YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 41

41
Yosefu avvuunula ebirooto bya kabaka
1Emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, kabaka n'aloota. Yaloota n'alaba ng'ayimiridde ku Mugga Kiyira. 2Ente musanvu ennungi era ennyirivu ne ziva mu mugga, ne zirya omuddo. 3N'ente endala musanvu embi era enkovvu, ne ziziddirira, nga nazo ziva mu mugga. Ne ziyimirira ku mabbali g'omugga, awali ente ziri endala. 4Ente embi era enkovvu ne zirya ente ziri ennungi era ennyirivu. Awo kabaka n'azuukuka.
5Era ne yeebaka n'aloota omulundi ogwokubiri. N'alaba ebirimba by'eŋŋaano musanvu ebigimu era ebirungi, ne bimera ku kikolo kimu. 6N'ebirimba by'eŋŋaano ebirala musanvu ne bibiddirira, ne bimera nga bitono era nga bibabuddwa empewo eziva mu ddungu. 7Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba biri ebigimu era ebinene. Kabaka n'azuukuka, era n'ategeera nti abadde aloota. 8Enkya mu makya ne yeeraliikirira, n'atumya abalaguzi bonna n'abagezigezi bonna ab'omu Misiri, n'ababuulira ebirooto bye, naye ne wataba n'omu ayinza kumuvvuunulira makulu gaabyo.#Laba ne Dan 2:2
9Awo omusenero omukulu n'agamba kabaka nti: “Olwaleero nzijukidde nga nasobya. 10Ayi kabaka, bwe wasunguwalira abaweereza bo, nze n'omufumbiro omukulu, n'otusibira mu nnyumba y'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri, 11twaloota ebirooto mu kiro ekimu, ng'ekirooto kya buli omu kya makulu maawufu. 12Awamu naffe, waaliyo omulenzi Omwebureeyi, omuddu w'omukulu w'abaserikale abakuumi b'olubiri. Ne tumubuulira ebirooto byaffe, n'atuvvuunulira amakulu gaabyo, ng'ekirooto kya buli omu bwe kyali. 13Ne biba bwe bityo nga bwe yabituvvuunulira. Nze wanziza mu bwami bwange, naye omufumbiro omukulu wamusiba omuguwa mu bulago, n'omuwanika ku muti n'afa.”
14Kabaka n'atumya Yosefu, ne bamuggya mangu mu kkomera. Yosefu bwe yamala okwemwa, n'akyusa ebyambalo bye, n'ajja eri kabaka. 15Kabaka n'amugamba nti: “Naloose ekirooto, era tewannabaawo ayinza kuvvuunula makulu gaakyo. Mpulidde nga bakwogerako nti oyinza okuvvuunula ebirooto.”
16Yosefu n'addamu kabaka nti: “Si nze, naye Katonda ye anaakuwa, ayi Kabaka, okuvvuunula okulungi.”
17Awo kabaka n'agamba Yosefu nti: “Mu kirooto kyange, nabadde nnyimiridde ku mabbali g'omugga Kiyira.
18“Ente musanvu ennyirivu era ennungi ne ziva mu mugga, ne zirya omuddo. 19N'ente endala musanvu ennafu era embi ennyo ne ziziddirira. Nali sirabangako nte nkovvu ng'ezo, mu nsi yonna ey'e Misiri. 20Ente ezo enkovvu era embi, ne zirya ziri ennyirivu ezaasoose. 21Naye bwe zaamaze okuzirya, omuntu yabadde tayinza kumanya nti ziziridde, kubanga zaasigadde nkovvu nga bwe zaabadde mu kusooka. Awo ne nzuukuka.
22“Era mu kirooto kyange, ne ndaba ebirimba by'eŋŋaano musanvu ebinene era ebirungi, ne bimera ku kikolo kimu. 23Awo ebirimba musanvu ebiwotose, ebitono, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, ne bibiddirira, nabyo ne bimera. 24Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebirungi. Ebirooto nabibuulidde abalaguzi, naye ne wataba ayinza kubinnyinyonnyola.”
25Yosefu n'agamba kabaka nti: “Ebirooto byo, ayi kabaka, birina amakulu ge gamu. Katonda akutegeezezza by'agenda okukola. 26Ente omusanvu ennungi, gye myaka musanvu. N'ebirimba omusanvu ebirungi, era gye myaka musanvu. Ebirooto byombi birina amakulu ge gamu. 27N'ente omusanvu enkovvu era embi, ezaddirira ziri ezaasooka, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu mpeke, era ebibabuliddwa empewo eziva mu ddungu, egyo myaka musanvu egy'enjala. 28Ekyo kye nkugambye, ayi kabaka, nti Katonda akulaze by'agenda okukola. 29Walibeerawo emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri. 30Egyo nga giyiseewo, walibeerawo emyaka musanvu egy'enjala. N'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi y'e Misiri, era enjala erizikiriza ensi. 31Ekyengera kiryerabirirwa ddala mu nsi, olw'enjala erikiddirira, kubanga eriba nnyingi nnyo. 32Ekirooto okuba eky'emirundi ebiri, kitegeeza nti Katonda anywezezza ekigambo ekyo, era ajja kukituukiriza mangu.
33“Kale nno kaakano, ayi kabaka, wandironze omusajja omujagujagu era ow'amagezi, omuwe okufuga ensi ey'e Misiri. 34Era ayi kabaka, teekawo abakungu mu ggwanga, otereke ekitundu kimu ku bitundu bitaano eby'emmere yonna, eririmibwa mu nsi ey'e Misiri, mu myaka omusanvu egy'ekyengera. 35Era obalagire bakuŋŋaanye emmere mu myaka egyo emirungi egijja, batereke eŋŋaano mu bibuga, era bagikuume. 36Emmere eyo, ye eriba ey'okwekuumisa mu ggwanga, mu myaka omusanvu egy'enjala eribaawo mu nsi ey'e Misiri, edduukirire abantu, baleme okufa enjala.”
Yosefu afuulibwa omufuzi mu Misiri
37Kabaka n'abaweereza be bonna, ne basiima entegeka eyo. 38Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Tuyinza okuzuulayo omusajja ali ng'ono, omusajja ajjudde omwoyo gwa Katonda?” 39Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nga Katonda bw'akulaze ebyo byonna, tewali n'omu mujagujagu, era wa magezi nga ggwe. 40Ggwe onoofuganga ensi yange, era abantu bange bonna banaawuliranga by'olagira. Nze nzekka, nze nnaakusinganga okuba n'obuyinza.”#Laba ne Bik 7:10
41Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Kaakano nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri.” 42Kabaka ne yeenaanula ku ngalo empeta ye eriko akabonero k'obwakabaka, n'aginaanika Yosefu ku ngalo, n'amwambaza ekyambalo eky'olugoye olulungi, era n'amwambaza mu bulago omukuufu ogwa zaabu.#Laba ne Dan 5:29 43N'amuwa eggaali ye eyookubiri kw'aba atambulira, ne balangirira mu maaso ge nti: “Mufukamire.” Bw'atyo kabaka n'awa Yosefu okufuganga ensi yonna ey'e Misiri. 44Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nze kabaka era mu nsi ey'e Misiri tewali n'omu aligolola omukono gwe, wadde ekigere kye nga tokkirizza.” 45Kabaka n'atuuma Yosefu erinnya Zafenati Paneya, n'amuwa Asenati, muwala wa Potifera kabona ow'e Oni, okumuwasa. Yosefu n'atalaaga ensi ey'e Misiri yonna.
46Yosefu yali aweza emyaka amakumi asatu we yatandikira okuweereza kabaka w'e Misiri. N'ava mu lubiri lwa kabaka, n'atalaaga ensi yonna ey'e Misiri. 47Mu myaka omusanvu egy'ekyengera, ensi n'ebaza emmere nnyingi. 48Yosefu n'agikuŋŋaanyanga yonna, n'agiterekanga mu bibuga. N'aterekanga mu buli kibuga emmere ey'omu nnimiro ezikyetoolodde. 49Yosefu n'atereka eŋŋaano nnyingi nnyo ng'omusenyu ogw'ennyanja, era n'alekera awo okugipima, kubanga yali tekyapimika.
50Emyaka egy'enjala nga teginnatuuka, Yosefu n'afuna abaana babiri ab'obulenzi, Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira. 51Yosefu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manasse,#41:51 Manasse: Mu Lwebureeyi livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Okwerabiza.” kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza okubonaabona kwange kwonna n'amaka ga kitange gonna.” 52N'atuuma n'owookubiri erinnya Efurayimu,#41:52 Efurayimu: Mu Lwebureeyi livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Okuwa omuntu abaana.” kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe mbonaabonedde.”
53Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. 54Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitandika, nga Yosefu bwe yagamba. Enjala n'egwa mu nsi zonna. Naye mu nsi ey'e Misiri, mwo ng'emmere mweri.#Laba ne Bik 7:11 55Abantu b'omu Misiri yonna bwe baalumwa enjala, ne bakaabirira kabaka olw'emmere. Bonna kabaka n'abagamba nti: “Mugende eri Yosefu, ky'anaabagamba kye muba mukola.”#Laba ne Yow 2:5 56Enjala n'eba nnyingi, n'ebuna wonna mu nsi ey'e Misiri. Yosefu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri eŋŋaano. 57Abantu ne bavanga mu nsi zonna, ne bajja mu Misiri eri Yosefu okugula eŋŋaano, kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna.

Currently Selected:

ENTANDIKWA 41: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in