1
ENTANDIKWA 41:16
Luganda Bible 2003
Yosefu n'addamu kabaka nti: “Si nze, naye Katonda ye anaakuwa, ayi Kabaka, okuvvuunula okulungi.”
Compare
Explore ENTANDIKWA 41:16
2
ENTANDIKWA 41:38
Kabaka n'agamba abaweereza be nti: “Tuyinza okuzuulayo omusajja ali ng'ono, omusajja ajjudde omwoyo gwa Katonda?”
Explore ENTANDIKWA 41:38
3
ENTANDIKWA 41:39-40
Kabaka n'agamba Yosefu nti: “Nga Katonda bw'akulaze ebyo byonna, tewali n'omu mujagujagu, era wa magezi nga ggwe. Ggwe onoofuganga ensi yange, era abantu bange bonna banaawuliranga by'olagira. Nze nzekka, nze nnaakusinganga okuba n'obuyinza.”
Explore ENTANDIKWA 41:39-40
4
ENTANDIKWA 41:52
N'atuuma n'owookubiri erinnya Efurayimu, kubanga yagamba nti: “Katonda ampadde abaana mu nsi mwe mbonaabonedde.”
Explore ENTANDIKWA 41:52
5
ENTANDIKWA 41:51
Yosefu n'atuuma omwana omubereberye erinnya Manasse, kubanga yagamba nti: “Katonda anneerabizza okubonaabona kwange kwonna n'amaka ga kitange gonna.”
Explore ENTANDIKWA 41:51
Home
Bible
Plans
Videos