YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 8

8
1Malayika n'addamu nti: ‘‘Katonda Atenkanika, ensi eno yagitondera abantu bangi, naye ensi egenda okujja yagitondera batono. 2Ezera, ka nkuwe ekyokulabirako. Bw'obuuza ensi, ejja kukutegeeza nti evaamu ebbumba lingi eribumbibwamu entamu, naye evaamu zaabu mutono. N'ensi eno eriwo bw'etyo bw'eri. 3Abaatondebwa bangi, naye abalirokolebwa batono.”#Laba ne Mat 22:14
Ezera asabira abantu be
4Ne ŋŋamba mu mwoyo gwange nti, ‘‘Ka nfube okuba n'amagezi ntegeere. 5Nazaalibwa ku nsi kuno nga seeyagalidde, ndigivaako nga seesiimidde, era Katonda yangerera akaseera katono ak'okugibeeramu.”
6Ne nsaba nti: ‘‘Ayi Mukama ow'omu ggulu, kkiriza nze omuweereza wo okukusaba otusigemu ensigo yo mu mitima ne mu birowoozo byaffe, ogikuze ebale ebibala, omuntu eyayonooneka asobole okufuna obulamu, 7kubanga ggwe Katonda wekka, era gwe watutonda ffenna, nga bwe wayogera. 8Omubiri ogububirwa mu lubuto, oguwa obulamu, n'emikono, n'amagulu, ekitonde kyo n'okikuumira bulungi awali omuliro n'amazzi. Omubiri gw'obumba gumala emyezi mwenda mu lubuto. 9Olubuto n'ekirulimu biba bulungi, kubanga ggwe wennyini obikuuma. Olubuto bwe luzaala ekyalutondebwamu, 10olagira amabeere g'omuntu okuvaamu amata. 11Omwana azaaliddwa amala ebbanga ng'aliisibwa bw'atyo, oluvannyuma n'oyongera okumulabirira n'okusaasira kwo. 12Okuza omuntu mu kukola ebituufu, n'omuyigiriza Amateeka go, n'omukangavvula n'amagezi go. 13Ggwe Mutonzi we era bw'oyagala oyinza okutwala obulamu bwe oba okumuleka n'aba mulamu. 14Naye oba ng'oyanguyirwa okuzikiriza omuntu, nga ggwe walagira n'atondebwa n'obwegendereza, kale wamutondera ki?
15‘‘Kaakano, ayi Mukama, ka njogere kino nti ebifa ku bantu bonna, ggwe obimanyi. Naye nze nnakuwala olw'abantu bo. 16Neeraliikirira ne nnumirwa eggwanga lyo ery'Abayisirayeli, bazzukulu ba Yakobo. 17Kyenva njagala okubasabira n'okwesabira nze nnyini, kubanga ndaba nga ffenna abali ku nsi kuno tulemeddwa. 18Era mmanyi nga tunaatera okusalirwa omusango. 19Kale nkwegayiridde wulira bye ŋŋamba weetegereze bye nkusaba.”
20Okusaba kwa Ezera bwe yali nga tannatwalibwa mu ggulu, kutandika bwe kuti: ‘‘Ayi Mukama, abeerawo emirembe gyonna, ggwe nnannyini w'ebiri waggulu mu bbanga. 21Entebe yo ey'obwakabaka tegeraageranyizika, era ekitiibwa kyo tekitegeerekeka. Eggye lya bamalayika liyimirira mu maaso go nga likankana. 22Liba lyetegese okufuuka embuyaga oba omuliro ng'oliragidde. Ekigambo kyo kya mazima emirembe gyonna.#Laba ne Zab 104:4; Beb 1:7 23By'olagira bya maanyi era bya ntiisa. Otunuulira obuziba bw'ennyanja ne bukalira. Obusungu bwo busaanuusa ensozi. Amazima go ga mirembe gyonna. 24Ayi Mukama, ggwe wantonda, era ndi muweereza wo, wulira okusaba kwange. 25Nga nkyali mulamu era nga nkyategeera, sijja kusirika.
26‘‘Totunuulira bibi bya bantu bo, naye tunuulira abo abakuweereza n'obwesigwa. 27Tossa mwoyo ku batakussaamu kitiibwa ne ku bye bakola, naye guteeke ku abo abakuumye endagaano yo nga babonaabona. 28Tolowooza ku abo abaamalako obulamu bwabwe mu kwonoona, naye jjukira abo abaakukkiriza nga basanyuka. 29Tozikiriza bantu bo olw'abo abaali ng'ensolo mu bulamu bwabwe, naye tunuulira abo abaayigiriza Amateeka go obulungi. 30Tosunguwalira abo b'olaba nga babi okusinga ensolo, naye laga bw'oyagala abo abeesiga ekitiibwa kyo.
31‘‘Ddala ffe ne bajjajjaffe obulamu bwaffe buli mu bibi ebituleetera okufa, naye ku lwaffe aboonoonyi kyova oyitibwa omusaasizi. 32Bw'onoosiima okutukwatirwa ekisa, ffe aboonoonyi abatakola birungi bitusiimisa, ddala onooyitibwanga musaasizi. 33Abakola ebituufu balifuna empeera yaabwe olw'ebirungi ebingi by'omanyi bye baakola.
34‘‘Leero omuntu kye ki, ggwe okumusunguwalira? Olulyo lw'abantu abafa kye ki, ggwe okubasibira ekiruyi. 35Mu mazima, tewali muntu yazaalibwa, atakolanga kibi, tewali n'omu omulamu atalina musango. 36N'olwekyo, ayi Mukama, okukwatirwa ekisa abo abatalina kalungi konna ke baakola, kye kinaalagira ddala obutuukirivu bwo n'obulungi bwo.”
37Awo n'anziramu nti: ‘‘Bingi ku by'oyogedde bituufu, era bijja kuba nga bw'ogambye. 38Mazima sijja kulowooza ku boonoonyi, ku kutondebwa kwabwe oba ku kufa, ku kusalirwa omusango, wadde ku kuzikirira kwabwe. 39Naye nja kusanyukira okutondebwa kw'abakola ebituufu, olugendo lwabwe ku nsi, okulokolebwa kwabwe, n'empeera gye balifuna ku nkomerero. 40Biriba nga bwe njogedde. 41Omulimi asiga ensigo nnyingi era asimba ebimera bingi mu ttaka. Naye si byonna ebikwata wadde ebidda mu kiseera ekituufu. Ne ku nsi eno bwe kiri. Si buli muntu eyateekebwa ku nsi kuno alirokolebwa.”
42Awo ne ŋŋamba nti: ‘‘Bw'oba ng'osiima, nzikiriza njogere. 43Ensigo z'omulimi oluusi tezimera, kubanga oba tewatonnyesa nkuba mu kiseera ekituufu, oba ziyinza okuvunda olw'enkuba okuyitirira obungi. 44Naye ku bantu si bwe kiri, kubanga ggwe wababumba n'engalo zo, wabatonda bakufaanane, era byonna wabitonda ku lwabwe. Kale obageraageranya otya n'ensigo z'omulimi? 45Ayi Mukama ow'omu ggulu, si bwe guli! Tosunguwalira bantu bo, bakwatirwe ekisa, obasonyiwe kubanga ggwe wabatonda.”
46N'addamu nti: ‘‘Ebiriwo kaakano, by'abo abaliwo, n'ebirijja by'abo abalijja. 47Toyinza kwagala bye natonda okusinga nze bwe mbyagala. Toddayo kwebalira mu batali batuukirivu nga bw'okoze emirundi emingi. 48Wabula nsanyuse 49kubanga weetoowazizza n'oteenyumiriza nga weeyita omutuukirivu. 50Abantu abeekulumbazanga mu bulamu bwabwe ku nsi, balibonaabona nnyo mu biseera eby'enkomerero. 51Naye ggwe Ezera, lowooza ku kitiibwa ekikuteekeddwateekeddwa ggwe, era n'abali nga ggwe. 52Kubanga ku lwammwe mwenna, oluggi olw'ekifo eky'okwesiimiramu lugguliddwawo, omuti ogw'obulamu gusimbiddwa, ensi ejja okujja eteekeddwateekeddwa, bye mwetaaga byonna biterekeddwa, ekibuga eky'omu ggulu kizimbiddwa, okuwummula emirimu gyammwe gyonna kubalindiridde, era obulungi n'amagezi bituukiridde.#Laba ne 1 Peet 1:4 53Ensibuko y'obubi esibiddwako envumbo, tebukyasobola kubatuukako. Endwadde zonna ziggyiddwawo, n'okufa kuggyiddwawo, amagombe tegakyaliwo, n'okwonooneka kuweddewo. 54Obulumi bwonna buweddewo, ekkula ly'obutafa lirudde ddaaki ne liragibwa.
55‘‘N'olwekyo toyongera kubuuza ku bangi abazikirira, 56kubanga bwe baaweebwa eddembe okulondawo kye baagala, baanyooma Katonda Atenkanika, ne bagaya Amateeka ge, ne bagaana okutambulira mu makubo g'abalaga. 57Era baalinnyirira abaweereza ba Katonda abatukuvu. 58Baagamba ne mu mitima gyabwe nti tewali Katonda, newaakubadde baali bamanyi bulungi nti balifa. 59Kale essanyu lye nnyinyonnyodde lye liriba eryammwe, ennyonta n'okubonyaabonyezebwa ne biba ebya bali. Naye Katonda Atenkanika teyayagala muntu n'omu kuzikirira.#Laba ne Luk 16:24 60Abatonde bennyini be baaswaza erinnya ly'Omutonzi waabwe, ne batasiima Oyo eyabateekerateekera obulamu. 61N'olwekyo olunaku lwe ndibasalirako omusango luli kumpi. 62Sirumanyisa bonna, wabula ggwe n'abalala abali nga ggwe.”
63Ne mmuddamu nti: ‘‘Ssebo, ondaze obubonero bungi bw'olikola mu nnaku ez'enkomerero, naye tontegeezezza kiseera lwe biribaawo.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 8: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in