Peetero n'amubuuza nti: “Ananiya, lwaki wakkirizza Sitaani okufuga omutima gwo, n'olimba Mwoyo Mutuukirivu nga weeterekera ezimu ku nsimbi ze wafuna mu nnimiro? Bwe wali tonnagitunda teyali yiyo? Era n'ensimbi ze wafunamu tezaali mu buyinza bwo? Kale lwaki wateesezza mu mutima gwo okukola ekintu ekifaanana bwe kityo? Tolimbye bantu, wabula olimbye Katonda.” Ananiya olwawulira ebyo, n'agwa n'afiirawo. Bonna abaakiwulira ne bajjula entiisa.