YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 9

9
Obubonero bw'olunaku olw'enkomerero
1Malayika n'anziramu nti: ‘‘Weetegereze bulungi bino byonna. Obumu ku bubonero bwe nkutegeezezza bw'oliraba nga bubaawo, 2olimanya nti ekiseera kituuse Katonda Atenkanika asalire ensi gye yatonda omusango. 3Walibaawo musisi, obwegugungo mu ggwanga, amawanga okwewerera gannewaago, okuyuugayuuga kw'abakulembeze, n'okutabukatabuka kw'abafuzi. Bw'oliraba ebyo nga bibaawo, 4olimanya nti bye byo Katonda Atenkanika bye yayogerako okuviira ddala ku ntandikwa y'okutondebwa kw'ensi. 5Entandikwa n'enkomerero ya buli kimu ekigwawo mu nsi, yeeraga bulungi. 6Bwe kityo bwe kiri ne ku biseera Katonda bye yateekawo. Ebyamagero n'ebyewuunyo, bye biraga entandikwa yaabyo, obubonero obw'amaanyi ne bulaga enkomerero yaabyo.
7‘‘Abamu baliwona okuzikirizibwa, kubanga baliba n'ebikolwa ebirungi era n'okukkiriza. 8Baliyita mu by'akabi bye njogeddeko ne beesiimira mu kulokola kwe ndireetera ensi yange, gye neeyawulira nga yange okuva edda n'edda. 9Olwo abataafaayo ku makubo ge mbalaga, era abaagagaya balyewuunya, bwe baliraba nga bali mu kubonyaabonyezebwa okutasalako. 10Mu abo mwe muliba abo bonna abatanzikiriza nga bakyali balamu, newaakubadde nga nabakolera ebirungi. 11Era mwe muliba abo bonna abaanyooma Amateeka gange nga bakyalina eddembe okukola kye baagala, n'abo abaagaana okwenenya nga bakyasobola okukikola.#Laba ne Mag 12:10,20; Beb 12:17 12Abo bonna okubonyaabonyezebwa nga bamaze okufa, kwe kulibakkirizisa amazima. 13Kale Ezera, toyongera kubuuza ku ngeri ababi gye balibonerezebwamu, wabula ky'oba onoonya kwe kumanya engeri abatukuvu gye balirokolebwamu, n'ekiseera kye balirokolerwamu. Ensi yaabwe, era yatondebwa ku lwabwe.”
14Ne mmugamba nti: 15‘‘Ka nziremu kye nayogedde edda nti abazikirira bangi nnyo okusinga abalokolebwa, 16ng'ejjengo ly'amazzi bwe lisinga ettondo lyago obunene.”
17N'anziramu nti: ‘‘Ensigo zisigibwa okusinziira ku ttaka nga bwe liri, langi y'ekimuli esinziira ku kika kyakyo, obulungi bw'omulimu businziira ku bumanyirivu by'oyo agukola, n'obungi bw'ebikungulwa businziira ku kutegana kw'omulimi. 18Bwe nali nga sinnatonda nsi, oba abantu ab'okugibeerako, tewaali n'omu ampakanya, kubanga waali tewannabaawo muntu n'omu. 19Bwe natonda ensi, nagiteekamu ebyokulya bingi, wamu n'Amateeka ag'amagezi amangi, naye abantu be natonda ne baba n'empisa embi. 20Bwe natunuulira ensi yange ne ndaba ng'eyonoonese, ng'eri mu kabi ak'okusaanyizibwawo entegeka embi ez'abantu abagirimu. 21Bwe nalaba ekyo, ne nkaluubirirwa okubasaasira. Naye ku birimba by'emizabbibu ne ntalizaako kimu. Mu kibira ekinene ne ntalizaako omuti gumu. 22Kale abangi abaazaalibwa nga tebalina mugaso, ka bazikirire, naye ekirimba kyange eky'omuzabbibu ekimu, n'omuti gwange bitalizibwe, kubanga nategana okubifuula ebituukiridde.
23‘‘Kaakano Ezera, lindako ennaku endala musanvu, naye nga ku mulundi guno tosiiba. 24Laga mu ttale omuli ebimuli, awatazimbibwanga nnyumba. Tolya nnyama wadde okunywa omwenge, naye olye ebimuli byokka. 25Ebbanga lyonna osabe Katonda Atenkanika, oluvannyuma nja kujja njogere naawe.”
OKULABIKIRWA OKWOKUNA
Ennaku Ezera ze yamala mu ttale
26Awo ne nkola nga malayika bwe yandagira, ne ndaga mu ttale eriyitibwa Arudati. Ne mbeera eyo mu bimuli, ne ndya ebimera eby'omu ttale, ne bifuuka emmere yange enzikusa. 27Nali neebase ku bisubi, ng'ennaku omusanvu ziweddeko, ne nziramu okweraliikirira mu mutima nga luli olwasooka. 28Ne ntandika okwogera ne Katonda Atenkanika, ne mmugamba nti: 29‘‘Ayi Mukama, weeyoleka bajjajjaffe nga batambulira mu ddungu, omutaali kkubo bwe baali nga bava e Misiri. Wabagamba nti:#Laba ne Kuv 19:9; 24:10; Ma 4:12 30‘Mmwe abantu ba Yisirayeli, muwulire bye mbagamba. 31Mbawa Amateeka gange, agajja okuba ng'ensigo esigiddwa mu mmwe okubala ebibala, era agalibaweesa ekitiibwa emirembe gyonna.’ 32Bajjajjaffe abo baafuna Amateeka ago, naye ne bajeemera bye galagira. Wabula ekyo tekyagazikiriza, kubanga gaali gago. 33Abaagafuna baazikirizibwa kubanga tebaakuuma nsigo nnungi eyabasigibwamu. 34Ekitera okubaawo bulijjo, ensigo bw'esigibwa mu ttaka, eryato bwe liteekebwa ku nnyanja, n'ebyokulya oba ebyokunywa bwe bibaako kye biteekeddwamu, 35ebyo ebiteekeddwamu bwe bizikirizibwa, ekyo kye biteekeddwamu oba kye birimu, kisigalawo. Naye si bwe kiri ku ffe aboonoonyi. 36Ffe abaafuna Amateeka mu mitima gyaffe, ne twonoona, ffe tulizikirizibwa. 37Kubanga Amateeka go tegalizikirizibwa, naye galisigalawo n'ekitiibwa kyago kyonna.”
Ezera alaba omukazi eyafiirwa mutabani we
38Bwe nali nga neewuunaganya mu mutima gwange, ne mmagamaga, ne ndaba omukazi ku ludda lwange olwa ddyo. Yali anakuwadde nnyo, ng'akaaba amaziga era ng'atema emiranga. Yali mu ngoye eziyulise era ng'alina evvu mu mutwe. 39Ne nva ku bye nali ndowooza, ne nkyukira omukazi oyo, 40ne mmubuuza nti ‘‘Okaabira ki? Lwaki onakuwadde?”
41N'anziramu nti: ‘‘Ssebo, ndeka neekaabire, neemaleko obulumi, kubanga ennaku n'obuyinike bigenda kunzita!”
42Ne mmugamba nti: ‘‘Kiki ekikutuuseeko? Mbuulira.” 43N'anziramu nti: ‘‘Nafumbirwa ne mmala emyaka amakumi asatu nga ndi mugumba. 44Mu myaka egyo gyonna amakumi asatu, buli lunaku, buli ssaawa, emisana n'ekiro nasabanga Katonda Atenkanika. 45Emyaka egyo amakumi asatu bwe gyayitawo, Katonda n'ayanukula okusaba kwange. Yalaba obuyinike bwange n'amalawo okunakuwala kwange, n'ampa omwana ow'obulenzi. Ne nsanyuka nnyo wamu ne baze ne baliraanwa baffe bonna, olw'okufuna omwana oyo, ne tuyimba okutendereza Katonda Omuyinzawaabyonna. 46Nafuba nga bwe nsobola okumukuza obulungi. 47Bwe yakula, ne mmulabira omukazi ow'okuwasa. Ne tuteekateeka embaga.

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 9: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in