OKUVA E MISIRI 10
10
1Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka, kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abakungu be, ndyoke nkole ebyamagero byange bino mu bo, 2ggwe osobole okubuulira abaana bo ne bazzukulu bo bye nkoze Abamisiri, n'ebyamagero bye nkoze ku bo, mulyoke mumanye nga Nze MUKAMA.”
3Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: ‘Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende bampeereze. 4Naye bw'onoogaana okuleka abantu bange okugenda, enkya nja kuleeta enzige mu nsi yo, 5zibikkire ddala ensi ereme okulabika. Zijja kulya byonna, omuzira bye gutaazikiriza, n'emiti gyonna egiri mu nnimiro zammwe. 6Era zijja kujjuza ennyumba zo n'ennyumba z'abakungu bo, n'ez'Abamisiri bonna. Enzige ezo zijja kuba mbi okusinga ezo bakitammwe ne bajjajjammwe ze baali balabyeko mu biseera byabwe n'okutuusa kaakano.’ ” Musa n'akyuka n'ava awali kabaka.
7Abakungu ba kabaka ne bamugamba nti: “Omusajja ono alituusa wa okututawaanya? Leka abantu bagende baweereze Mukama Katonda waabwe. Tonnamanya nga Misiri ezikiridde?”
8Awo Musa ne Arooni ne bazzibwa mu maaso ga kabaka, n'abagamba nti: “Kale mugende muweereze Mukama Katonda wammwe. Naye b'ani abanaagenda?”
9Musa n'addamu nti: “Ffenna tujja kugenda wamu n'abaana baffe abato, n'abantu baffe abakadde, n'abaana baffe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Era tujja kutwala endiga zaffe n'ente zaffe, kubanga tuteekwa okukolera Mukama embaga.”
10Kabaka n'abagamba nti: “Ndayira Mukama nti sijja kubaleka kugenda na bakazi bammwe na baana bammwe. Kirabika nga mulina olukwe lwe mutegeka. 11Nedda, abasajja mwekka mmwe muba mugenda muweereze Mukama, kubanga ekyo kye mwagala.” Musa ne Arooni ne bagobebwa mu maaso ga kabaka.
12Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri, enzige zijje zizinde ensi ey'e Misiri, zirye buli kimera kyonna ekyawonawo mu muzira.”
13Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga eyava ebuvanjuba, n'ekunta ku nsi, emisana n'ekiro ku lunaku olwo. Bwe bwakya enkya, embuyaga eyo n'ereeta enzige. 14Enzige ennyingi bwe zityo zaali tezirabibwangako era teziriddayo kulabibwa nate.#Laba ne Kub 9:2-3 15Zaabikka ensi yonna ey'e Misiri, ne zigiddugaliza ddala. Ne zirya buli kimera kyonna, n'ebibala eby'oku miti ebyawonawo mu muzira, ne watasigala kikoola na kimu ekibisi ku muti, wadde ku kimera ekirala kyonna, mu nsi yonna ey'e Misiri.
16Kabaka n'ayita mangu Musa ne Arooni, n'agamba nti: “Nkoze ekibi mu maaso ga Mukama ne mu maaso gammwe. 17Kale kaakano mbeegayiridde munsonyiwe ekibi kyange omulundi gumu gwokka, era musabe Mukama Katonda wammwe, anzigyeko olumbe luno.”
18Musa n'ava awali kabaka, n'asaba Mukama. 19Mukama n'aleeta embuyaga ey'amaanyi ennyo eyava ebugwanjuba, n'etwala enzige, n'ezisuula mu Nnyanja Emmyufu, ne watasigala nzige n'emu mu nsi yonna ey'e Misiri. 20Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka Bayisirayeli kugenda.
Ekizikiza
21Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza ekikutte bezzigizigi kibe ku nsi ey'e Misiri.”
22Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu, ekizikiza ekikutte ne kibikka ensi yonna ey'e Misiri, okumala ennaku ssatu.#Laba ne Zab 105:28; Kub 16:10 23Abamisiri ne batasobola kulabagana, era tewali yava mu kifo mwe yali, okumala ennaku ssatu. Naye Abayisirayeli baalina ekitangaala ewaabwe gye baabeeranga.
24Kabaka n'ayita Musa n'agamba nti: “Mugende muweereze Mukama. Abaana bammwe abato nabo bagende nammwe. Endiga n'embuzi ze ziba zisigala.”
25Musa n'agamba nti: “Era oteekwa okutuwa ensolo ez'okutambira, n'ez'okuwaayo nga nnamba eri Mukama Katonda waffe. 26Amagana gaffe nago gateekwa okugenda naffe, tewali nsolo n'emu gye tunaaleka, kubanga tuteekwa okulondamu ensolo ezeetaagibwa mu kuweereza Mukama Katonda waffe. Era tetumanyi nsolo ziryetaagibwa mu kuweereza Mukama, okutuusa lwe tulimala okutuukayo.”
27Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabaleka kugenda. 28N'agamba Musa nti: “Va we ndi! Weekuume, oleme kudda mu maaso gange mulundi mulala, kubanga ku lunaku lw'olirabika mu maaso gange, ogenda kufa.”
29Musa n'agamba nti: “Oyogedde bulungi. Sijja kuddayo kulabika mu maaso go.”
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 10: LB03
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.