kyokka okuteesa kwagenda bulungi. 23Oluvannyuma Nikanori n'amala ennaku mu Yerusaalemu era teyakolayo kintu na kimu kitasaana, n'atuuka n'okulagira ab'oku ludda lwe abaali bakuŋŋaaniddeyo baveeyo. 24Nikanori n'abeera mukwano gwa Yuda era nga tayagala Yuda amuveeko. 25Era n'amusaba awase omukazi azaale abaana. Yuda n'akkiriza n'awasa, n'akkalira ng'abatuuze abalala.
Nikanori yeekyusiza Yuda
26Alikimo bwe yalaba nga Nikanori bafuuse ba mukwano ne Yuda, n'agenda eri Kabaka Demetiriyo ng'amutwalidde endagaano gye baakola. N'agamba kabaka nti Nikanori takyayagaliza bwakabaka birungi, kubanga Yuda eyalyamu obwakabaka olukwe gw'ataddewo okumusikira. 27Ebigambo ebyo eby'obulimba ne binyiiza nnyo kabaka n'asunguwala, n'awandiikira Nikanori ng'amutegeeza nga bw'ataasiima ndagaano eyo, era n'amulagira akwate Makkabeewo amuweereze mangu mu Antiyookiya nga musibe.
28Nikanori bwe yafuna obubaka buno n'asoberwa, era n'anyolwa nnyo, kubanga yali tayagala kumenya ndagaano na muntu atalina ky'asobezza. 29Kyokka nga bwe yali tasobola kuwakanya kabaka, n'atandika okusala amagezi ag'okutuukiriza kye bamulagidde okukola. 30Ne Makkabeewo n'alaba nga Nikanori atandise okumukambuwaliranga era nga bwe basisinkana, nga takyamwewa nga bwe yakolanga bulijjo. Kyeyava akuŋŋaanya abagoberezi be abawera, n'agenda ne yeekweka.
31Nikanori bwe yalaba nga Yuda amutebuse n'ajja mu Ssinzizo ekkulu era ettukuvu nga bakabona bawaayo ebitambiro, n'abalagira bamuwe Yuda.#Laba ne 1 Bamak 7:29-30 32Ne balayira ne bamugamba nti omuntu oyo gw'anoonya tebamanyi gy'ali. 33Awo Nikanori n'agololera omukono gwe ogwa ddyo eri Essinzizo n'alayira nga bw'agamba nti: “Bwe mutampa Yuda nga musibe, nja kusaanyaawo Essinzizo lya Katonda lino, mmenyewo ekifo kino eky'ekitambiro, nzimbirewo Diyonisiyo essabo eryekitiibwa.”
34Bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda. Naye bakabona ne bagololera emikono gyabwe eri eggulu ne beegayirira alwanirira eggwanga lyabwe bulijjo. Ne bagamba nti: 35“Ayi Mukama, ggwe afuga ebintu byonna, toliiko ky'ojula. Naye wasiima okuteeka Essinzizo lyo wano era n'okubeeranga mu ffe. 36Ggwe mutukuvu nnannyini butukuvu bwonna. Kuuma Essinzizo lino eryakatukuzibwa lireme kwonoonebwa.”
Razi afiirira eggwanga lye
37Omusajja ayitibwa Razi, omu ku bataka mu Yerusaalemu baamuloopa ewa Nikanori nti ayagala nnyo abantu b'eggwanga lye, era bamussaamu nnyo ekitiibwa, ne bamuyita kitaawe w'Abayudaaya, kubanga yabayambanga mu bingi. 38Mu biseera eby'embaga Abayudaaya bwe baagaana okugoberera empisa z'abagwira, baamuwalanya olw'okwatula eddiini y'Ekiyudaaya, era yeeteeka mu kabi olw'okuginywererako. 39Nikanori olw'okwagala okulaga nga bw'akyawa Abayudaaya, n'atuma abaserikale ebikumi bitaano okukwata Razi oyo, 40kubanga yalowooza nti bw'anaamukwata, Abayudaaya bajja kulumwa nnyo. 41Abaserikale bwe baali banaatera okuwamba ennyumba Razi mwe yali, nga basindika enzigi n'amaanyi, ne babalagira bazikumeko omuliro okuzookya. Razi bwe yalaba nga takyalina buwonero ne yeetunga ku kitala kye, 42ng'asiima okufa n'ekitiibwa okusinga okuswazibwa mu mikono gy'ababi.
43Mu kavuvuŋŋano ako nga n'abalabe bafubutuka okuyita mu miryango n'ateefumita watuufu awayinza okumutta. Kyeyava afubutuka n'obuvumu, n'alaga ku kisenge, n'abuuka ne yeesolessa masajja wansi mu bbiina ly'abantu. 44Nabo amangwago ne beesasa ne yeekuba ennume y'ekigwo mu kibangirizi mwe bavudde. 45Ng'akyali mulamu era ng'ajjudde obuzira, n'ayimukawo, ng'omusaayi gutiiriika n'adduka ng'ayita mu bbiina ly'abantu, n'alinnya waggulu ku lwazi oluwanvu. 46Ng'olwo aweddemu omusaayi, ne yeesowolamu ebyenda n'emikono gye gyombi n'abikasuka mu bbiina ly'abantu, nga bw'asaba Mukama nnannyini bulamu okubumuddiza gye bujja. N'afa bw'atyo.

Currently Selected:

2 ABAMAKKABEEWO 14: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in