YouVersion Logo
Search Icon

ZEKARIYA 12

12
Yerusaalemu kirinunulwa
1Buno bwe bubaka obufa ku Yisirayeli, obuva eri Mukama, eyabamba eggulu, eyatonda ensi, era eyawa abantu obulamu. Agamba nti: 2“Ndifuula Yerusaalemu ng'eggiraasi y'omwenge. Amawanga agakyetoolodde galiginywa, ne gatagatta ng'abatamiivu. Bwe galizingiza Yerusaalemu, ebibuga ebirala byonna eby'omu Buyudaaya nabyo biriba bizingiziddwa. 3Naye ekiseera kirituuka, ne nfuula Yerusaalemu ng'ejjinja ezzito, buli ggwanga eririgezaako okulisitula, lirirumizibwa nnyo, era amawanga gonna ku nsi galyegatta okukirwanyisa. 4Mu kiseera ekyo, nditiisa embalaasi zaabwe zonna, n'abazeebagala bonna ndibasuula eddalu. Ndirabirira abantu b'omu Buyudaaya, naye ndiziba amaaso g'embalaasi z'abalabe baabwe. 5Olwo ebika ebiri mu Buyudaaya birigambagana nti: ‘Mukama Katonda Nnannyinimagye, awa abatuuze b'omu Buyudaaya amaanyi.’
6“Mu kiseera ekyo, ebika ebiri mu Buyudaaya ndibifuula ng'omuliro ogukoleezeddwa ku kibira, oba ku binywa by'eŋŋaano. Ebika ebyo birisaanyaawo amawanga gonna agabyetoolodde. Abantu b'omu Yerusaalemu balikibeeramu mirembe.
7“Nze Mukama, ndisooka kuwa ggye lya Buyudaaya obuwanguzi, ekitiibwa bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu kye balifuna, kireme kusinga ekyo abalala ab'omu Buyudaaya kye balifuna. 8Mu kiseera ekyo, nze Mukama ndikuuma abo abali mu Yerusaalemu. Aliba asingayo okuba omunafu mu bo, alifuuka wa maanyi nga Dawudi bwe yali. Bazzukulu ba Dawudi balibakulembera nga malayika wa Mukama, nga Katonda yennyini. 9Mu kiseera ekyo ndizikiriza buli ggwanga eririgezaako okulumba Yerusaalemu.
10“Bazzukulu ba Dawudi n'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu ndibajjuza omwoyo omusaasizi n'ogw'okwegayirira. Balitunuulira oyo gwe baafumita, era balimukungubagira ng'abakungubagira omwana waabwe omu yekka. Balimukaabira nnyo, ng'abakaabira mutabani waabwe omuggulanda.#Laba ne Yow 19:37; Kub 1:7#Laba ne Mat 24:30; Kub 1:7 11Mu kiseera ekyo okukungubaga kuliba kungi mu Yerusaalemu, ng'okukungubagira Adadurimmoni#12:11 Adadurimmoni: Mu Lwebureeyi “Hadad-Rimmoni,” liyinza okuba nga lyali linnya lya Baali, lubaale w'ebimera mu Kanaani ne Siriya. Ebimera bwe byafanga buli mwaka, abasinza lubaale oyo ne bamukungubagira, nga balowooza nti naye afudde. mu Lusenyi lw'e Megiddo. 12Ensi eno erikungubaga, buli maka gakungubage lwago: ab'omu maka agasibuka mu Dawudi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Natani lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; 13ab'omu maka agasibuka mu Leevi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Simeeyi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe. 14N'ab'omu maka amalala gonna balikungubaga lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe.

Currently Selected:

ZEKARIYA 12: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for ZEKARIYA 12