YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 44

44
Ekikopo ekyabula
1Awo Yosefu n'alagira omuwanika we nti: “Teeka mu nsawo z'abasajja emmere yonna gye bayinza okwetikka, era teeka ensimbi za buli omu ku mumwa gw'ensawo ye. 2Teeka n'ekikopo kyange, ekya ffeeza, ku mumwa gw'ensawo ey'oyo asinga obuto, era oteekemu n'ensimbi ze z'aguzizza eŋŋaano.” Omuwanika n'akola nga Yosefu bw'amugambye.
3Bwe bwakya enkya, abooluganda ne basiibulwa nga bali n'endogoyi zaabwe. 4Bwe baali baakatambulako katono okuva mu kibuga, Yosefu n'agamba omuwanika we nti: “Situka ogoberere abasajja abo. Bw'onoobatuukako, ogambe nti: ‘Lwaki ebirungi mubisasuddemu ebibi? Lwaki mubbye ekikopo kya mukama wange ekya ffeeza?#44:4 Lwaki mubbye ekikopo kya mukama wange? Ebigambo ebyo tebiri mu Lwebureeyi, wabula mu biwandiiko ebimu eby'edda. 5Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anyweramu era ky'akozesa ng'alagula? Kye mukoze kibi nnyo!’ ”
6Omuwanika bwe yabatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. 7Ne baddamu nti: “Ssebo, kiki ekikwogeza ebigambo ebiri ng'ebyo? Ffe abaweereza bo, tetuyinza kukola kintu ekiri ng'ekyo. 8Olaba ensimbi ze twasanga ku mimwa gy'ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanaani, kale twandibbye tutya ffeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo? 9Ssebo, buli yenna ku ffe abaweereza bo, anaasangibwa nga ye ali nakyo, anattibwa, era naffe abasigaddewo tunaaba baddu bo.”
10N'agamba nti: “Kale kibe nga bwe mugambye. Wabula oyo anaasangibwa nakyo, ye anaaba omuddu wange. Mwe abalala temuubeeko musango.”
11Awo ne batikkula mangu ensawo zaabwe, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. 12Omuwanika wa Yosefu n'ayaza, ng'asookera ku asinga obukulu, n'amalira ku asinga obuto. Ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamiini. 13Abooluganda ne balyoka bayuza ebyambalo byabwe olw'okunakuwala, buli omu n'atikka ebintu ku ndogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.
14Yuda ne baganda be bwe baatuuka mu nnyumba ya Yosefu, ne basanga ng'akyaliyo, ne bavuunama mu maaso ge. 15Yosefu n'abagamba nti: “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali mu kifo ng'ekyange, ddala ayinza okulagula?”
16Yuda n'agamba nti: “Tunaakugamba ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tunaawoza tutya? Katonda azudde omusango gwaffe. Tuutuno. Kaakano tuli baddu bo, mukama wange, ffe era n'oyo asangiddwa n'ekikopo.”
17Yosefu n'agamba nti: “Nedda, siyinza kukola bwe ntyo. Oyo yekka asangiddwa n'ekikopo, ye anaaba omuddu wange. Naye mmwe abalala mwambuke muddeyo mirembe eri kitammwe.”
Yuda awolereza Benyamiini
18Awo Yuda n'ajja awali Yosefu, n'agamba nti: “Mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza, nze omuddu wo, njogereko naawe. Tonsunguwalira, kubanga oli nga kabaka yennyini. 19Mukama wange, watubuuza ffe abaddu bo nti: ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’ 20Ffe ne tukuddamu nti: ‘Tulina kitaffe mukadde, ne muganda waffe omuto, eyazaalibwa nga kitaffe akaddiye. Muganda w'omwana oyo yafa, era ye, ye yekka asigaddewo ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala nnyo.’ 21Ggwe n'olyoka otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Mumundeetere mmulabeko.’ 22Ne tukugamba, mukama wange, nti: ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga singa amuvaako, kitaawe ajja kufa.’ 23N'otugamba ffe abaddu bo nti: ‘Muganda wammwe asinga obuto bw'atalijja wamu nammwe, temulikkirizibwa mu maaso gange nate.’
24“Bwe twaddayo eri kitange omuweereza wo, ne tumutegeeza bye wayogera. 25Kitaffe n'agamba nti: ‘Muddeeyo, mutugulire akamere.’ 26Ffe ne tugamba nti: ‘Tetuyinza kugenda, kubanga tetujja kukkirizibwa mu maaso ga musajja oli, okuggyako nga muganda waffe asinga obuto ali wamu naffe. Muganda waffe asinga obuto bw'anaagenda awamu naffe, olwo lwe tunaagenda.’ 27Kitaffe omuweereza wo n'atugamba nti: ‘Mumanyi nga mukazi wange Raakeeli yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri. 28Omu yanvaako, ne ŋŋamba nti ddala yataagulwataagulwa ensolo enkambwe! Era siddangayo kumulabako kasookedde anvaako. 29Bwe munanzigyako n'ono, akabi ne kamutuukako, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde!’
30“Kale kaakano bwe ndiddayo eri kitange omuweereza wo, ng'omulenzi tali wamu nange, obulamu bwa kitaffe nga bwe buli awamu n'obw'omulenzi, 31olulituuka, kitaffe n'alaba ng'omulenzi tali wamu naffe, talirema kufa. Olwo ffe abaddu bo, okunakuwala kwe tulireetera kitaffe omuweereza wo omukadde, kulimutta. 32Nze omuddu wo, nze neeyama eri kitange, okukuuma omulenzi nga ŋŋamba nti: ‘Bwe sirimukomyawo gy'oli, nze ndiba n'omusango gy'oli ennaku zonna ez'obulamu bwange.’ 33Kale nno, mukama wange, nkwegayiridde, nzikiriza nze nsigale wano okuba omuddu wo, mu kifo ky'omulenzi, ye omulenzi addeyo wamu ne baganda be, 34kubanga ndituuka ntya eri kitange, ng'omulenzi tali wamu nange? Siyinza kugumira kulaba kabi kalituuka ku kitange.”

Currently Selected:

ENTANDIKWA 44: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in