YouVersion Logo
Search Icon

MALAKI Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kya Malaki kyawandiikibwa awo nga mu mulembe ogwokutaano nga Kristo tannazaalibwa, Essinzizo nga limaze okuzimbibwa obuggya mu Yerusaalemu. Omulanzi ky'afubako, kwe kuyita bakabona n'abantu bonna okuddamu okuba abeesigwa mu kukuuma endagaano gye baakola ne Mukama, kubanga baali baddiridde mu kusinzanga Katonda, era ng'empisa zaabwe zoonoonese; bakabona n'abantu bonna, nga balyazaamaanya Katonda nga bagaana okuwaayo ebirabo bye bateekwa okumuwa, era nga bagaana okugoberera by'ayigiriza. Naye Mukama alijja okusalira abantu be omusango, n'okubatukuza, ng'atuma omubaka we okumukulemberamu, okutegeka ekkubo, n'okulangirira endagaano ye.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Ebibi bya Yisirayeli 1:1–2:16
Katonda omulamuzi era ow'ekisa 2:17–4:6

Currently Selected:

MALAKI Ennyanjula: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in