MARIKO 10
10
Yesu ayigiriza ku butagattululwa bw'abafumbo
(Laba ne Mat 19:1-12; Luk 16:18)
1Awo Yesu n'ava mu kitundu ekyo, n'alaga mu kitundu eky'e Buyudaaya, ne mu kitundu eky'oku ludda olulala olw'Omugga Yorudaani. Abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira w'ali nate, n'abayigiriza nga bwe yali amanyidde okukola.
2Abamu ku Bafarisaayo ne bajja w'ali ne bamubuuza nga bamukema nti: “Omusajja akkirizibwa okugoba mukazi we?” 3Ye n'abaddamu nti: “Musa yabalagira ki?” 4Ne bagamba nti: “Musa yakkiriza omusajja okukola ekiwandiiko ekikakasa bw'agobye mukazi we, olwo n'alyoka amweggyirako ddala.”#Laba ne Ma 24:1-4; Mat 5:31
5Yesu n'abaddamu nti: “Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe, Musa kyeyava abateerawo ekiragiro ekyo. 6Naye okuva ku ntandikwa ensi lwe yatondebwa, ‘Katonda yatonda omusajja n'omukazi.#Laba ne Nta 1:27; 5:2 7N'olwekyo omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, n'abeera ne mukazi we,#Laba ne Nta 2:24 8bombi ne baba omuntu omu.’ Olwo nga tebakyali babiri, wabula omuntu omu.#Laba ne Nta 1:27; 2:24; 5:2 9Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawukanyanga.”
10Bwe baddayo mu nnyumba, abayigirizwa ne babuuza Yesu ku nsonga eyo. 11N'abaddamu nti: “Buli agoba mukazi we, ate n'awasa omukazi omulala, aba azzizza omusango ogw'obwenzi.#Laba ne Mat 5:32; 1 Kor 7:10-11 12Era singa omukazi anoba ewa bba, ate n'afumbirwa omusajja omulala, aba ayenze.”
Yesu awa abaana abato omukisa
(Laba ne Mat 19:13-15; Luk 18:15-17)
13Abantu abamu baali baleeta abaana abato eri Yesu abakwateko, naye abayigirizwa be ne babaziyiza nga bababoggolera. 14Yesu bwe yalaba abayigirizwa be kye bakola, n'asunguwala, n'abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubaziyiza, kubanga abali nga bano, be baba mu Bwakabaka bwa Katonda. 15Mazima mbagamba nti buli muntu atakkiriza kwesiga Katonda, ng'omwana omuto bwe yeesiga bakadde be, si wa kuyingira Bwakabaka bwa Katonda.”#Laba ne Mat 18:3
16Awo n'alera abaana ano abato, n'abawa omukisa ng'abakwatako.
Omusajja omugagga
(Laba ne Mat 19:16-30; Luk 18:18-30)
17Awo Yesu bwe yali ng'atandika olugendo lwe, omusajja n'ajja gy'ali ng'adduka, n'afukamira mu maaso ge, n'amubuuza nti: “Muyigiriza omulungi, kiki kye nteekwa okukola okufuna obulamu obutaggwaawo?”
18Yesu n'amugamba nti: “Lwaki ompise omulungi? Tewali mulungi okuggyako Katonda yekka. 19Ebiragiro bya Katonda obimanyi nti: Tottanga muntu, toyendanga, tobbanga, toyogeranga bya bulimba ku muntu, tolyazaamaanyanga. Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.”#Laba ne Kuv 20:12-16; Ma 5:16-20 20Omusajja ono n'addamu Yesu nti: “Muyigiriza, ebiragiro ebyo byonna nabituukiriza okuviira ddala mu buto, n'okutuusa kati.”
21Awo Yesu bwe yamutunuulira, n'amusiima, n'amugamba nti: “Obulwako ekintu kimu ky'oteekwa okukola. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi ezinaavaamu ozigabire abaavu, olyoke ojje oyitenga nange, olifuna obugagga mu ggulu.”
22Olwawulira ebyo, omusajja oyo, n'alabika nga tasanyuse, era n'agenda nga munakuwavu, kubanga yalina ebyobugagga bingi.
23Yesu ne yeebunguluza abaaliwo amaaso, n'agamba nti: “Abagagga nga kiribabeerera kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!”
24Abayigirizwa be ne bawuniikirira olw'ebigambo bye. Kyokka Yesu n'abagamba nate nti: “Abange, nga kizibu okuyingira Obwakabaka bwa Katonda! 25Kyangu eŋŋamiya okuyita mu katuli k'empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda!”
26Awo ne bawuniikirira nnyo, ne bagambagana nti: “Kale olwo ani ayinza okulokolebwa?” 27Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Abantu tebayinza kwerokola, wabula Katonda ye ayinza okubalokola, kubanga Katonda ayinza byonna.”
28Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Ssebo, ffe twaleka ebyaffe byonna, tulyoke tuyitenga naawe.” 29Yesu n'addamu nti: “Mazima mbagamba nti buli muntu eyaleka ennyumba ye, oba baganda be, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana be, oba ekibanja kye, ku lwange n'olw'Amawulire Amalungi, 30alifuna mu bulamu buno obw'oku nsi, emirundi kikumi: ennyumba, baganda be, bannyina, abazadde be abakazi, abaana, n'ebibanja, awamu n'okuyigganyizibwa. Era mu biseera eby'omu maaso, alifuna obulamu obutaggwaawo. 31Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma, era bangi ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.”#Laba ne Mat 20:16; Luk 13:30
Yesu ayogera omulundi ogwokusatu ku kufa kwe
(Laba ne Mat 20:17-19; Luk 18:31-34)
32Yesu n'abaali naye, baali mu lugendo, nga bambuka e Yerusaalemu. Yesu yali abakulembeddemu, ng'abeesuddeko ebbanga. Abayigirizwa be ne bawuniikirira, era abantu abalala abaali babavaako emabega ne batya.
Awo n'azza nate abayigirizwa be ekkumi n'ababiri ku bbali, n'atandika okubategeeza ebyali bigenda okumutuukako. 33N'abagamba nti: “Mwetegereze, kati tugenda e Yerusaalemu; era eyo Omwana w'Omuntu anaaweebwayo mu bakabona abakulu, ne mu bannyonnyozi b'amateeka. Bajja kumusalira ogw'okufa, era bamuweeyo mu b'amawanga amalala. 34Abo bo bajja kumusekerera, bamuwandire amalusu, bamukubise embooko eziriko amalobo agasuna, era bajja kumutta. Wabula nga wayiseewo ennaku ssatu, alizuukira.”
Okusaba kwa Yakobo ne Yowanne
(Laba ne Mat 20:20-28)
35Awo Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo, ne batuukirira Yesu, ne bamugamba nti: “Muyigiriza, twagala otukolere kyonna kyonna kye tunaakusaba.” 36Yesu n'ababuuza nti: “Kiki kye mwagala mbakolere?”
37Ne bamuddamu nti: “Bw'olituula ku ntebe yo eyeekitiibwa mu Bwakabaka bwo, twagala otukkirize tukuliraane, ng'omu atudde ku ludda lwo olwa ddyo, ate omulala ku lwa kkono.”
38Yesu n'abagamba nti: “Kye musaba temukitegeera. Musobola okunywa ku kikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, oba okubatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu?”#Laba ne Luk 12:50
39Bo ne bamuddamu nti: “Tusobola.” Yesu n'abagamba nti: “Ekikopo eky'okubonaabona kye ŋŋenda okunywako, ddala mulikinywako, era mulibatizibwa mu ngeri gye ŋŋenda okubatizibwamu. 40Naye eky'okutuula nga munninaanye ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono, si nze nkigaba, wabula kiweebwa abo be kyateekerwateekerwa.”
41Abayigirizwa abalala ekkumi bwe baakiwulira, ne banyiigira Yakobo ne Yowanne. 42Awo Yesu n'abayita bonna wamu, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Mumanyi nti abayitibwa abafuzi b'abantu ab'ensi, baagala kuweerezebwa era ababa n'obuyinza bafugisa bukambwe.#Laba ne Luk 22:25-26 43Naye mu mmwe si bwe kiteekwa okuba. Wabula mu mmwe, buli ayagala okuba omukulembeze, ateekwa okuba omuweereza wa banne,#Laba ne Mat 23:11; Mak 9:35; Luk 22:26 44era buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba omuddu wa bonna. 45N'Omwana w'Omuntu teyajjirira kuweerezebwa, wabula okuweereza, era n'okuwaayo obulamu bwe ng'omutango okununula abangi.”
Yesu awonya Barutimaayo
(Laba ne Mat 20:29-34; Luk 18:35-43)
46Awo Yesu n'abayigirizwa be, n'ekibiina ky'abantu kinene, ne batuuka e Yeriko. Bwe baali bavaayo, ne basanga muzibe atudde ku mabbali g'ekkubo, ayitibwa Barutimaayo, eyasabirizanga. Muzibe ono yali mutabani wa Timaayo. 47Barutimaayo oyo bwe yawulira nti Yesu Omunazaareeti ye ayitawo, n'atandika okwogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Yesu Omuzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
48Abantu ne bamuboggolera asirike. Kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Muzzukulu wa Dawudi, nkwatirwa ekisa!”
49Awo Yesu n'ayimirira, n'agamba nti: “Mumuyite ajje.” Ne bamuyita, ne bamugamba nti: “Guma omwoyo, situka, akuyita.” 50Awo n'asuula eri ekkooti ye, n'asituka mangu, n'ajja awali Yesu. 51Yesu n'amugamba nti: “Oyagala nkukolere ki?” Muzibe n'amuddamu nti: “Ssebo, nzibula amaaso, nsobole okulaba.”
52Awo Yesu n'amugamba nti: “Kale genda, owonye olw'okukkiriza kwo.” Amangwago, n'asobola okulaba, era n'agenda ne Yesu.
Currently Selected:
MARIKO 10: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.