Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka, kubanga nkakanyazizza omutima gwe, n'omutima gw'abakungu be, ndyoke nkole ebyamagero byange bino mu bo, ggwe osobole okubuulira abaana bo ne bazzukulu bo bye nkoze Abamisiri, n'ebyamagero bye nkoze ku bo, mulyoke mumanye nga Nze MUKAMA.”