YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 14

14
Yerusaalemu n'amawanga
1Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lujja. Olwo ebintu by'omu Yerusaalemu birinyagibwa, ne bigabanibwa nga mulaba. 2Mukama alikuŋŋaanya wamu amawanga okulwanyisa Yerusaalemu. Ekibuga kiriwangulwa, ennyumba ne zinyagibwamu ebintu, n'abakazi ne bakwatibwa lwa mpaka. Abantu kimu kyakubiri balitwalibwa mu busibe, naye abalisigalawo tebaliggyibwa mu kibuga. 3Awo Mukama aligenda n'alwanyisa amawanga ago, nga bwe yalwana mu ntalo ez'edda. 4Mu kiseera ekyo, aliyimirira ku lusozi oluyitibwa Olusozi olw'Emizayiti mu buvanjuba bwa Yerusaalemu. Olusozi olwo lulibejjukamu wabiri, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, ne lubaamu ekiwonvu ekigazi ennyo. Ekitundu ekimu eky'olusozi kiriseeseetuka, ne kigenda mu bukiikakkono, ate ekitundu ekirala ne kigenda mu bukiikaddyo. 5Mulidduka nga muyita mu kiwonvu ekyo ekyawulamu olusozi. Mulidduka nga bajjajjammwe bwe badduka, ensi bwe yakankana mu mirembe gya Kabaka Wuzziya owa Buyudaaya. Mukama Katonda wange alijja ng'ali wamu n'abatukuvu bonna.
6Olunaku olwo bwe lulituuka, tewaliba nate bunnyogovu wadde olufu. 7Era tewaliba kizikiza. Bunaabanga misana bulijjo. Ne mu budde obw'ekiro, wanaabangawo ekitangaala ng'emisana. Mukama yekka ye amanyi ekyo we kiribeererawo.
8Olunaku olwo bwe lulituuka, amazzi amalungi galikulukuta nga gava mu Yerusaalemu. Ekitundu kyago ekimu kirikulukutira mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'ekirala mu nnyanja ey'ebugwanjuba. Galikulukuta mu biseera eby'ekyeya n'eby'enkuba.#Laba ne Ezek 47:1; Yow 7:38; Kub 22:1 9Olwo Mukama aliba Kabaka w'ensi zonna. Bonna gwe banaasinzanga era ye Mukama gwe banaamanyanga yekka.
10Ekitundu kyonna okuva e Geba okutuuka e Rimmoni mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemu kirifuulibwa kya museetwe. Yerusaalemu kiritumbiira ng'omunaala mu nsi ekyetoolodde. Ekibuga kiritandikira ku Mulyango gwa Benyamiini okutuuka ku Mulyango ogw'omu Nsonda, awaali omulyango ogwasooka, era okuva ku Munaala gwa Hananeeli, okutuuka ku masogolero g'emizabbibu aga kabaka. 11Abantu balibeera mirembe mu Yerusaalemu nga tebatiisibwatiisibwa kuzikirizibwa.#Laba ne Kub 22:3
12Amawanga agalumba Yerusaalemu, Mukama aligalwaza ekirwadde ekibi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyayimiridde. Amaaso gaabwe galivundira mu bituli byago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
13Mu biseera ebyo, Mukama alibateekamu okutabuka era n'okutya okungi, buli omu n'akwata amuliraanye n'amulwanyisa. 14N'ab'omu Buyudaaya balirwanyisa Yerusaalemu. Obugagga bw'amawanga gonna bulikuŋŋaanyizibwa: zaabu ne ffeeza, n'ebyokwambala, nga bingi nnyo nnyini.
15Ekirwadde ekibi kirikwata n'embalaasi, n'ennyumbu, n'eŋŋamiya n'endogoyi era n'ensolo zonna mu lusiisira lw'abalabe.
16Olwo bonna abalisigalawo ku b'amawanga agazze okulwanyisa Yerusaalemu, banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, n'okukuza Embaga ey'Ensiisira.#Laba ne Leev 23:39-43 17Eggwanga eririgaana okwambuka e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, enkuba teritonnya mu lyo. 18Abamisiri bwe baligaana okukuza Embaga ey'Ensiisira, balikwatibwa ekirwadde kye kimu ekyo Mukama ky'alirwaza amawanga amalala agagaana okukuza Embaga ey'Ensiisira. 19Ekyo kye kibonerezo ekiriweebwa Misiri n'amawanga amalala gonna agataayambukenga kukuza Mbaga ey'Ensiisira.
20Mu nnaku ezo, wadde endege ezisibwa ku mbalaasi, ziriyolebwako nti: “Kyawuliddwa Mukama.” Entamu mu Ssinzizo ziriba ntukuvu ng'ebibya mu maaso g'alutaari. 21Entamu zonna mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ziryawulirwa Mukama Nnannyinimagye, abantu abawaayo ebitambiro ne batoolanga ku zo ne bafumbamu ennyama ey'ekitambiro. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba nate musuubuzi mu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye.

Currently Selected:

ZEKARIYA 14: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 14