YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA 4

4
Peetero ne Yowanne
1Peetero ne Yowanne bwe baali bakyayogera n'ekibiina ky'abantu, bakabona n'omukulu w'abakuumi b'Essinzizo, wamu n'Abasaddukaayo, ne bajja gye bali. 2Baali banyiivu, kubanga abo bombi baali bayigiriza abantu nti Yesu yazuukira, kino nga kikakasa nti abafu bagenda kuzuukira. 3Ne bakwata Peetero ne Yowanne ne babateeka mu kkomera okutuusa ku lunaku olwaddirira, kubanga obudde bwali buwungedde. 4Kyokka bangi ku abo abaawulira ebigambo Peetero bye yababuulira, ne bakkiriza. Omuwendo gwabwe gwali abasajja ng'enkumi ttaano.
5Ku lunaku olwaddirira, abakulembeze b'Abayudaaya n'abantu abakulu mu ggwanga, awamu n'abannyonnyozi b'amateeka, ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemu. 6Baali ne Anna ne Kayaafa Ssaabakabona, ne Yowanne ne Alekizanda, wamu n'abalala ab'olulyo lwa Ssaabakabona. 7Ne balagira abatume okuyimirira mu maaso g'olukiiko, ne bababuuza nti: “Mwakozesa buyinza bw'ani, oba ani eyabasobozesa okuwonya omuntu ono?” 8Awo Peetero ng'ajjudde Mwoyo Mutuukirivu, n'abagamba nti: “Mmwe abafuzi, era nammwe abantu abakulu mu ggwanga, 9oba nga tubuuzibwa olw'ekikolwa ekirungi ekikoleddwa ku muntu abadde omulema, era ne ku ngeri gy'awonyezeddwamu, 10kale abantu ba Yisirayeli bonna, era nammwe mwenna musaana mumanye nti obuyinza bwa Yesu Kristo Omunazaareeti, mmwe gwe mwakomerera ku musaalaba, ate Katonda n'amuzuukiza, bwe buyimirizza omuntu ono wakati mu mmwe nga mulamu. 11Yesu ye oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Ejjinja mmwe abazimbi lye mwagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’#Laba ne Zab 118:22 12Ye yekka ye ayinza okulokola abantu, kubanga mu nsi yonna tewali mulala Katonda gwe yawa linnya liyinza kutulokola.”
13Bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yowanne, era bwe baategeera nti be bantu abaabulijjo era abatali bayigirize, ne beewuunya. Era ne bakizuula nga baali wamu ne Yesu. 14Ate bwe baalaba omuntu awonyezeddwa ng'ayimiridde wamu ne Peetero ne Yowanne, ne babulwa kye bagamba. 15Bwe baamala okubafulumya mu lukiiko, ne bateesa nga bagamba nti: 16“Tunaakola tutya abantu bano? Ekyewuunyo kye bakoze kimaze okumanyibwa abantu bonna ababeera mu Yerusaalemu, era tetuyinza kukigaana! 17Naye okukiziyiza okubuna, ka tuyite abasajja bano, tubakangise, baleme kweyongera kwogera na muntu n'omu mu linnya eryo.” 18Awo ne babayita ne babalagira obutaddayo kwogera, wadde okuyigiriza omuntu n'omu mu linnya lya Yesu. 19Peetero ne Yowanne ne babaddamu nti: “Mmwe muba musalawo ekisinga obulungi mu maaso ga Katonda, kuwulira Ye oba mmwe? 20Ffe tetuyinza butayogera ekyo kye twalaba era kye twawulira.” 21Awo ne beeyongera okubatiisatiisa ne babata, nga tebalaba bwe banaababonereza olw'okutya abantu, kubanga bonna baali nga batendereza Katonda olw'ekyo ekyakolebwa. 22Omusajja eyakolerwa ekyewuunyo ekyo eky'okuwonyezebwa, yali asussizza mu myaka amakumi ana.
Abakkiriza Yesu basaba Katonda abawe obuzira
23Peetero ne Yowanne bwe baateebwa, ne baddayo eri bannaabwe, ne bababuulira byonna bakabona abakulu, awamu n'abantu abakulu mu ggwanga bye babagambye. 24Bwe baabiwulira, ne beegatta wamu bonna, ne beegayirira Katonda nga bagamba nti: “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu,#Laba ne Kuv 20:11; Neh 9:6; Zab 146:6 25ku bwa Mwoyo Mutuukirivu wayogerera mu jjajjaffe Dawudi omuddu wo, n'ogamba nti:
‘Lwaki ab'amawanga amalala banyiize?
Era lwaki abantu
balowooza ebitaliimu?#Laba ne Zab 2:1-2
26Bakabaka b'ensi beeteekateeka,
n'abafuzi baakuŋŋaana wamu,
okulwanyisa Mukama Katonda
ne Kristo we.’
27“Ddala Herode ne Pontiyo Pilaato awamu n'abantu ba Yisirayeli n'ab'amawanga amalala baakuŋŋaanira mu kibuga muno, okulwanyisa Yesu Omuweereza wo omutuukirivu, gwe wafuula Kristo.#Laba ne Mat 27:1-2; Mak 15:1; Luk 23:1,7-11; Yow 18:28-29 28Ne batuukiriza ekyo, ggwe kye wateekateeka mu buyinza bwo, nga bwe wayagala.
29“Kale kaakano Mukama, laba okutiisatiisa kwabwe. Wa abaweereza bo, boogere ekigambo kyo n'obuvumu. 30Golola omukono gwo owonye, era n'ebyamagero bikolebwe mu linnya ly'Omuweereza wo omutuukirivu Yesu.”
31Bwe baamala okwegayirira Katonda, ekifo kyonna mwe baali bakuŋŋaanidde, ne kikankana. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Abakkiriza baakozesezanga wamu ebintu byabwe
32Ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, kyalina omutima gumu n'emmeeme emu. Tewaali n'omu yagambanga nti ekintu ky'alina kikye yekka, wabula byonna bye baalina byabanga byabwe wamu.#Laba ne Bik 2:44-45 33Abatume ne bakakasa n'amaanyi mangi okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu, era bonna Katonda n'abayambanga nnyo. 34Bonna baafunanga bye beetaaganga, kubanga abaabanga n'ennimiro oba ennyumba baazitundanga, ensimbi ezaavangamu 35ne bazireetera abatume, ne bagabira buli muntu nga bwe yeetaaganga. 36Ne Yosefu Omuleevi eyazaalibwa e Kipuro, abatume gwe baakazaako erya Barunaba (amakulu gaalyo nti “Azzaamu abantu amaanyi”), 37n'atunda ennimiro ye, ensimbi ezaavaamu n'azitwala n'azikwasa abatume.

Currently Selected:

EBIKOLWA 4: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in