YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 7

7
1Bwe namala okwogera ebyo, malayika eyatumibwa gye ndi mu biro biri ebyakulembera, n'addamu okulabika. 2N'aŋŋamba nti: ‘‘Ezera, golokoka, owulire bye nzize okukutegeeza.”
3Ne mmugamba nti: ‘‘Ssebo, yogera.” N'aŋŋamba nti: ‘‘Weefaanaanyirize ennyanja ennene era ey'eddubi esaasaanidde mu kifo ekigazi, 4naye ng'omwagaanya ogugituukako mufunda nnyo ng'akagga akatono. 5Buli ayagala okugituukako okugiraba oba okugyefuga, tayinza kutuuka ku mazzi gaayo agaaladde, wabula ng'ayise mu mwagaanya ogwo omufunda. 6Oba ekirala, weefaanaanyirize ekibuga ekyazimbibwa mu lusenyi, 7naye ekkubo ery'okukituukamu nga lya kanyigo era nga lya kaserengeto, nga ku ludda olumu eriyo omuliro, ate nga ku ludda olulala eriyo amazzi ag'eddubi. 8Akakubo ako akali wakati w'omuliro n'amazzi olw'obufunda ennyo, nga kasobola kuyitibwamu omuntu omu omu. 9Bwe wabaawo gwe balaamidde okusikira ekibuga ekyo, ayinza atya okugendayo okukifuna wabula ng'ayise mu kakubo ako ak'akabi?”
10Ne ŋŋamba nti: ‘‘Weewaawo, Ssebo.” 11Ye n'aŋŋamba nti: ‘‘Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu ba Yisirayeli. Natonda ensi yonna ku lwabwe, naye Adamu bwe yamenya ebiragiro byange, ebitonde byonna ne biba n'omusango.#Laba ne Bar 5:18-20 12Olwo amakubo agayitibwamu okuyingira mu nsi eno, ne gafunda era ne gaba mazibu, agalimu ebisirikko, ag'akabi era nga si mangi. 13Naye amakubo agatuusa mu nsi esingawo obunene, magazi, tegaliimu kabi, era gatuusa mu butafa. 14Kale bonna abalamu bateekwa okuyita mu bukubo obufunda era obutalina makulu, okusobola okufuna ebirungi ebibaterekeddwa. 15Kale ggwe Ezera, lwaki weeraliikirira n'oggweebwako emirembe olw'okulowooza bw'oli ow'okufa?#Laba ne 2 Kor 4:18 16Lwaki omutima gwo toguteeka ku biribaawo, mu kifo ky'okuguteeka ku biriwo?”
17Ne mmuddamu nti: ‘‘Ssebo, Mukama wange, mu mateeka go wagamba nti: abakola ebituufu balifuna ebirungi ebyo, naye ababi balizikirira. 18N'olwekyo abakola ebituufu bayinza okugumira ebizibu byonna eby'ekkubo lino effunda, kubanga basuubirayo eggazi.”
19Malayika n'aŋŋamba nti: ‘‘Olowooza nti oli mulamuzi omulungi okusinga Katonda, oba nti oli mugezi okusinga Katonda Atenkanika? 20Bangi abaliwo bazikirira, kubanga bagayaalirira Amateeka Katonda ge yateekawo. 21Abantu bonna abajja ku nsi, Katonda yabateekerawo amateeka agabalaga ebirungi bye bagwanira okukola babe balamu, era baleme okubonerezebwa. 22Naye ababi ebyo tebaabifaako. Baamuwakanya mu busirusiru bwabwe, ne beeteerawo entegeka eyaabwe etalina mugaso. 23Baakolera ku by'obukumpanya n'obubi, ne bagaana okukkiriza nti Katonda Atenkanika waali, era ne bamujeemera. 24Baanyooma Amateeka ge, ne batakkiriza bye yasuubiza, ne batawulira bye yateekawo, wadde okukola bye yalagira. 25N'olwekyo Ezera, abatalina kantu tebalifuna kantu. Abalina ebingi, baliweebwa bingi.
Ebiribaawo ku lunaku olw'enkomerero
26‘‘Ekiseera kirituuka, obubonero buno bwe nkubuulidde ne bulabibwa. Ekibuga kati ekitalabika, n'ensi kati ekwekeddwa, birirabibwa. 27Buli aliyita mu bikangabwa bye njogeddeko, aliraba ebyewuunyisa bye ndikola. 28Omwana wange Messiya alirabika awamu n'abo abali naye. abo bonna bakaawonawo alibaleetera essanyu okumala emyaka ebikumi bina. 29Emyaka egyo bwe giriggwaako, Omwana wange oyo Messiya alifa era n'abantu bonna balifa. 30Olwo ensi eriddayo okuba mu kasiriikiriro okumala ennaku musanvu, nga ke yalimu ku ntandikwa. 31Ng'ennaku omusanvu ziyiseewo, omulembe guno omwonoonefu guliggwaawo, waddewo omulembe omuggya. 32Ettaka lirikomyawo abafu abalyebaseemu mu kasirise, abagalamidde mu nfuufu, emyoyo gy'abafu gisumululwe mu bifo mwe gyali gikuumirwa.#Laba ne Dan 12:2 33Katonda Atenkanika alirabika ng'atudde ku ntebe ye ey'obulamuzi. Okusaasira n'okugumiikiriza biriggweerawo ddala 34ne waddawo okusala omusango. Amazima galyesimbawo, n'obwesigwa ne buddamu amaanyi. 35Ebirungi n'ebibi abantu bye baakola biryeragira ddala mu lwatu, okuwa empeera n'ekibonerezo kulyoke kuddeko amangwago. 36Ekinnya eky'okubonaaboneramu wamu n'omuliro ogutazikira birirabika, nga ku ludda olulala eriyo ekifo eky'okwesiimiramu n'okuwummuliramu.#Laba ne Luk 16:23-24; Kub 9:2
37‘‘Awo Katonda Atenkanika aligamba amawanga agazuukidde nti: ‘Mulabe, ye nze gwe mwegaana ne mutampeereza, era ne mugaana ebiragiro byange. 38Mwebunguluze amaaso, ku ludda olumu eriyo essanyu n'emirembe, ku ludda olulala eriyo omuliro n'okubonyaabonyezebwa.’ Ebyo by'aligamba ku lunaku olw'okusalirako omusango.
39‘‘Ku lunaku olwo olw'okusalirako emisango, tewaliba njuba, omwezi oba emmunyeenye. 40Tewaliba bire, okubwatuka kw'eggulu wadde okumyansa, embuyaga, amazzi n'empewo tebiribaawo. Tewaliba kizikiza, tewaliba kawungeezi wadde amakya. 41Tewaliba biseera bya kyeya, na biseera ebiweweevu wadde eby'obutiti. Tewaliba bbugumu, omuzira, obunnyogovu, enkuba wadde ssuulwe. 42Tewaliba ttuntu, ekiro, oba mmambya esala. Okwakaayakana emisana n'obutangaavu, wadde ekitangaala, nabyo tebiribeerawo. Ekitangaala kyokka ekiribeerawo, kwe kwakaayakana okwa Katonda Atenkanika, kwe kulisobozesa buli omu okulaba. 43Okusala omusango kulimala emyaka musanvu. 44Eyo ye nteekateeka gye nakolera olunaku olw'okusalirako omusango. Ebyo mbikubuuliddeko ggwe wekka.”
Abatono bokka be balirokolebwa
45Awo ne mmugamba nti: ‘‘Mukama wange, nziramu okwogera kye nayogera okusooka: Nga ba mukisa abo abasobola okuba abalamu kati n'okugondera ebiragiro byo. 46Naye kale bali be mbadde nsabira, baliba batya? Waliwo n'omu, mu mulembe guno, atakolanga kibi, wadde atamenyanga ndagaano yo? 47Kati ntegedde, omulembe ogugenda okujja, batono be gulireetera essanyu, naye abangi gulibaleetera kubonyaabonyezebwa. 48Twakuliramu omutima ogusikirizibwa okukola ebibi, ne tuva mu makubo Katonda g'atulaga, omutima ogwo ne gutwonoona, ne gututwala mu kufa n'okuzikirira, ne gutusuuza obulamu. Kino tegukikoze ku batono bokka, naye kumpi ku buli mutonde.”
49Malayika n'aŋŋamba nti: ‘‘Ntegera amatu, nnyongere okukuyigiriza, nkugolole mu ndowooza yo, 50kubanga abalirokolebwa be batono, Katonda kyeyava atonda ensi ebbiri, n'atatonda emu. 51Nga bw'ogambye, abatukuvu be batono, naye ababi be bangi ennyo. Naye wulira kino: 52bw'oba n'amayinja ag'omuwendo agatali mangi, wandigongeddeko ebitole by'essasi n'eby'ebbumba olyoke oweze mangi?” 53Ne mmuddamu nti: ‘‘Nedda, tewali yandikoze ekyo.”
54Era n'agamba nti: ‘‘Ka ndeeteyo ekyokulabirako ekirala. Bwe weetoowaza n'obuuza ensi, ejja kukuddamu 55oba ng'esinga kuvaamu zaabu, ffeeza, kikomo, kyuma, ssasi, oba bbumba. 56Ffeeza ye mungi okusinga zaabu, n'ekikomo kye kisinga ffeeza obungi, ekyuma ne kisinga ekikomo obungi. Essasi lye lingi okusinga ekyuma, n'ebbumba lye lisinga essasi obungi. 57Kale naawe weggyiremu. Ebintu ebya bulijjo, n'ebyo ebitalabikalabika, biruwa ebisinga okwegombebwa n'okuba eby'omuwendo?”
58Ne mmuddamu nti: ‘‘Ssebo, era Mukama wange ebintu ebyabulijjo bya mwero, naye ebitalabikalabika bye by'omuwendo omunene.”
59Ye n'addamu nti: ‘‘N'olwekyo olaba bulungi nti omuntu alina ekintu ekizibu okufuna aba n'ensonga okusanyuka okusinga oyo alina ekyangu okufuna. 60Bwe ntyo nange ku lunaku lwe nalagaanya okusalirako omusango, ndisanyuka olw'abatono abalirokolebwa, kubanga be bantenda ne banzisaamu ekitiibwa, era ne bamanyisa erinnya lyange. 61Sirinakuwala olw'abangi abalizikirira, kubanga bali ng'olufu, era bali ng'omuliro n'omukka, bakoleera ne baaka, ne bazikira mangu.”
62Awo ne ŋŋamba ensi nti: ‘‘Laba kye wakola! Amagezi g'omuntu gali ng'ebirala byonna ebyava mu ggwe enfuufu. 63Ekyandisinze obulungi, ggwe bwe butatondebwa, n'otovaamu muntu ow'amagezi. 64Naye kaakano tukula tulina amagezi ne gatubonyaabonya, kubanga tumanya nti tuli ba kufa. 65Bw'ogeraageranya, ffe abantu olwa kino, ensolo zo ezitayogera zeesiimye! 66Ziri bulungi okusinga ffe. Zo tezeeraliikirira kusalirwa musango, era tezifaayo ku kubonyaabonyezebwa oba okulokolebwa, nga zimaze okufa. 67Kale ffe kitugasa ki okusuubizibwa okufuna obulamu obulijja, bwe buba nga buliba bwa kubonyaabonyezebwa? 68Buli azaalibwa, akwatibwa mu kitimba ky'ekibi, aba mwonoonyi, n'azitoowererwa omusango. 69Tolowooza nti twandibadde bulungi okusingawo, singa tetwali ba kusalirwa musango nga tumaze okufa?”
70Malayika n'anziramu nti: ‘‘Katonda Atenkanika bwe yali atonda ensi ne Adamu ne bazzukulu be, yasooka kuteekateeka bya kusala musango. 71Naawe wennyini labira ku bigambo by'oyogedde. Ogambye nti mukola ekibi nga mulina amagezi. 72Era ddala kye kyo. Abantu b'oku nsi kuno baakola ekibi nga bakimanyi. Baafuna ebiragiro bya Katonda, naye ne batabikuuma. Bakkiriza Amateeka, ate ne bagajeemera. Kyebaliva babonyaabonyezebwa. 73Balyewolereza ki mu kusalirwa omusango? Baliddamu ki ku lunaku olw'enkomerero? 74Katonda Atenkanika agumiikirizza abantu b'oku nsi kuno okumala ebbanga ddene, si ku lwabwe, wabula ku lw'omulembe ogugenda okujja.”
Emyoyo gy'abafu
75Awo ne ŋŋamba malayika nti: ‘‘Ssebo, oba ng'osiimye, nsaba onnyinnyonnyole ekiribeerawo nga tufudde, buli omu n'azzaayo omwoyo gwe eri Omutonzi. Tulikuumirwa mu kiwummulo okutuusa lw'olikola ebitonde ebiggya, oba okubonyaabonyezebwa kwaffe kulitandika amangwago?”
76N'addamu nti: ‘‘Ekyo nakyo nja kukiddamu. Naye leka kwebalira mu abo abalibonyaabonyezebwa, kubanga bo baagaya Amateeka gange. 77N'ekirala, ggwe olina ebirungi bingi bye wakola, Katonda by'akuterekedde, newaakubadde tojja kubiraba okutuusa mu nnaku ez'enkomerero. 78Naye okukwanukula ky'obuuza ekikwata ku kufa, Katonda Atenkanika bw'amala okuwa ekiragiro nti omuntu afe, omwoyo guva mu mubiri, ne guddayo eri Oyo eyaguteekamu. Amangwago gutendereza ekitiibwa kya Katonda Atenkanika. 79Okusooka, abo abaali tebatya Katonda Atenkanika, era abaakyawanga abo abamussaamu ekitiibwa, 80emyoyo gyabwe tegibaako kifo we giwummulira. Gibungeeta bubungeesi bulijjo, nga gibonyaabonyezebwa mu buyinike ne mu kunakuwala. Gibonyaabonyezebwa lwa nsonga musanvu. 81Okusookera ddala, baagaya Amateeka ga Katonda Atenkanika. 82Eyookubiri, tebakyasobola kwenenya ne bafuna obulamu. 83Eyookusatu, balaba empeera eyaterekerwa abo abeesiga endagaano za Katonda Atenkanika. 84Eyookuna, balowooza ku kubonyaabonyezebwa okwabaterekerwa ku nkomerero. 85Eyookutaano balaba bamalayika nga bakuuma mu kasirise ebifo omuli emyoyo gy'abalala. 86Ey'omukaaga, balaba nga banaatera okubonyaabonyezebwa. 87Ey'omusanvu esingira ddala okubanakuwaza, bwe balaba Katonda Atenkanika ng'ali mu kitiibwa kye, bejjusa ne bakwatibwa ensonyi. Bawulira nga baggweerera olw'okutya, kubanga bwe baali nga bakyali balamu, baayonoona mu maaso ge, ate nga kati anaatera okubasalira omusango ku lunaku olw'enkomerero.
88‘‘Abo abaatambulira mu makubo Katonda Atenkanika ge yabateerawo, kino kye kyabateekerwateekerwa nga batuusizza okuva mu mibiri gyabwe egifa: 89bwe baali abalamu ku nsi, baaweereza bulungi Katonda Atenkanika. Newaakubadde nga baabeeranga mu buzibu ne mu kabi buli kaseera, naye baakwata ebyo Mukama omuteesi w'Amateeka bye yabalagira. 90Bino bye balifuna: 91balisanyuka okulaba ekitiibwa ekinene ekya Katonda alibaaniriza ne bayingira mu kiwummulo kyabwe, ne bafuna essanyu lya mirundi musanvu. 92Erisooka, balisanyuka olw'okulwana ennyo ne bawangula okusikirizibwa okubi okwabalimu, naye ne kutasobola kubaggya mu bulamu, kubatwala mu kufa. 93Essanyu lyabwe ery'omulundi ogwokubiri, liriba mu kulaba emyoyo gy'ababi bwe gibungeeta awatali kkomo, awamu n'ekibonerezo ekigirindiridde. 94Essanyu lyabwe ery'omulundi ogwokusatu kwe kumanya nti, Katonda waabwe aliboogerako bulungi nti bwe baali nga bakyali balamu, baakuuma Amateeka agaabakwasibwa. 95Essanyu ery'omulundi ogwokuna, kwe kumanya kye bagenda okusanyukiramu nga bali wamu, era nga bakuumibwa bamalayika abasiriikiridde, era n'ekitiibwa ekibalindiridde ku lunaku olw'enkomerero. 96Essanyu ery'omulundi ogwokutaano, kwe kumanya nti bavudde mu nsi eyayonooneka, era bagiwonye, bagenda okwefunira obulamu obulijja. Batunuulira ensi enfunda era erimu emitawaana gye baggyiddwamu, era ne balaba ensi engazi gye banaafuna basanyuke emirembe gyonna. 97Essanyu ery'omulundi ogw'omukaaga, kwe kulagibwa ng'amaaso gaabwe bwe galyakaayakana ng'enjuba, era nga bwe baliba ng'ekitangaala ky'emmunyeenye ekitazikira.#Laba ne Dan 12:3; Mat 13:43 98Essanyu lyabwe ery'omulundi ogw'omusanvu erisingira ddala liri lyonna, kwe kudduka okusisinkana Katonda amaaso n'amaaso, nga bajjudde obwesige n'essanyu, awatali kutya wadde ensonyi, kubanga baamuweereza mu bulamu bwabwe, kaakano bagenda okufuna empeera yaabwe mu kitiibwa.#Laba ne Mat 5:8; Beb 12:14; 1 Yow 3:2; Kub 22:4
99‘‘Essanyu eryo lye mbadde njogerako, lye lyo Katonda lye yateekerateekera emyoyo gy'abatukuvu. Okubonyaabonyezebwa kwe nasoose okukutegeeza kwe luliba okw'abajeemu.”
100Awo ne mmubuuza nti: ‘‘Emyoyo bwe giryawukana n'emibiri, giriweebwa obudde okulaba ebyo by'ombuulidde?” 101N'addamu nti: ‘‘Giriweebwa ennaku musanvu. Mu kiseera ekyo girikkirizibwa okulaba ebyo bye nkubuulidde. Oluvannyuma giryegatta ku mirala mu kifo gye gibeera.”
Abatono abalirokolebwa
102Awo ne mmugamba nti: ‘‘Ssebo, bw'osiima, nkusaba ombuulire: abatukuvu balisobola okusaba Katonda Atenkanika akwatirwe aboonoonyi ekisa ku lunaku olw'okusalirako omusango? 103Bakitaabwe b'abaana balisobola okusabira abaana baabwe, abaana okusabira abazadde baabwe? Abooluganda balisobola okusabiragana, n'ab'emikwano okusabira abo be baagala ennyo?”
104Ye n'anziramu nti: ‘‘Nsiima okukuddamu. Olunaku olw'okusalirako omusango, lwe lusalawo amazima ag'enkomerero, bonna bagalabe. Omanyi nti mu bulamu buno kitaawe w'omwana tayinza kutuma mutabani we okulwala oba okwebaka, oba okulya oba okuwonyezebwa mu linnya lye. Mukama w'omuddu tayinza kutuma muddu we, oba omuntu okutuma mukwano gwe ennyo okumukolera ebintu ebyo. 105Bwe kityo, ku lunaku olwo tewaliba asobola kusabira mulala. Buli muntu aliweebwa ekibonerezo oba empeera okusinziira ku bibi bye oba ku butuukirivu bwe.”
106Awo ne mmuddamu nti: ‘‘Mu Byawandiikibwa, nga tusomamu abaasabira abalala. Aburahamu yasabira abantu b'e Sodoma, Musa yasabira bajjajjaffe abaayonoonera mu ddungu.#Laba ne Nta 18:23; Kuv 32:11 107Ne Yoswa yasabira abantu ba Yisirayeli ku mirembe gya Akani,#Laba ne Yos 7:6-7 108ne Samweli n'abasabira ku mirembe gya Sawulo ne Dawudi yasaba mu kiseera ekya kawumpuli, ne Solomooni n'asabira abo abaali bagenda okusinziza mu Ssinzizo.#Laba ne 1 Sam 7:9; 2 Sam 24:17; 1 Bassek 8:22-23,30 109Eliya yasabira abantu bafune enkuba, era yasabira omufu addemu obulamu.#Laba ne 1 Bassek 18:42,45; 17:20-21 110Heezeekiya yasabira abantu ku mirembe gya Sennakeribu. Waliwo n'abalala bangi.#Laba ne 2 Bassek 19:15-19 111Oba ng'abakola ebituufu baasabira aboonoonyi mu biseera mwe baakolera ebibi ebingi obutali bwenkanya ne bweyongera okwala, lwaki tekirisoboka ku lunaku olw'okusalirako omusango?”
112Malayika n'addamu nti: ‘‘Eby'omu mulembe guno si bye by'enkomerero. Era mu mulembe guno ekitiibwa kya Katonda tekirabika bulijjo. Ab'amaanyi kyebava basabira abanafu mu bulamu buno. 113Naye olunaku olw'okusalirako omusango lwe luliba olw'enkomerero y'obulamu buno, n'entandikwa y'obulamu obulijja. Olwo okwonooneka kuliggwaawo. 114Abantu okwefaako bokka, n'obuteesigibwa biriggyibwawo. Obutuukirivu n'amazima birikuzibwa. 115Kale ku lunaku olw'okusalirako omusango tewaliba asobola kukwatirwa kisa abo abasaliddwa omusango okubasinga, era tewaliba ayinza kukola kabi ku abo abasaliddwa ne basinga.”
116Ne mmuddamu nti: ‘‘Kino kye ŋŋamba, kye nasookeddeko, era kye nsembyayo. Kyandisinzeeko obulungi singa ensi teyavaamu Adamu, oba singa Adamu yagivaamu nga tasobola kwonoona. 117Kale ffenna kitugasa ki okuba n'obulamu buno obujjudde obuyinike era nga kye tulindirira okufuna nga tufudde, kye kibonerezo? 118Ggwe Adamu, wakola ki? Ekibi kyo tekyasuula ggwe wekka, naye kyasuula naffe ffenna bazzukulu bo. 119Okutusuubiza obutafa kitugasa ki nga twakola ebibi ebitusalira ogw'okufa? 120Kitugasa ki okusuubira okubaawo emirembe gyonna, nga tuli mu kusoberwa okutaliimu ssuubi? 121Tufuna mugaso ki mu bifo ebirungi ebituteekeddwateekeddwa okubeeramu mu bulamu obujja, nga tumaze okuba mu bibi ebyenkanidde awo? 122Oba ng'ekitiibwa kya Katonda Atenkanika kirikuuma abo abaakolanga ebituufu mu bulamu bwabwe, ffe kiritugasa ki ng'obulamu bwaffe bujjudde ebibi? 123Kitugasa ki okulagibwa ekifo eky'okwesiimiramu n'ebibala byakyo ebitavunda era ebiyinza okutuwonya n'okutuwa byonna bye twetaaga? Ffe tetuyinza kutuukayo,#Laba ne Ezek 47:12; Kub 22:2 124kubanga tubadde mu bulamu obutasiimibwa. 125Eky'okuba nti amaaso g'abo abeefuganga galyakaayakana okusinga emmunyeenye, ffe kitugasa ki ng'agaffe galikwata ekizikiza okusinga ekiro? 126Bwe twakolanga ebibi mu bulamu bwaffe, tetwalowoozanga ku ngeri gye tulibonaabonamu nga tumaze okufa.”
127Malayika n'anziramu nti: ‘‘Olutalo buli muntu ku nsi lw'agwanira okugumira, ekyo kye lutegeeza. 128Bw'awangulwa, agwanira okubonyaabonyezebwa ebyo by'ombuulidde. Kyokka bw'awangula, alifuna ebirungi bye nva okwogerako. 129Musa edda kyeyava akubiriza abantu okulondawo obulamu balyoke babe balamu.#Laba ne Ma 30:19 130Kyokka tebaamukkiriza wadde abalanzi abaamuddirira. Era nange tebanzikiriza bwe nayogera nabo. 131Kale okunakuwala olw'okuzikirira, temuli kantu, bw'okugeraageranya n'essanyu olw'okulokolebwa kw'abo abakkiriza.”
132Ne muddamu nti: ‘‘Ssebo, mmanyi nga Katonda Atenkanika ayitibwa wa kisa, kubanga akwatirwa ekisa abo abatannazaalibwa. 133Era ayitibwa musaasizi, kubanga asaasira abeenenya ne bawulira Amateeka ge. 134Era ayitibwa mugumiikiriza, kubanga agumiikiriza abatonde be aboonoonyi. 135Amanyiddwa nga wa kisa, kubanga ayagala okugaba okusinga okuweebwa. 136Era amanyiddwa nga bw'asonyiwa ennyo, kubanga asonyiwa bulijjo aboonoonyi abaaliwo, n'abaliwo n'abalibeerawo. 137Singa tayongera kusonyiwa, obulamu bw'ensi eno n'abagirimu bwandiweddewo. 138Ayogerwako nti asonyiwa, kubanga singa teyali mulungi asonyiwa aboonoonyi, mu bantu omutwalo ogumu tewandibadde n'omu aweebwa bulamu. 139Ayitibwa mulamuzi kubanga asonyiwa n'asangulawo ebibi ebingi eby'abo be yatonda n'ekigambo kye. 140Singa si bwe kiri, ku bantu bonna, batono nnyo abandisigaddewo.”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 7: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in