1
EBIKOLWA 4:12
Luganda Bible 2003
Ye yekka ye ayinza okulokola abantu, kubanga mu nsi yonna tewali mulala Katonda gwe yawa linnya liyinza kutulokola.”
Compare
Explore EBIKOLWA 4:12
2
EBIKOLWA 4:31
Bwe baamala okwegayirira Katonda, ekifo kyonna mwe baali bakuŋŋaanidde, ne kikankana. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Explore EBIKOLWA 4:31
3
EBIKOLWA 4:29
“Kale kaakano Mukama, laba okutiisatiisa kwabwe. Wa abaweereza bo, boogere ekigambo kyo n'obuvumu.
Explore EBIKOLWA 4:29
4
EBIKOLWA 4:11
Yesu ye oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti: ‘Ejjinja mmwe abazimbi lye mwagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’
Explore EBIKOLWA 4:11
5
EBIKOLWA 4:13
Bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yowanne, era bwe baategeera nti be bantu abaabulijjo era abatali bayigirize, ne beewuunya. Era ne bakizuula nga baali wamu ne Yesu.
Explore EBIKOLWA 4:13
6
EBIKOLWA 4:32
Ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, kyalina omutima gumu n'emmeeme emu. Tewaali n'omu yagambanga nti ekintu ky'alina kikye yekka, wabula byonna bye baalina byabanga byabwe wamu.
Explore EBIKOLWA 4:32
Home
Bible
Plans
Videos