Luk 14
14
1Ku Sabbaato emu yayingira mu nnyumba y'omukulu w'Abafarisaayo omu okulya emmere; bo ne bamwekaliriza. 2Mu maaso ge awo waaliwo alwadde entumbi. 3Awo Yezu n'ayogera n'abayigiriza b'amateeka n'Abafarisaayo, n'agamba nti: “Kisaanye okuwonya ku Sabbaato, nandiki?” 4Bo ne basirika busirisi. Ye n'amukwata, n'amuwonya, n'amusiibula. 5#Mat 2,11.Awo n'abagamba nti: “Ani mu mmwe alina endogoyi oba ente, n'egwa mu luzzi, atagiggyamu mangu ago newandibadde ku Sabbaato?” 6Ne batabaako kye bayinza kumwanukula.
Ku bwetoowaze
7Abayitiddwa ku mbaga, bwe yalaba nga bagobereza ebifo eby'ekitiibwa, n'abagerera olugero, n'abagamba nti: 8#Eng 25,6-7.“Bw'obanga oliko akuyise ku mbaga y'obugole, totuulanga mu kifo kisinga kitiibwa, sikulwa nga waliwo omulala gw'ayise akusinga ekitiibwa, 9oli eyabayise mwembi n'ajja akugamba nti: ‘Segulira ono mu kifo,’ olwo n'odda mu kifo eky'ennyuma ng'osonyiwadde. 10Bw'oyitibwanga, ogendanga n'otuula mu kifo eky'emabega, oli eyakuyita ng'azze alyoke akugambe nti: ‘Munnange, weyongereyo waggulu,’ olwo n'ofuna ekitiibwa mu maaso ga bonna abatudde naawe. 11#Mat 23,12; Luk 18,14.Kubanga buli eyeekuza alitoowazibwa, na buli eyeetoowaza, aligulumizibwa.”
Ab'okuyita ku bijjulo abatuufu
12Awo n'agamba oli eyali amuyise nti: “Bw'ofumbanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, oba baganda bo, oba abeŋŋanda zo, yadde baliraanwa bo abagagga, oboolyawo nabo ne bakuyita ne bakuddiza bwe batyo. 13Wabula ggwe bw'ofumbanga embaga, oyitanga baavu, balema, bakateeyamba, bamuzibe, 14lw'olibeera n'omukisa, kubanga bano tebayinza kukuddiza. Oliddizibwa ku kuzuukira kw'abatuukirivu.”
Abayite ku mbaga abeebalankanya
15 #
Mat 22,1-10. Awo omu ku baali batudde okulya, bwe yawulira ebyo, n'amugamba nti: “Yeesiimye alirya emmere mu bwakabaka bwa Katonda.” 16Naye ye n'amugamba nti: “Omuntu omu yafumba embaga nnene, n'ayita bangi. 17Obudde obw'embaga bwe bwatuuka, n'atuma omuweereza we agambe abayitiddwa nti: ‘Mujje, byonna biwedde okuteekateeka.’ 18Buli omu okufaanana munne ne basooka okuwampanya; eyasooka n'amugamba nti: ‘Naguze ennimiro; nnina okugenda okugirambula; nkwegayiridde, mala gansonyiwa.’ 19Omulala n'agamba nti: ‘Naguze emigongo gy'ente ezirima etaano, ŋŋenda kugigeza; nkwegayiridde, mala gansonyiwa.’ 20Omundi n'agamba nti: ‘Nawasizza omukazi; olw'ekyo siyinza kujja.’ 21Omuweereza n'ajja, ebyo n'abibuulira mukama we. Ssemaka mu busungu n'agamba omuweereza we nti: ‘Genda mangu mu nguudo ne mu nkuubo z'ekibuga, oyingize wano abaavu, abalema, bamuzibe ne bakateeyamba.’ 22Omuweereza n'agamba nti: ‘Ssebo, nkoze nga bwe walagidde, naye era ekifo kikyaliwo.’ 23Mukama we n'agamba omuweereza we nti: ‘Genda ku makubo ne ku bukubo obawalirize okuyingira, ennyumba yange ejjule. 24Kyokka ka mbabuulire; ku basajja abo ababadde bayitiddwa, mpaawo anaakomba ku mbaga yange.’ ”
Okweresa olw'okugoberera Kristu
25Ebibiina binene byali bitambula wamu naye, n'akyukira gye biri, n'abigamba nti: 26#Mat 10,37-39.“Oli bw'ajja #Mat 10,37.gye ndi n'amala takyawa kitaawe na nnyina, na mukazi we, na baana be, na baganda be, na bannyina, newandibadde obulamu bwe bwennyini, tayinza kubeera muyigirizwa wange. 27#Mat 10,38; 16,24; Mar 8,34; Luk 9,23.N'oli ateetikka musaalaba gwe n'angoberera, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
28“Ani mu mmwe ng'ayagala okuzimba omunaala, atasooka kutuula n'abalirira muwendo oguligendako alabe oba alina eby'okugumaliriza? 29Sikulwa ng'amala okuyiwa omusingi, n'alemwa okumaliriza; bonna abagulaba ne bamusekerera, nga bagamba nti: 30‘Omuntu nno yatandika okuzimba, n'atayinza kumaliriza.’ 31Oba kale, kabaka ki ayagala okutabaala kabaka omulala, atasooka kutuula ne yeebuuza oba ayinza okutalira oli amujjira n'abantu obukumi obubiri, sso ye ng'alina kakumi kamu. 32Obanga taasobole, oli ng'akyali wala ddala n'amutumira ababaka bateesaganye emirembe. 33Bwe kityo nno buli muntu mu mmwe ataleka byonna by'alina, tayinza kubeera muyigirizwa wange.
34 #
Mat 5,13; Mar 9,50. “Omunnyo mulungi; naye omunnyo bwe gusaabulukuka, gunaalungwa naki? 35Guba tegukyagasa ttaka wadde olubungo, bagusuula eri. Alina amatu agawulira, awulire.”
Engero eziyigiriza ku kisa kya Katonda
Currently Selected:
Luk 14: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.