YouVersion Logo
Search Icon

MARIKO 11

11
Yesu ayingira n'ekitiibwa mu Yerusaalemu
(Laba ne Mat 21:1-11; Luk 19:28-40; Yow 12:12-19)
1Awo Yesu n'abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Ekibuga Yerusaalemu, kwe kugamba, nga batuuse e Betufaage ne Betaniya, okumpi n'Olusozi olw'Emiti Emizayiti, Yesu n'atuma babiri ku bayigirizwa be nti: 2“Mugende mu kabuga kali ke mulengera. Bwe munaaba mukayingira bwe muti, mujja kulaba endogoyi entoototo esibiddwa, eteebagalwangako muntu. Mugisumulule mugireete. 3Singa wabaawo ababuuza nti: ‘Lwaki endogoyi mugisumulula?’ Muddamu nti: ‘Mukama waffe agyetaaga, era ajja kulagira bagizze mangu wano.’ ”
4Awo ne bagenda, ne basanga endogoyi entoototo esibiddwa ku mulyango, ng'eyimiridde wabweru mu luguudo, ne bagisumulula. 5Abamu ku baali bayimiridde awo, ne bababuuza nti: “Mukola ki? Lwaki endogoyi mugisumulula?” 6Abayigirizwa ne babaddamu nga Yesu bwe yali agambye. Bali ne babaleka bagende.
7Awo abayigirizwa ne batwalira Yesu endogoyi, ne bagissaako ekkooti zaabwe, Yesu n'agyebagala. 8Bangi ne baaliira mu kkubo ekkooti zaabwe, abalala ne baaliiramu obutabi bw'emiti obuliko amakoola, bwe baatema mu nnimiro.
9Awo abaali bakulembedde, n'abaali bava emabega, ne boogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti:
“Mukama atenderezebwe.”
Ajja mu linnya lya Mukama,
aweereddwa omukisa.#Laba ne Zab 118:25-26
10Obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi
obujja okuzzibwawo
buweereddwa omukisa.
Mukama, ali mu ggulu,
atenderezebwe.
11Awo Yesu n'atuuka mu Yerusaalemu, n'ayingira mu Ssinzizo. Bwe yamala okwebunguluza amaaso okulaba ebintu byonna, n'afuluma, n'alaga e Betaniya wamu n'abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, kubanga obudde bwali bunaatera okuwungeera.
Yesu avumirira omuti omutiini
(Laba ne Mat 21:18-19)
12Ku lunaku olwaddirira, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bava e Betaniya, Yesu n'alumwa enjala. 13Bwe yalengera omuti omutiini oguliko amakoola, n'agenda okulaba oba nga anaagusangako ebibala. Bwe yagutuukako, n'atasangako kibala na kimu, wabula amakoola gokka, kubanga si kye kyali ekiseera emitiini mwe gibalira. 14N'agugamba nti: “Okuva kati tewabanga alya ku bibala byo nate!” Ebigambo bino abayigirizwa be ne babiwulira.
Yesu agoba abatundira mu Ssinzizo
(Laba ne Mat 21:12-17; Luk 19:45-48; Yow 2:13-22)
15Awo Yesu n'abayigirizwa be bwe baatuuka e Yerusaalemu, Yesu n'ayingira mu Ssinzizo, n'atandika okugobamu abo abaali batundiramu n'abaali baguliramu. N'avuunika emmeeza z'abawaanyisa ensimbi, n'entebe z'abaali batunda enjiibwa. 16Era n'aziyiza buli muntu okuyisa ebintu mu Ssinzizo.
17Awo n'ayigiriza abaaliwo nti: “Tekyawandiikibwa nti: ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba abantu b'amawanga gonna mwe banansinzizanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku eyeekwekebwamu abanyazi!”#Laba ne Yis 56:7; Yer 7:11
18Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka bwe baawulira ebigambo ebyo, ne basala amagezi ag'okuzikiriza Yesu. Baali bamutidde, kubanga ekibiina ky'abantu kyonna kyali kiwuniikiridde olw'enjigiriza ye.
19Obudde bwe bwawungeera, Yesu n'abayigirizwa be ne bava mu kibuga.
Ekiyigirwa ku muti omutiini
(Laba ne Mat 21:20-22)
20Enkeera ku makya, Yesu n'abayigirizwa be bwe baali bayitawo, ne balaba omuti omutiini guli nga gukaze okuviira ddala ku kikolo. 21Awo Peetero n'ajjukira, n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, laba, omuti omutiini gwe wakolimidde gukaze!”
22Yesu n'abaddamu nti: “Mube n'okukkiriza mu Katonda. 23Mazima mbagamba nti singa omuntu agamba olusozi luno nti: ‘Siguukulukuka weesuule mu nnyanja, kino kirimukolerwa, kasita tabuusabuusa mu mutima gwe, wabula n'akkiriza nti ky'agamba kinaatuukirira.’#Laba ne Mat 17:20; 1 Kor 13:2 24N'olwekyo mbagamba nti: buli kye musaba Katonda, mukkirize nti mukifunye, era mulikifuna.
25“Era buli lwe muyimusa emitima gyammwe eri Katonda, singa wabaawo aba akoze ekibalumya mmwe, mumusonyiwe, olwo Kitammwe ali mu ggulu alyoke nammwe abasonyiwe ebibi byammwe. [26Naye singa temusonyiwa, olwo ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa bibi byammwe.”]#11:26 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno (Laba ne Mat 6:15).#Laba ne Mat 6:14-15
Yesu bamubuuza ku buyinza bwe
(Laba ne Mat 21:23-27; Luk 20:1-8)
27Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bakomawo nate e Yerusaalemu. Yesu bwe yali atambula mu Ssinzizo, bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagenda gy'ali. 28Ne bamubuuza nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza buno okubikola”?
29Yesu n'abaddamu nti: “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kimu. Singa munziramu, olwo nnaababuulira obuyinza bwe nnina okukola ebintu bino. 30Ani yatuma Yowanne okubatiza, Katonda, oba bantu? Munziremu.”
31Awo ne bakubaganya ebirowoozo nti: “Tuddemu nti: Katonda ye yamutuma? Anaatubuuza nti: ‘Kale lwaki Yowanne oyo temwamukkiriza?’ 32Oba tuddemu nti: abantu be baamutuma?” Kino ne bakitya: kubanga abantu bonna baali bakkiriza nti Yowanne mulanzi ddala. 33Awo Yesu ne bamuddamu nti: “Tetumanyi.” Ne Yesu n'abagamba nti: “Kale nno nange siibabuulire buyinza bwe nnina okukola ebintu bino.”

Currently Selected:

MARIKO 11: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in