ENTANDIKWA 43
43
Baganda ba Yosefu baddayo mu Misiri wamu ne Benyamiini
1Enjala n'eba nnyingi mu nsi. 2Awo bwe baamala okulya eŋŋaano yonna, gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'agamba nti: “Muddeeyo mutugulire ku kamere.”
3Yuda n'amugamba nti: “Omusajja yatulabulira ddala nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’ 4Bw'onokkiriza muganda waffe okugenda awamu naffe, tunaagenda ne tukugulira emmere. 5Naye bw'otoomukkirize, tetujja kugenda kubanga omusajja yatugamba nti: ‘Temujjanga mu maaso gange, wabula nga muganda wammwe ali awamu nammwe.’ ”
6Yisirayeli n'agamba nti: “Lwaki mwandeetera omutawaana ogwenkanidde awo, okubuulira omusajja nti mulinayo muganda wammwe omulala?”
7Ne baddamu nti: “Omusajja yatubuuza nnyo ku bitufaako, ne ku baganda baffe, ng'agamba nti: ‘Kitammwe akyali mulamu? Mulinayo muganda wammwe omulala?’ Twamuddamu ebyo bye yatubuuza. Twanditegedde tutya nti anaatugamba nti: ‘Muleete muganda wammwe?’ ”
8Yuda n'agamba Yisirayeli nti: “Omulenzi mukwase nze, tusituke tugende, tulyoke tube balamu; ffe naawe, n'abaana baffe abato, enjala ereme kututta. 9Nze nneeyamye okumukuuma. Olimubuuza nze. Bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna. 10Singa tetuludde, kaakano twandibadde twagenda dda era nga tukomyewo n'omulundi ogwokubiri.”
11Awo Yisirayeli kitaawe n'abagamba nti: “Oba nga bwe kiri bwe kityo, mukole bwe muti: mutwale mu nsawo zammwe ebirabo bye munaawa omusajja. Mumutwalire ku bintu eby'omu nsi eno ebisinga obulungi, ku nvumbo, ku mubisi gw'enjuki, ku by'akawoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, ne ku binyeebwa eby'omu ttaka n'eby'oku miti.
12“Era mutwale ensimbi za mirundi ebiri, muzzeeyo n'ezo ezazzibwa ku mimwa gy'ensawo zammwe. Oboolyawo nga baazizza mu butanwa. 13Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja. 14Katonda Omuyinzawaabyonna abakwatirwe ekisa nga muli mu maaso g'omusajja, omusajja alyoke abaddize muganda wammwe omulala, ne Benyamiini. Nze oba ndi wa kufiirwa baana bange, ndibafiirwa.”
15Awo abooluganda ne batwala ebirabo n'ensimbi za mirundi ebiri, ne basitula, ne baserengeta e Misiri, nga bali wamu ne Benyamiini. Ne beeyanjula mu maaso ga Yosefu. 16Yosefu bwe yalaba Benyamiini nga ali wamu nabo, n'agamba omuwanika we nti: “Twala abasajja bano mu nnyumba yange, otte ensolo, kubanga bajja kuliira wamu nange ekyemisana.” 17Omusajja n'akola nga Yosefu bwe yamulagira, n'atwala abooluganda mu nnyumba ya Yosefu.
18Abooluganda ne batya olw'okuleetebwa mu nnyumba ya Yosefu. Ne bagamba nti: “Batuleese muno, olw'ensimbi ezazzibwa mu nsawo zaffe ku mulundi ogwasooka, alyoke atuvunaane, atufubutukire, atunyageko endogoyi zaffe, era atufuule abaddu be.” 19Awo ne basemberera omuwanika wa Yosefu, ne boogera naye, nga bali ku mulyango gw'ennyumba. 20Ne bagamba nti: “Ssebo, twajjako wano okugula emmere omulundi ogwasooka. 21Bwe twatuuka mu kifo we twasula nga tuddayo eka, ne tusumulula ensawo zaffe, ne tusanga ensimbi za buli omu nga ziri ku mumwa gw'ensawo ye, era tuzikomezzaawo. 22Tuleese n'ensimbi endala okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe.”
23Omuwanika n'agamba nti: “Temweraliikirira, temutya. Katonda wa kitammwe ye yabateeramu ensimbi ezo mu nsawo zammwe. Nafuna ensimbi zammwe ze mwasasula.” N'abaggyirayo Simyoni.
24Omuwanika n'atwala abooluganda abo mu nnyumba ya Yosefu, n'abawa amazzi ne banaaba ebigere, era n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya. 25Ne bateekateeka ebirabo eby'okuwa Yosefu ng'azze gye bali mu ttuntu, kubanga baali babagambye nti banaaliira eyo awamu naye ekyemisana. 26Yosefu bwe yajja, baganda be ne bamuleetera mu nnyumba ebirabo bye baali nabyo, ne bamuvuunamira. 27N'ababuuza nti: “Muli mutya?” Era n'agamba nti: “Kitammwe omukadde gwe mwayogerako akyali mulamu? Ali bulungi?” 28Ne baddamu nti: “Omuweereza wo kitaffe akyali mulamu, era ali bulungi.” Ne bamuvuunamira, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka.
29Awo Yosefu n'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamiini muganda we, omwana wa nnyina, n'agamba nti: “Oyo ye muganda wammwe asembayo obuto gwe mwambuulirako?” N'agamba Benyamiini nti: “Katonda akukwatirwe ekisa, mwana wange!” 30Yosefu n'avaawo mangu, kubanga emmeeme yamutenguka olwa muganda we. N'anoonya w'anaakaabira amaziga. N'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo. 31Bwe yamala okunaaba mu maaso, n'afuluma, ne yeefuga, n'agamba nti: “Musoosootole emmere.” 32Yosefu ne bamusoosootolera yekka, ne baganda be ne babasoosootolera bokka, n'Abamisiri abaalya ku kijjulo ekyo nabo ne babasoosootolera bokka, kubanga Abamisiri tebaliira wamu na Beebureeyi. Ekyo kya muzizo mu Bamisiri. 33Abooluganda ne batuuzibwa nga batunuulidde Yosefu, nga bwe baddiŋŋanako mu kuzaalibwa, okuva ku asinga obukulu, okutuuka ku asembayo obuto. Ne batunulaganako, ne beewuunya. 34Yosefu n'ababegera ku mmere eyali mu maaso ge. Ekitole kya Benyamiini ne kisinga obunene emirundi etaano ku buli kimu ku by'abalala bonna. Ne banywa, ne basanyukira wamu ne Yosefu.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 43: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.