Yesu n'addamu nti: “Ekiragiro ekisinga byonna obukulu kiikino: ‘Ggwe Yisirayeli, wulira: Mukama ye Katonda waffe, Mukama yekka. Era yagalanga Mukama, Katonda wo, n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, n'amagezi go gonna, n'amaanyi go gonna.’ Ekiragiro ekiddirira mu bukulu, kiikino: ‘Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wennyini.’ Teri kiragiro kirala kisinga bino bukulu.”