YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 12

12
Olugero lw'abapangisa mu nnimiro y'emizabbibu
(Laba ne Mat 21:33-46; Luk 20:9-19)
1Awo Yesu n'atandika okwogera nabo mu ngero, n'agamba nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agyetoolooza olukomera, n'asimamu essogolero, n'azimbamu omunaala abakuumi mwe balengerera, n'agissaamu abapangisa n'alaga mu nsi ey'ewala.#Laba ne Yis 5:1-2
2“Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. 3Awo omuddu ne bamukwata ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
4“N'abatumira nate omuddu omulala, ne bamukuba olubale, ne bamuswazaswaza. 5Era n'atuma omulala, oyo ne bamutta. N'abalala bangi ne babayisa mu ngeri ye emu, abamu ne babakuba, abalala ne babatta.
6“Yali akyalinawo omuntu omulala omu, ye mutabani we omwagalwa. Ono gwe yasembyayo okubatumira, ng'agamba nti: ‘Mutabani wange banaamussaamu ekitiibwa.’ 7Kyokka abapangisa abo ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika, mujje tumutte, obusika buliba bwaffe!’ 8Awo ne bamukwata, ne bamutta, ne bamusuula ebweru w'ennimiro y'emizabbibu.
9“Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu kiki ky'alikola? Alijja n'atta abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala. 10Ddala ekyawandiikibwa mwali mukisomye ekigamba nti:
‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.#Laba ne Zab 118:22-23
11Ekyo Mukama ye yakikola,
ne tukiraba, ne tukyewuunya.’ ”
12Awo abalabe ba Yesu bwe baategeera nti olugero olwo aluleese nga lufa ku bo, ne bagezaako okumukwata, kyokka ne batya ekibiina ky'abantu, ne bamuleka ne bagenda.
Ebifa ku kuwa omusolo
(Laba ne Mat 22:15-22; Luk 20:20-26)
13Abafarisaayo n'abawagizi ba Herode abamu, ne batumibwa okutega Yesu mu bigambo. 14Awo ne bajja ne bamugamba nti: “Muyigiriza, tumanyi nga ggwe oli wa mazima, era tokolerera kusiimibwa bantu, kubanga bonna obayisa mu ngeri ye emu, era abantu obayigiriza mu mazima ebyo Katonda by'ayagala bakole. Kaakati ssebo, tubuulire, kikkirizibwa okuwa Kayisaari omusolo, oba tekikkirizibwa? 15Tuteekwa okugumuwa oba tetuteekwa?”
Yesu n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abagamba nti: “Lwaki munkema? Mundeetere ssente ngirabe.” 16Ne bagireeta. Ye n'ababuuza nti: “Ekifaananyi n'amannya ebiriko by'ani?” Ne baddamu nti: “Bya Kayisaari.”
17Yesu n'abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisaari mubiwe Kayisaari, n'ebya Katonda mubiwe Katonda.”
Ebifa ku kuzuukira
(Laba ne Mat 22:23-33; Luk 20:27-40)
18Awo Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti:#Laba ne Bik 23:8 19“Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’#Laba ne Ma 25:5
20“Kale waaliwo abooluganda musanvu. Omubereberye n'awasa, kyokka n'afa nga talese mwana. 21Owookubiri n'awasa nnamwandu w'oli omubereberye, era n'ono n'afa nga talese mwana. N'owookusatu bw'atyo. 22Bonna omusanvu baawasa omukazi oyo, kyokka ne batamuzaalamu mwana. Oluvannyuma, bonna nga bamaze okufa, omukazi naye n'afa.
23“Kale ku lunaku olw'okuzuukira, abantu bwe balizuukira, omukazi oyo aliba muk'ani? Bonna omusanvu baamuwasa!”
24Yesu n'abagamba nti: “Muwubwa, era ekibaleetera okuwubwa, bwe butamanya ebyawandiikibwa, wadde obuyinza bwa Katonda. 25Abantu bwe balizuukira, baliba nga bamalayika mu ggulu, nga tebakyawasa era nga tebakyafumbirwa.
26“Ate ebifa ku kuzuukira kw'abafu, ddala mwali musomye mu kitabo kya Musa, mu kitundu ekyogera ku kisaka, Katonda bye yagamba Musa nti: ‘Nze Katonda wa Aburahamu, Katonda wa Yisaaka, era Katonda wa Yakobo’.#Laba ne Kuv 3:6 27Katonda si wa bafu, wabula wa balamu. Muwubwa nnyo!”
Ekiragiro ekikulu
(Laba ne Mat 22:34-40; Luk 10:25-28)
28Awo omu ku bannyonnyozi b'amateeka n'ajja, n'awulira Abasaddukaayo nga bawakana. Bwe yalaba nga Yesu abazzeemu bulungi, naye n'amubuuza nti: “Kiragiro ki ekisinga byonna obukulu?”#Laba ne Luk 10:25-28
29Yesu n'addamu nti: “Ekiragiro ekisinga byonna obukulu kiikino: ‘Ggwe Yisirayeli, wulira: Mukama ye Katonda waffe, Mukama yekka.#Laba ne Ma 6:4-5 30Era yagalanga Mukama, Katonda wo, n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’ 31Ekiragiro ekiddirira mu bukulu, kiikino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wennyini.’ Teri kiragiro kirala kisinga bino bukulu.”#Laba ne Leev 19:18
32Awo omunnyonnyozi w'amateeka n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, ozzeemu bulungi. Ky'ogambye kya mazima nti: Katonda ali omu yekka, teri mulala,#Laba ne Ma 4:35 33era nti okumwagala n'omutima gwonna, n'amagezi gonna, n'amaanyi gonna, n'okwagala bantu bannaffe nga bwe tweyagala ffe ffennyini, kusinga ensolo zonna eziweebwayo okwokebwa nga nnamba, era n'ebirala byonna ebiweebwayo eri Katonda.”#Laba ne Hos 6:6
34Yesu bwe yalaba ng'omunnyonnyozi w'amateeka azzeemu na magezi, n'amugamba nti: “Otandise okutegeera eby'omu Bwakabaka bwa Katonda.” Ne wataba aguma kumubuuza bibuuzo birala.
Kristo ne Dawudi
(Laba ne Mat 22:41-46; Luk 20:41-44)
35Yesu bwe yali mu Ssinzizo ng'ayigiriza, n'abuuza nti: “Abannyonnyozi b'amateeka bayinza batya okugamba nti Kristo muzzukulu wa Dawudi? 36Dawudi yennyini, ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, yagamba nti:
‘Katonda yagamba Mukama wange nti:
Tuula ng'onninaanye
ku ludda lwange olwa ddyo,
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo
ekirinnyibwako ebigere byo.’#Laba ne Zab 110:1
37“Oba nga Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ate olwo ayinza atya okuba muzzukulu we?” Abantu abangi abaaliwo, ebigambo bye bino ne babiwuliriza n'essanyu.
Okwekuuma abannyonnyozi b'amateeka
(Laba ne Mat 23:1-36; Luk 20:45-47)
38Awo Yesu bwe yali ng'ayigiriza, n'agamba nti: “Mwekuume abannyonnyozi b'amateeka, abaagala okutambula nga bambadde engoye empanvu ezikweya, era abaagala okulamusibwa mu butale, 39n'okutuula mu bifo eby'oku manjo mu makuŋŋaaniro, ne mu bifo ebyekitiibwa ku mbaga, 40era abanyaga ebintu byonna mu mayumba ga bannamwandu, era abasinza Katonda mu bigambo ebingi olw'okweraga. Baliweebwa ekibonerezo ekisinga obunene.”
Ekirabo kya nnamwandu
(Laba ne Luk 21:1-4)
41Yesu bwe yali ng'atudde mu maaso g'ekifo omuteekebwa ebirabo mu Ssinzizo, n'alaba abantu bangi nga bateekamu ensimbi. Abagagga bangi baateekamu ensimbi nnyingi.
42Awo nnamwandu omwavu n'ajja, n'ateekamu bussente#12:42 bussente: Mu Luyonaani “Lepton.” Kye kisente ekyali kisembayo okuba eky'omuwendo omutono. bubiri, obusembayo okuba obw'omuwendo omutono ennyo. 43Yesu n'ayita abayigirizwa be, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu ono omwavu atadde kinene nnyo mu kifo omuteekebwa ebirabo, okusinga abalala bonna. 44Bo bataddemu nga batoola ku kingi kye balina. Naye nnamwandu ono omwavu, ataddemu kyonna ky'abadde alina, ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”

Currently Selected:

MARIKO 12: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in