YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 13

13
1Ekiseera ekyo bwe kirituuka, oluzzi luliggulibwawo okutukuza bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu, banaazibweko ebibi byabwe, era n'obwonoonefu. 2Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Mu kiseera ekyo, ndiggyawo mu nsi eyo amannya g'ebyo bye basinza ebitali Katonda, era tegaliddayo kujjukirwa. Era ndiggyawo mu nsi abalanzi, n'omwoyo ogutali mulongoofu. 3Bwe walibaawo akyayagala okulanga, kitaawe ne nnyina balimugamba nti ateekwa okuttibwa, kubanga agamba nti ayogera mu linnya lya Mukama, sso ng'alimba. Bw'aliragula, kitaawe ne nnyina bennyini balimufumita ne bamutta. 4Ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli mulanzi alikwatibwa ensonyi olw'okulabikirwa kwe era n'okulanga. Talyambala munagiro gwe okulimba abantu. 5Naye aligamba nti: ‘Nze siri mulanzi. Ndi mulimi. Ettaka bwe bugagga bwange okuva mu buto bwange.’ 6Bwe walibaawo amubuuza nti: ‘Ebiwundu ebyo ebiri mu bibatu byaki?’ Aliddamu nti: ‘Nabifumitibwa mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”
Ekiragiro ky'okutta omusumba wa Katonda
7Mukama Nnannyinimagye
agamba nti:
“Situka ggwe ekitala
olwanyise omusumba wange,
ali ku lusegere lwange.
Tema omusumba
endiga zisaasaane.
Ndigololera omukono gwange ku bato.#Laba ne Mat 26:31; Mak 14:27
8Awo mu nsi yonna,
ebitundu ebyokusatu bibiri birifa,
ekimu ekyokusatu kye kiriwonawo.
9Ndigeza ekimu ekyokusatu ekyo,
ne mbatukuza nga ffeeza
bw'atukuzibwa mu muliro.
Ndibageza nga zaabu bw'agezebwa.
Olwo balinsaba ne mbaddamu.
Ndibategeeza nti bantu bange,
nabo ne baatula nti:
‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”

Currently Selected:

ZEKARIYA 13: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 13