YouVersion Logo
Search Icon

2 ESIDERAASI 10

10
1‘‘Mutabani wange oyo, bwe yayingira mu kisenge mw'asula, mu kiro ekyo kye yawasizaako, n'agwa wansi n'afa. 2Bwe tutyo ne tuzikiza ettaala zonna ezaali ku mbaga. Baliraanwa baffe bonna ne bajja okuŋŋumya. Naguma okutuusa akawungeezi ak'olunaku olwokubiri, 3bonna bwe baagenda. Ekiro ekyo ne ngolokoka, ne nzija mu ttale lino nga bw'ondaba. 4Mmaliridde obutaddayo mu kibuga. Nja kusigala wano nga nkungubaga obutasalako, awatali kubaako ke ndya wadde ke nnywa okutuusa lwe nnaafa.”
5Bwe yambuulira ebyo, ne nzisa ebirowoozo byange ku bbali, ne mmukayukira nti: 6‘‘Mu bakazi be nali ndabye, ggwe osingirayo ddala obusiru. Tolaba bantu baffe bwe babonaabona? Tomanyi byonna ebyatugwako? 7Yerusaalemu, nnyaffe atuzaala ffenna ali mu buyinike n'obuswavu ng'atoowaziddwa. Osaanidde okukaaba #Laba ne Bag 4:26 8n'okulumwa awamu naffe ffenna. Naye ggwe okaabira mutabani wo omu. 9Buuza ensi, ejja kukutegeeza nga bw'ekaabira enkumi n'enkumi abaagizaalibwamu. 10Ffe ffenna abalamu twasibuka mu yo, n'abalala bakyajja. Kumpi ffenna tuggwaawo, era abasinga obungi bazikirira. 11Kale ani asaanira okukaaba, ggwe afiiriddwa mutabani wo omu, oba ensi efiiriddwa abangi bwe batyo? 12-13Oyinza okuŋŋamba nti ‘Obuyinike obw'ensi tebwenkana n'obwange, kubanga nze nfiiriddwa omwana gwe naggya mu nda yange, gwe nazaala mu bulumi obungi. 14Naye ensi ekyo kyayo kya bulijjo. Enkumi n'enkumi z'abantu bagibeerako, oluvannyuma ne bafa.’ Ekyo nkikuddamu nti nga ggwe bwe wazaalira mu bulumi, n'ensi nayo, okuviira ddala lwe yatondebwa, bw'etyo bw'ezaalira Omutonzi waayo abantu. 15Kale gumira obuyinike bwo, ogumire ne byonna ebikutuuseeko. 16Bw'onokkiriza nti Katonda ky'asazeewo kituufu, mutabani wo alikuddizibwa mu kiseera ekituufu, era olifuna ettendo erisaanira omuzadde. 17Ddayo mu kibuga ewa balo.”
18Omukazi n'anziramu nti: ‘‘Nedda, sijja kuddayo, nja kusigala wano okutuusa lwe nnaafa.”
19-20Era ne mmuddamu nti: ‘‘Tokola bw'otyo, naye lowooza ku bizibu n'okunakuwala ebyatuuka ku Yerusaalemu, ogume. Olaba ng'ekifo kyaffe mwe tusinziza kyasigala matongo. 21Alutaari yaffe yamenyebwawo, Essinzizo lyaffe ne lizikirizibwa. 22Ebivuga byaffe eby'ennyimba byasirika, ennyimba zaffe tezikyawulirwa, essanyu lyaffe likomye, ettaala entukuvu ezikidde. Essanduuko yaffe ey'Endagaano enyagiddwa. Ebitukuvu ebikozesebwa byayonoonebwa. Erinnya lya Katonda waffe livumiddwa. Abakulembeze baffe bamaliddwamu ekitiibwa. Bakabona baffe bookeddwa ne battibwa. Abaleevi baffe bakwatiddwa ne banyagibwa. Abawala baffe embeerera bakwatiddwa abasajja olw'empaka, abakazi baffe balekeddwa ttayo. Abavubuka baffe bafuuliddwa abaddu. Abaserikale baffe abazira baweddemu amaanyi. 23N'ekisingira ddala obubi, Yerusaalemu ekyali kiteekeddwako akabonero ng'ekibuga kya Katonda, kifiiriddwa ekitiibwa kyakyo, era kiweereddwayo mu balabe baffe. 24Kale okunyolwa n'obuyinike bwo biteeke ku bbali, Katonda Atenkanika era ayinza byonna akukwatirwe ekisa, akuwe emirembe, akuteewuluzeeko ebizibu byo.”
25Bwe nali nkyayogera n'omukazi, amangwago amaaso ge ne gatandika okwakaayakana ng'okumyansa kw'eggulu. Ne mwesamba olw'okutya, ne ndowooza kino kye kitegeeza. 26Amangwago omukazi n'atema omulanga ogw'entiisa era ogwakankanya ensi. 27Bwe nayimusa amaaso, omukazi nga sikyamulaba, naye nga waliwo ekibuga ekizimbibwa ku misingi eminene. Ne ntya ne ndeekaana nti:#Laba ne Beb 11:10; Kub 21:9-27 28‘‘Malayika Wuriyeeli ali ludda wa eyajja gye ndi mu masooka? Ye andeetedde okusoberwa bwe nti ne nzigwamu essuubi okusaba kwange ne kufa bwereere.”
Wuriyeeli annyonnyola Ezera ky'alabye
29Nali nkyayogera, malayika Wuriyeeli n'akomawo n'andaba 30nga ndi ng'omufu era nga sikyategeera, n'ankwata ku mukono gwange ogwa ddyo, n'anzizaamu amaanyi, n'annyimiriza. 31N'ambuuza nti: ‘‘Obadde ki? Kiki ekikutabudde ne kikumalamu n'amagezi?”
32Ne mmuddamu nti: ‘‘Wandekawo! Nakola nga bwe wandagira, ne nzija mu ttale lino. Naye bye ndabye, ne bye ndaba sisobola kubinnyonnyola.”
33N'anziramu nti: ‘‘Yimirira masajja, nja kubikunnyonnyola.” 34Ne mmugamba nti: ‘‘Ssebo, binnyinyonnyole, naye tonsuulirira, nneme kufiira wano nnaku, 35kubanga bye ndabye ne bye mpulidde sibitegeera. 36Oba omutwe gwange gwe gunnimba? Oba ndoota buloosi? 37Kale nkwegayiridde, ombuulire amakulu g'ebyo bye ndabye.”
38Malayika n'anziramu nti: ‘‘Wuliriza bulungi nkunnyonnyole amakulu g'ebikutiisizza. Katonda Atenkanika akubikkulidde ebyama bingi, 39kubanga alabye bw'otambulira mu kkubo eggolokofu, era nga bulijjo olumirwa nnyo eggwanga lyo ne Yerusaalemu. 40Gano ge makulu g'ebyo by'olagiddwa. 41Akabanga katotono akayise olabye omukazi ng'ali mu nnaku n'ogezaako okumugumya. 42Kaakati omukazi oyo tokyamulaba, naye olaba kibuga. 43Akubuulidde bw'afiiriddwa mutabani we. Gano ge makulu g'ebyo: 44Omukazi gw'olabye ye Yerusaalemu ky'olaba kati n'ebizimbe byakyo byonna.
45‘‘Bwe yakugambye nti yali mugumba okumala emyaka amakumi asatu, ekyo kitegeeza emyaka enkumi essatu gye kyamala nga tewannabaawo birabo biweebwayo mu kyo. 46Emyaka egyo enkumi essatu bwe gyayitawo, Solomooni n'azimba ekibuga, ebitambiro ne bitandika okuweebwayo mu kyo. 47Yakugambye nti yafuba nnyo okukuza mutabani we. Ekyo kye kiseera Yerusaalemu lwe kyabeereramu abantu. 48Era yakugambye nti mutabani we yafa bwe yayingira mu kisenge kye ku lunaku olw'embaga ye ey'obugole. Ekyo yategeezezza okuzikirizibwa kwa Yerusaalemu. 49Kale mu bikulagiddwa walabye nga bw'akaabira omutabani we, ggwe n'ofuba okumukubagiza olw'okufiirwa. Ekyo kye kyabadde eky'okukubikkulirwa. 50Katonda Atenkanika bwe yalabye ng'olumirwa omukazi oyo n'omutima gwo gwonna, Kyeyavudde akulaga ekitiibwa ky'omukazi oyo kyonna, n'obulungi bw'amaaso ge. 51Kyennava nkugamba okusigala mu ttale awatazimbibwanga nnyumba, 52kubanga namanya nga Katonda Atenkanika ajja okukulaga ebintu ebyo. 53Nakugamba okujja mu kifo kino ekitateekebwangamu musingi gwa kizimbe na kimu 54kubanga ekizimbiddwa omuntu, kyali tekiyinza kubeera mu kifo awagenda okulagibwa ekibuga kya Katonda Atenkanika.
55‘‘Kale totya. Yingira mu kibuga ekyo, olabe ebizimbe byakyo ebirungi era ebyekitiibwa, ng'amaaso go bwe ganaasobola okukulaga. 56Oluvannyuma ojja kuwulira byonna by'onoosobola okuwulira. 57Ggwe oli wa mukisa okusinga abantu abasinga obungi. Era batono abalina erinnya eddungi nga ggwe ewa Katonda Atenkanika. 58Sigala wano okutuusa ekiro eky'olwenkya, 59Katonda Atenkanika lw'anaakulagira mu birooto ne mu kulabikirwa ky'ateekateeka okukolera abaliba abalamu ku nsi mu nnaku ez'enkomerero.”
Ne nsulayo ekiro ekyo n'ekyaddirira, nga bwe yandagira.
OKULABIKIRWA OKWOKUTAANO

Currently Selected:

2 ESIDERAASI 10: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in