YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA 5

5
Ananiya ne Safira
1Naye waaliwo omusajja erinnya lye Ananiya, nga mukazi we ye Safira, n'atunda ennimiro ye. 2Ekitundu ky'ensimbi ezaavaamu n'akitereka, nga ne mukazi we amanyi. Ezaasigalawo n'azitwalira abatume. 3Peetero n'amubuuza nti: “Ananiya, lwaki wakkirizza Sitaani okufuga omutima gwo, n'olimba Mwoyo Mutuukirivu nga weeterekera ezimu ku nsimbi ze wafuna mu nnimiro? 4Bwe wali tonnagitunda teyali yiyo? Era n'ensimbi ze wafunamu tezaali mu buyinza bwo? Kale lwaki wateesezza mu mutima gwo okukola ekintu ekifaanana bwe kityo? Tolimbye bantu, wabula olimbye Katonda.” 5Ananiya olwawulira ebyo, n'agwa n'afiirawo. Bonna abaakiwulira ne bajjula entiisa. 6Abavubuka ne bajja ne bazinga omulambo gwe, ne bagutwala ne baguziika. 7Bwe waayitawo ebbanga lya ssaawa nga ssatu, mukazi we naye n'ayingira. Yali nga tamanyi bibaddewo. 8Peetero n'amubuuza nti: “Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe guti?” N'addamu nti: “Ddala gwe guugwo.” 9Awo Peetero n'amubuuza nti: “Lwaki mwakkiriziganyizza okukema Mwoyo wa Mukama? Laba, abaziise balo baabo bayingira, naawe banaakutwala.”
10Amangwago n'agwa kumpi n'ebigere bya Peetero, n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira, ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba. 11Awo ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo era n'abalala bonna abaawulira ebyo, ne bajjula entiisa nnene.
Ebyewuunyo n'ebyamagero
12Awo abatume ne bakolanga ebyewuunyo n'ebyamagero bingi mu bantu. Abakkiriza bonna nga bali bumu, baakuŋŋaaniranga ku kifugi kya Solomooni. 13Newaakubadde abantu abalala baabassangamu nnyo ekitiibwa, naye nga tewali aguma kubeetabikamu. 14Kyokka omuwendo gw'abasajja n'abakazi abakkiriza Mukama, ne gugenda nga gweyongera. 15N'okuleeta ne baleetanga abalwadde baabwe, ne babagalamiza ku bitanda ne ku mikeeka ku kkubo, Peetero ng'ayitawo waakiri ekisiikirize kye kituuke ku bamu. 16Era abantu bangi ab'omu bibuga ebiriraanye Yerusaalemu, ne beesomba nga baleeta abalwadde n'abateganyizibwa emyoyo emibi, bonna ne bawonyezebwa.
Abatume bayigganyizibwa
17Awo Ssaabakabona ne bonna abaali naye ab'ekibiina ky'Abasaddukaayo, ne bajjula obuggya. 18Ne bakwata abatume, ne babateeka mu kkomera lya bonna. 19Naye ekiro, malayika wa Mukama n'aggulawo enzigi z'ekkomera, n'abafulumya ebweru, n'abagamba nti: 20“Mugende muyingire mu Ssinzizo, mutegeeze abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno obuggya.” 21Bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bakeera mu matulutulu, ne bayingira mu Ssinzizo, ne bayigiriza. Awo Ssaabakabona n'abaali naye, ne bajja ne bayita olukiiko, wamu n'abantu bonna abakulu mu ggwanga lya Yisirayeli, ne batumya mu kkomera okuleeta abatume. 22Naye abaatumibwa mu kkomera ne batabasangamu. Ne baddayo ne babategeeza nti: 23“Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi, n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi, naye bwe tuliggudde, tetusanzeemu muntu n'omu.” 24Awo bakabona abakulu n'omukulu w'abakuumi b'Essinzizo, bwe baawulira ebyo, ne basoberwa. 25Ne wabaawo eyajja n'abategeeza nti: “Abasajja be mwaggalidde mu kkomera, baabali bali mu Ssinzizo bayigiriza.” 26Awo omukulu w'abakuumi n'agenda ne basajja be, ne baleeta mpolampola abatume, kubanga baatya abantu okubakuba amayinja. 27Bwe baabaleeta, ne babayimiriza mu maaso g'olukiiko. Ssaabakabona 28n'abagamba nti: “Twabalagira obutayigirizanga mu linnya lya Yesu. Naye kati mujjuzizza Yerusaalemu okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okututeekako omusango gw'okutta omuntu oyo.”#Laba ne Mat 27:25 29Kyokka Peetero n'abatume abalala ne baddamu nti: “Tuteekwa okuwulira Katonda okusinga okuwulira abantu. 30Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe, bwe mwamukomerera ku musaalaba. 31Oyo Katonda yamugulumiza, n'amutuuza ng'amuliraanye ku mukono gwe ogwa ddyo, nga ye Mukulembeze era Omulokozi, alyoke awe abantu ba Yisirayeli okwenenya n'okusonyiyibwa ebibi. 32Era ffe tukakasa ebyo, ffe ne Mwoyo Mutuukirivu, Katonda gwe yawa abo abamugondera.” 33Bwe baawulira ebyo, ne banyiiga nnyo, ne baagala okubatta. 34Naye Omufarisaayo erinnya lye Gamaliyeeli, omunnyonnyozi w'amateeka, assibwamu ekitiibwa abantu bonna, n'ayimirira mu lukiiko, n'asaba abatume bafulumizibwe mu lukiiko okumala akaseera. 35N'agamba banne nti: “Abasajja Abayisirayeli, mwegendereze kye mukola abantu bano. 36Mu nnaku eziyise, waasitukawo Tewuda ng'agamba nti ye muntu omukulu, era abasajja nga bikumi bina ne bamugoberera. Kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana. Ebibye ne bikoma. 37Oyo bwe yavaawo, ne wasitukawo Yuda Omugalilaaya, mu biseera eby'okubala abantu. N'afuna abagoberezi bangi. Oyo naye yazikirira era abagoberezi be ne basaasaana. 38Kale nno kaakano mbagamba nti muve ku bantu bano, mubaleke, kubanga ebyo bye bateekateeka ne bye bakola bwe biba nga bya bantu buntu, bijja kuggwaawo. 39Naye bwe biba nga bya Katonda, temusobola kubizikiriza. Era muyinza okwejjuukiriza nga mulwanagana na Katonda!” Olukiiko ne lugoberera amagezi ga Gamaliyeeli.
40Ne bayita abatume, ne babakuba. Ne babalagira obutaddamu kwogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata. 41Awo abatume ne bava mu lukiiko nga basanyuka olw'okusaanira okubonyaabonyezebwa olw'erinnya lya Yesu. 42Era buli lunaku, mu Ssinzizo ne mu maka, tebaayosanga kuyigiriza na kutegeeza bantu nti Yesu ye Kristo.

Currently Selected:

EBIKOLWA 5: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in