YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 11

11
Musa alangirira okufa kw'abaggulanda
1Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kusindikira kabaka w'e Misiri n'abantu be ekibonerezo ekirala kimu kyokka, oluvannyuma ajja kubaleka mugende, abagobe na bugobi muno. 2Kaakano yogera eri Abayisirayeli, ogambe abasajja n'abakazi, basabe baliraanwa baabwe, babawe ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu.” 3Mukama n'awa Abayisirayeli okwagalibwa mu Bamisiri. Naddala abakungu ba kabaka n'abantu bonna, ne balaba nga Musa mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri.
4Awo Musa n'agamba kabaka nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga mu ttumbi, nja kuyita mu Misiri, 5era abaana bonna abaggulanda ab'obulenzi mu nsi ey'e Misiri bajja kufa, okuva ku wa kabaka atuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuusa ku w'omuzaana asa ku lubengo. N'abaana b'ensolo ababereberye nabo bajja kufa. 6Wajja kubaawo okukuba ebiwoobe mu nsi yonna ey'e Misiri okutabangawo, era okutaliddayo kubaawo. 7Naye tewajja kuba wadde embwa eboggolera n'omu mu Bayisirayeli oba ensolo zaabwe, mulyoke mumanye nti nze MUKAMA ayawula Abamisiri ku Bayisirayeli.’ 8Abakungu bo bano bonna bajja kujja gye ndi banvuunamire nga bagamba nti: ‘Genda n'abantu bo bonna b'okulembera.’ Ebyo nga biwedde, nja kugenda.” Musa n'ava awali kabaka n'obusungu bungi.
9Mukama n'agamba Musa nti: “Kabaka tajja kubawuliriza, ndyoke nnyongere okukola ebyamagero mu nsi ey'e Misiri.” 10Musa ne Arooni ne bakola ebyamagero bino byonna mu maaso ga kabaka. Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'ataleka bantu ba Yisirayeli kuva mu nsi ye.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 11: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in