1
EBIKOLWA 3:19
Luganda Bible 2003
Kale nno mwenenye, mudde eri Katonda, ebibi byammwe bisonyiyibwe
Compare
Explore EBIKOLWA 3:19
2
EBIKOLWA 3:6
Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi sirina n'akatono, naye kye nnina kye nnaakuwa. Mu linnya lya Yesu Omunazaareeti nkulagira, tambula.”
Explore EBIKOLWA 3:6
3
EBIKOLWA 3:7-8
Awo n'amukwata ku mukono gwe ogwa ddyo, n'amuyimusa. Amangwago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi. N'agolokoka mangu, n'ayimirira, n'atambula, n'ayingira nabo mu Ssinzizo, ng'atambula, ng'abuuka, era ng'atendereza Katonda.
Explore EBIKOLWA 3:7-8
4
EBIKOLWA 3:16
Obuyinza bwa Yesu oyo bwe buwadde amaanyi omuntu ono gwe mulaba era gwe mumanyi, era okwesiga Yesu kwe kuleetedde omuntu ono okuwonera ddala nga mwenna bwe mulaba.
Explore EBIKOLWA 3:16
Home
Bible
Plans
Videos