YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 6

6
1N'aŋŋamba nti: ‘‘Kino nakisalawo dda nga sinnatonda nsi, ng'emiryango gyayo teginnasimbibwa, nga n'embuyaga tennakuŋŋaana kukunta. 2Eddoboozi ly'okubwatuka lyali terinnabaawo, ng'ekitangaala tekinnayaka, nga n'emisingi gy'ekifo eky'okwesiimiramu teginnanywezebwa, 3n'ebimuli ebirungi nga tebinnalabika. Amaanyi agatambuza emmunyeenye gaali tegannateekebwawo, n'amagye ga bamalayika agatabalika nga tegannakuŋŋaana. 4Emitendera gy'empewo gyali teginnateekebwayo waggulu, wadde ebitundu ebyawufu eby'eggulu okutuumibwa amannya gaabyo. Nali sinnalonda Siyooni kuba ekifo mwe nninnya ebigere. 5Ensi nga bw'eri yali tennategekebwa, era aboonoonyi abagiriko nga tebannagobebwa, wadde abawulira amateeka gange, n'abakuuma okukkiriza baali tebannateekebwako kabonero. 6Olwo lwe nalowooza ebyo byonna, ne mbikola ku bwange nzekka. Era nze nzekka, nze nditeekawo enkomerero yaabyo.”
7Awo ne mmubuuza nti: ‘‘Emirembe giryawulwamu gitya? Ogusooka guliggwaako ddi? Era oguliddirira gulitandika ddi?”
8N'addamu nti: ‘‘Ebbanga eryo teririba ggwanvu okusinga eriri wakati w'omulembe gwa Aburahamu ne Yisaaka. Ono bwe yazaala Yakobo ne Esawu, Yakobo yajja akutte ku kisinziiro kya Esawu. 9Esawu y'ategeeza enkomerero y'omulembe guno, Yakobo n'ategeeza entandikwa y'omulembe ogugenda okujja. 10Oba omukono gwa Yakobo y'entandikwa, ng'ekisinziiro kya Esawu y'enkomerero, kale Ezera, leka kugezaako kumanya bbanga eriri wakati.”
Obubonero obuliraga enkomerero y'ensi
11Awo ne mmugamba nti: ‘‘Ssebo, Mukama wange, 12oba ng'osiima, nsaba ontegeeze obubonero obulala ng'oyongereza ku buli bwe wantegeeza mu kiro ekyasooka.” 13N'anziramu nti: ‘‘Golokoka oyimirire, owulire eddoboozi ery'omwanguka. 14Ekifo ky'oyimiriddemu bwe kinaakankana 15nga lyogera, totya. Bye linaayogera bifa ku nkomerero ya nsi, era emisingi gy'ensi ginaategeera 16nti lyogera ku gyo. Ginaajugumira ne gikankana, kubanga gimanyi nti enkomerero bw'erituuka, girikyukakyuka.”
17Bwe nawulira ebyo, ne nnyimirira ne mpuliriza. Ne mpulira eddoboozi eriyira ng'ery'amazzi amangi.#Laba ne Kub 1:15; 14:2; 19:6 18Ne ligamba nti: ‘‘Ekiseera kiri kumpi okutuuka lwe ndijja okusalira abali ku nsi omusango. 19Ndibonereza abo abalumya abalala nga tebagoberera mazima. Olwo okutoowazibwa kwa Yerusaalemu kuliggwaawo, 20n'omulembe guno ogunaatera okuggwaawo, guliteekebwako envumbo. Awo ne ndeeta obubonero buno: ebitabo biribikkulwa mu maaso g'ab'omu ggulu, bonna babirabe mu kaseera ako.#Laba ne Dan 7:10; 12:1; Mal 3:16; Kub 20:12 21Abaana abawezezza omwaka ogumu gwokka balyogera, abakazi abali embuto ez'emyezi esatu oba ena bazaale, obwana bwabwe obwo obutatuusizza nnaku, bukule era buzannye. 22Emisiri egiriba gisigiddwa, amangwago gibe ng'egitasigibwanga, amaterekero g'emmere agaliba gajjudde, amangwago galisangibwa nga tegaliimu kantu. 23Walibaawo eŋŋombe erivuga, etiise bonna abaligiwulira.#Laba ne 1 Kor 15:51-52; 1 Bat 4:16 24Ab'emikwano balirwanagana ng'abalabe, ensi n'abagiriko bonna bajjule entiisa. Emigga girirekera awo okukulukuta okumala essaawa ssatu.
25‘‘Buli aliyita mu ebyo byonna bye nkubuulidde nga bukyali, alitalizibwa n'alaba bwe ndokola, n'alaba n'enkomerero y'ensi eno gye natonda. 26Bonna baliraba abantu abaatwalibwa mu ggulu nga tebafudde. Olwo emitima gy'ab'oku nsi girikyuka ne girongooka.#Laba ne Nta 5:24; 2 Bassek 2:11-12; Sir 44:16; Mal 4:5-6 27Ebibi birizikirizibwa, n'obulimba ne buggyirwawo ddala. 28Obwesigwa bulyeyongera amaanyi, okulya enguzi kuliwangulwa. Amazima agamaze ebbanga eddene nga tegavaamu mugaso galiragibwa.”
Malayika agumya Ezera
29Eddoboozi bwe lyali nga likyayogera, ettaka kwe nali nnyimiridde ne litandika okukankana. 30Malayika n'aŋŋamba nti: ‘‘Bino bye nzize okukulaga ekiro kya leero. 31Bw'onoddamu okusaba era n'okusiiba ennaku endala musanvu, nja kudda nkubuulire n'ebisingawo, 32kubanga Katonda Atenkanika awulidde okusaba kwo. Katonda ayinza byonna alabye bw'oli omwesimbu era omutukuvu okuviira ddala mu buvubuka bwo, 33kyavudde antuma okukulaga bino byonna, era n'okukugamba nti mwesige era totya. 34Leka kwanguyira kulowooza bitalina mugaso ku mulembe guno lw'otooyanguyirizenga kulowooza ku mulembe ogw'enkomerero.”
OKULABIKIRWA OKWOKUSATU
Lwaki abantu ba Katonda babonaabona
35Ebyo bwe byaggwa, ne nziramu okukungubaga n'okusiiba, okumala ennaku endala musanvu, nga bwe nakola mu kusooka, bwe ntyo ne mpeza wiiki essatu ezandagirwa. 36Mu kiro eky'omunaana, ne nziramu okubulwa emirembe mu mutima, ne ntandika okwogera ne Katonda Atenkanika. 37Nali mbuguumiridde era nga mpulira obuyinike, mu mutima. 38Ne ŋŋamba nti: ‘‘Ayi Mukama, bwe wali ng'otandika okutonda, wayogera bwogezi kigambo. Ku lunaku olusooka n'ogamba nti: ‘Wabeewo eggulu n'ensi.’ Kye wayogera ne kituukirira.#Laba ne Zab 33:6; Beb 11:3; 2 Peet 3:5 39Mu biro ebyo, omwoyo gwe gwali gutambula, ekizikiza n'akasiriikiriro bye byali buli wantu, nga tewali ddoboozi lya muntu liwulirwa. 40Olwo n'olagira nti ekitangaala ekyaka kive gy'okitereka, kimulisenga bye wakola birabibwe. 41Ku lunaku olwokubiri n'otonda malayika ow'omu bbanga ery'eggulu, n'omulagira okwawulamu amazzi, agamu gabeerenga waggulu, n'amalala wansi. 42Ku lunaku olwokusatu n'olagira amazzi agali wansi geekuŋŋaanyize wamu gajjuze ekitundu kimu eky'omusanvu eky'ensi. N'okaza ebitundu ebirala eby'ensi ebisigaddewo, bibe ettaka ekkalu lirimwenga era lisigibwengamu olw'okuweereza. 43Ekigambo kyo ne kyeyongerayo mu maaso, omulimu ne gukolebwa amangwago. 44Mu kaseera buseera, ebibala ebya buli kika ne birabika, ebirimu obuwoomu obwa buli ngeri. Ne wabeerawo ebimuli ebya langi ezeewuunyisa, n'obuwoowo obutayogerekeka. ebyo byakolebwa ku lunaku olwokusatu. 45Ku lunaku olwokuna, n'olagira wabeewo enjuba eyakaayakana, n'ekitangaala ky'omwezi era n'emmunyeenye mu ngeri gye wazitereezaamu. 46Era n'olagira biweerezenga omuntu gwe wali onootera okutonda. 47Ku lunaku olwokutaano ekitundu ekimu eky'omusanvu eky'ensi, amazzi mwe gaakuŋŋaanira, n'okiragira kizaale ennyonyi n'ebyennyanja, era ne kiba bwe kityo. 48Bwe walagira, amazzi agateenyeenya era agatalina bulamu ne gazaala ebitonde ebiramu, amawanga galyoke gatenderezenga ebyamagero by'okola. 49Oluvannyuma n'oyawulamu ebitonde bibiri, ekimu n'okituuma Behemooti n'ekirala Leviyatani.#Laba ne Yob 7:12; Zab 74:12-15 50N'obikuumira buli kimu mu kifo kyakyo ng'obyawudde, kubanga byombiriri byali tebigyamu mu nnyanja. 51Ekitundu eky'ensi kye wakaza olwokusatu, n'okiwa Behemooti mwe kiba kibeera, mu nsi ey'ensozi olukumi. 52Leviyatani n'okiwa okubeeranga mu nnyanja. N'obikuuma nga biramu, bisobole okuliibwa b'olyagala okubiwa, era mu kiseera ky'oyagala. 53Ku lunaku olw'omukaaga n'olagira ensi okuzaala ensolo, enfuge n'ez'omu ttale, ennene n'entono. 54N'ekisinga ku ebyo byonna n'otonda Adamu, n'omuwa okulabiriranga byonna bye watonda. Era ffe ffenna abantu bo abalondemu, mu ye mwe twasibuka.
55‘‘Ayi Mukama, njogedde bino byonna mu maaso go, kubanga wagamba nti watonda ensi eno ku lw'abantu bo. 56Wagamba nti newaakubadde ng'amawanga amalala mangi nnyo, agaasibuka mu Adamu, naye go si kantu. Omugaso gwago tegusinga gwa ttondo lya mazzi, wadde ery'eddusu. 57Naye kaakano, ayi Mukama, amawanga ago agatalina mugaso, ge gatufuga era ge gatuzikiriza. 58Naye ffe abantu bo be wayita abaggulanda, omwana wo omu yekka, omusuutibwa wo, otuwaddeyo mu mikono gy'amawanga amalala. 59Oba nga ddala ensi eno yatondebwa lwa bantu bo, kale lwaki tetuba bannyiniyo? Ekyo tulikituukako ddi?”

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 6: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in