ENTANDIKWA 42
42
Baganda ba Yosefu bagenda e Misiri okugula eŋŋaano
1Awo Yakobo bwe yamanya nga mu Misiri eriyo eŋŋaano, n'agamba batabani be nti: “Lwaki mudda awo okutunuuliganako? 2Mpulidde nga mu Misiri eriyo eŋŋaano. Muserengeteeyo, mutugulireyo ku ŋŋaano eneetubeesaawo, tuleme kufa njala.”#Laba ne Bik 7:12 3Awo baganda ba Yosefu ekkumi, ne baserengeta e Misiri okugulayo eŋŋaano. 4Naye Benyamiini, muganda wa Yosefu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be, kubanga yatya nti sikulwa ng'akabi kamutuukako.
5Awo batabani ba Yisirayeli ne bajja wamu n'abantu abalala okugula eŋŋaano, kubanga waaliwo enjala mu nsi ya Kanaani. 6Yosefu ye yali omufuzi w'ensi ey'e Misiri, era ye yaguzanga abantu bonna abaavanga wonna mu nsi. Baganda be ne bajja, ne bavuunama mu maaso ge, ng'obwenyi butuukidde ddala ku ttaka. 7Yosefu bwe yalaba baganda be, n'abategeera, naye n'abayisa nga b'atamanyi, n'ayogera nabo n'ebboggo, n'abagamba nti: “Muva wa?” Ne baddamu nti: “Tuva mu nsi ya Kanaani, tuzze kugula mmere.”
8Yosefu yategeera baganda be, naye bo tebaamutegeera. 9Yosefu n'ajjukira ebirooto, bye yaloota ku bo, n'abagamba nti: “Muli bakessi. Muzze okulaba ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe.”#Laba ne Nta 37:5-10 10Ne bamuddamu nti: “Nedda, mukama waffe. Naye ffe abaweereza bo, tuzze kugula mmere. 11Ffenna tuli baana ba kitaffe omu. Ffe abaweereza bo, tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi.” 12Yosefu n'abagamba nti: “Nedda, ebitundu mwe tuteenywezezza mu nsi yaffe bye muzze okulaba.” 13Ne bagamba nti: “Ffe abaweereza bo, tuli abooluganda kkumi na babiri, nga tuli baana ba kitaffe omu, mu nsi ya Kanaani. Muganda waffe omu takyaliwo, ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano.”
14Yosefu n'abagamba nti: “Kye kiikyo kye mbagambye nti muli bakessi. 15Mujja kugezebwa bwe muti: nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti temujja kuva wano, wabula nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano. 16Mutume omu ku mmwe akime muganda wammwe. Mmwe abalala mujja kusibibwa mu kkomera, okutuusa lwe tunaakakasa nti bye mugamba bya mazima. Bwe kitaabe bwe kityo, nga kabaka bw'ali omulamu, ndayidde nti ddala muli bakessi.” 17N'abateeka bonna wamu mu kkomera, okumala ennaku ssatu.
18Ku lunaku olwokusatu, Yosefu n'agamba nti: “Ndi muntu assaamu Katonda ekitiibwa. Kale mukole kye ŋŋamba, mulyoke muwonye obulamu bwammwe. 19Oba nga muli bantu ba mazima, omu ku baganda bammwe asigale wano mu kkomera mwe mubadde musibiddwa, naye mwe abalala mugende, ab'omu maka gammwe abafa enjala mubatwalire eŋŋaano. 20Era mundeetere muganda wammwe asembayo obuto. Ekyo kirikakasa nti bye mwogedde bya mazima, era siribatta.” Ne bakkiriza okukola bwe batyo.
21Ne bagambagana nti: “Mazima omusango gwatusinga olwa muganda waffe, kubanga twalaba bw'abonaabona bwe yatwegayirira, naye ffe ne tugaana okuwulira, kye tuvudde tubonaabona bwe tuti!”
22Rewubeeni n'abaddamu nti: “Ssaabagamba nti omwana temumukolako kabi, naye mmwe ne mugaana okuwulira? Kaakano kyetuva tubonerezebwa olw'okufa kwe.”#Laba ne Nta 37:21-22
23Ne batamanya nga Yosefu ategedde bye boogera, kubanga baayogeranga naye nga waliwo abavvuunulira. 24Yosefu n'ava we bali, n'akaaba amaziga. N'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusiba nga balaba.
Baganda ba Yosefu baddayo e Kanaani
25Yosefu n'alagira okujjuza ensawo za baganda be eŋŋaano, n'okuddiza buli omu ensimbi ze mu nsawo ye, era n'okubawa entanda. Ne babakolera bwe batyo. 26Ne batikka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda. 27Omu ku bo bwe yasumulula ensawo ye okuwa endogoyi ye ebyokulya mu kifo we baasula, n'alaba ensimbi ze ku mumwa gw'ensawo ye. 28N'agamba baganda be nti: “Ensimbi zange bazinzirizza, ziizino mu nsawo yange.” Emitima ne gibatyemuka, ne bakankana, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky'atukoze?”
29Bwe baatuuka eri Yakobo kitaabwe, mu nsi ya Kanaani, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako. Ne bagamba nti: 30“Omusajja omufuzi wa Misiri yayogera naffe n'ebboggo, n'atulumiriza nti tuketta ensi ye. 31Ne tumugamba nti: ‘Tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi. 32Tuli abooluganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe omu. Muganda waffe omu takyaliwo. Ate oyo asembayo obuto, ali wamu ne kitaffe kaakano mu nsi ya Kanaani.’ 33Omusajja oyo omufuzi wa Misiri, n'atugamba nti: ‘Ku kino kwe nnaategeerera nga muli bantu ba mazima: omu ku mmwe mumuleke wamu nange, abalala mugende mutwalire ab'omu maka gammwe eŋŋaano, abafa enjala. 34Mundeetere muganda wammwe asembayo obuto, olwo nditegeera nga temuli bakessi, naye nga muli bantu ba mazima. Ndibaddiza muganda wammwe, era munaasuubulanga mu nsi eno!’ ”
35Awo bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli omu n'asanga mu nsawo ye ensimbi ze, ze yasiba. Bwe baalaba ensimbi zaabwe ze baasiba, bo ne kitaabwe ne batya. 36Yakobo kitaabwe n'agamba nti: “Mummazeeko abaana bange: Yosefu takyaliwo, ne Simyoni takyaliwo. Era kaakano mwagala okunzigyako ne Benyamiini. Ebyo byonna bibonyaabonya nze!”
37Rewubeeni n'agamba kitaawe nti: “Bwe sirikomyawo Benyamiini gy'oli, ottanga batabani bange bombi. Munkwase, ndimukomyawo gy'oli.”
38Naye Yakobo n'agamba nti: “Omwana wange tajja kugenda nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye, ye asigaddewo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu kkubo lye muliyitamu, okunakuwala kwe mulindeetera, kulinzita nze omukadde.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 42: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.