ENTANDIKWA 47
47
1Awo Yosefu n'alonda bataano ku baganda be, n'agenda nabo eri kabaka, n'amugamba nti: “Kitange ne baganda bange batuuse, nga bavudde mu nsi ya Kanaani. Bazze n'endiga zaabwe n'ente zaabwe, ne byonna bye balina, era kaakano bali mu kitundu ky'e Goseni.” 2N'ayanjula baganda be eri kabaka. 3Kabaka n'ababuuza nti: “Mukola mulimu ki?” Ne bamuddamu nti: “Ffe abaweereza bo, tuli basumba, nga ne bajjajja baffe bwe baali. 4Tuzze okubeera mu nsi eno, kubanga mu nsi ya Kanaani enjala nnyingi, tewali muddo gwa kuliisa magana gaffe. Kale nno kaakano, tukwegayiridde, tukkirize tubeere mu kitundu ky'e Goseni.” 5Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Kaakano kitaawo ne baganda bo nga bwe bazze gy'oli, 6ensi y'e Misiri eri awo. Bateeke awasinga obulungi, babeere mu kitundu eky'e Goseni. Era oba nga omanyi mu bo abasobola, bawe okulabirira amagana gange.”
7Awo Yosefu n'aleeta Yakobo kitaawe, n'amwanjula eri kabaka. Yakobo n'asabira kabaka omukisa. 8Kabaka n'abuuza Yakobo nti: “Olina emyaka emeka egy'obukulu?” 9Yakobo n'addamu nti: “Emyaka gye nnaakamala ku nsi, giri kikumi mu asatu. Emyaka egyo gibadde mizibu era mitono, tegyenkanye myaka gya bajjajjange emingi gye baamala ku nsi.” 10Yakobo era n'asabira kabaka omukisa, n'avaayo. 11Awo Yosefu n'asenza kitaawe ne baganda be, n'abawa ettaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu kitundu ky'e Rameseesi, nga kabaka bwe yalagira. 12Yosefu n'afuniranga kitaawe ne baganda be, n'amaka ga kitaawe gonna, emmere ng'alabira ku bungi bwabwe.
Enjala
13Ne wataba mmere mu nsi yonna, kubanga enjala yali nnyingi nnyo, abantu b'omu Misiri n'ab'omu Kanaani ne bakenena olw'enjala. 14Yosefu n'akuŋŋaanya ensimbi zonna, ezaali mu nsi y'e Misiri, ne mu nsi ya Kanaani, ng'aguza abantu eŋŋaano, Yosefu n'azireeta mu ggwanika lya kabaka. 15Ensimbi zonna bwe zaggwaayo mu nsi y'e Misiri, ne mu nsi ya Kanaani, Abamisiri bonna ne bajja eri Yosefu, ne bagamba nti: “Tuwe emmere. Totuleka kufa ng'olaba. Ensimbi zituweddeko.”
16Yosefu n'agamba nti: “Muleete ensolo zammwe, mbaweemu emmere, oba ng'ensimbi zibaweddeko.” 17Ne baleetera Yosefu ensolo zaabwe, Yosefu n'abawa emmere, nga bo bawaayo ensolo zaabwe zonna.
18Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bajja gy'ali mu mwaka ogwaddirira, ne bamugamba nti: “Tetujja kukukisa, ssebo: ensimbi zaffe zonna zaatuggwaako, n'amagana g'ensolo zaffe twagakuwa dda. Tetukyalina kirala kya kukuwa, ssebo, okuggyako okukwewa ffe ffennyini n'ebibanja byaffe. 19Totuleka kufa, n'ensi yaffe okuzikirira ng'olaba. Tugule, ffe n'ebibanja byaffe, otuweemu emmere. Tunaabanga baddu ba kabaka, era n'ebibanja byaffe binaabanga bibye. Tuwe eŋŋaano ey'okulya n'ey'okusiga, tuleme kufa, era tulime, ensi yaffe ereme okuzika.”
20Awo Yosefu n'agulira kabaka ensi yonna ey'e Misiri. Buli Mumisiri n'atunda ekibanja kye, kubanga enjala yabayitirirako obungi. Ettaka lyonna ne liba lya kabaka. 21Yosefu abantu n'abafuula baddu okuva ku nsalo ya Misiri emu, okutuuka ku ndala. 22Ettaka lya bakabona lyokka ly'ataagula, kubanga bakabona baalina omugabo ogwabwe, kabaka gwe yabawanga ogwabayimirizangawo, kyebaava batatunda ttaka lyabwe.
23Yosefu n'agamba abantu nti: “Ngulidde kabaka ettaka lyammwe, nammwe ne mbaguliramu. Kale ensigo ziizo, ze munaasiga mu nnimiro zammwe. 24Mu makungula, munaawanga kabaka ekitundu kimu ekyokutaano. Ebitundu ebina ebisigaddewo, bye binaabanga ebyammwe eby'okusiga n'okulya, mmwe awamu n'ab'omu maka gammwe.”
25Ne bagamba nti: “Otuwonyezza okufa! Era ssebo, bw'osiima, tunaaba baddu ba kabaka.” 26Awo Yosefu n'ateeka etteeka mu Misiri erikyaliwo ne leero, abantu okuwanga kabaka ekitundu ekimu ekyokutaano. Ettaka lya bakabona lyokka lye litaafuuka lya kabaka.
Yakobo alaama
27Abayisirayeli ne babeera mu nsi y'e Misiri, mu kitundu eky'e Goseni, ne bagaggawalira omwo, ne bazaala abaana, ne beeyongera nnyo obungi. 28Yakobo n'amala emyaka kkumi na musanvu mu nsi y'e Misiri, bw'atyo n'aweza emyaka kikumi mu ana mu musanvu. 29Yisirayeli bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayita omwana we Yosefu, n'amugamba nti: “Kkiriza, nkwegayiridde, oteeke ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange, weeyame nti tolinziika mu Misiri.#Laba ne Nta 49:29-32; 50:6 30Naye njagala nziikibwe awali bajjajjange, onzigye mu Misiri, onziike mu kifo mwe baaziikibwa.” Yosefu n'addamu nti: “Ndikola nga bw'osabye.”
31Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira.” Yosefu n'amulayirira. Yisirayeli ne yeebaliza ku kitanda kye.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 47: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.