YouVersion Logo
Search Icon

Luk 13

13
1Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamunyumiza ku Bagalilaaya omusaayi gwabwe Pilato gwe yatabula n'ebitambiro byabwe. 2N'ayanukula nti: “Mulowooza nti Abagalilaaya abo ekyo okubagwako kityo be baali aboonoonyi okusinga Abagalilaaya abalala bonna? 3Nze mbagamba nti si bwe kiri; kyokka bwe muteenenya, nammwe bwe mutyo bwe mulizikirira mwenna. 4Na bali ekkumi n'omunaana omunaala gw'e Silowamu be gwagwira ne gubatta, mulowooza nti be baali basingayo obwonoonyi mu bantu bonna abasula mu Yeruzaalemu? 5Nze mbagamba nti si bwe kiri; kyokka bwe muteenenya, nammwe bwe mutyo bwe mulizikirira mwenna.”
Omukunyu ogutabala
6Awo n'aleeta olugero luno nti: “Waaliwo omuntu ng'alina omukunyu mu nnimiro ye ey'emizabbibu; yagendanga n'anoonyaako ebibala, nga tasangako. 7Kwe kugamba omulimi w'ennimiro eyo nti: ‘Laba kati gino emyaka esatu nga nzija ne nnoonya ekibala ku mukunyu guno, naye sisangako kantu. Guteme nno, guliira ki ettaka ery'obwereere!’ 8Naye oli n'ayanukula n'amugamba nti: ‘Ssebo, guleke, ne mu mwaka guno; ka ngutemeretemere, nteekeko n'obusa. 9Bwe gunaabala omwaka ogujja, awo kale; bwe gutaabale, oyinza okugutema.’ ”
Omubendufu w'omugongo awonyezebwa
10Yali ayigiriza mu sinaagooga emu ku Sabbaato, 11waaliwo omukazi eyali alina omwoyo ogw'obuyongobevu okumala emyaka kkumi na munaana; yali abenduse omugongo nga tayinza kwesimba n'akatono. 12Yezu bwe yamulaba, n'amuyita, n'amugamba nti: “Mukazi wattu, osumuluddwa mu buyongobevu bwo.” 13N'amussaako omukono, amangu ago ne yeesimba, n'atendereza Katonda. 14#Okuv 20,9-10; Et 5,13-14.Omukulu wa sinaagooga n'anyiiga olw'okubanga Yezu amuwonyezza ku Sabbaato; n'agamba ekibiina nti: “Ennaku ezigwanidde okukolerwamu emirimo ziri mukaaga; mujjenga mu ezo muwonyezebwe; naye temujjanga ku Sabbaato.” 15Omukama n'amwanukula, n'agamba nti: “Bakuusa mmwe! Buli omu mu mmwe tayimbula nte ye oba ndogoyi ye ku mmanvu yaayo ku Sabbaato n'agitwala okunywa? 16Kale omukazi ono muwala wa Yiburayimu, Sitaani gw'asibidde emyaka ekkumi n'omunaana emiramba, abadde tasaanye kutemwa mu nvuba ezo ku Sabbaato?” 17Bwe yayogera ebyo abaali bamuvunaana ne bakwatibwa ensonyi; abantu bonna ne basanyuka olw'ebyettendo bye yali akola.
Empeke ya kaladaali
18 # Mat 13,31lud; Mar 4,30-32. Awo kwe kugamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana ki? Nnaabugeranya ku ki? 19Bufaanana ng'empeke ya kaladaali omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye; yakula n'efuuka omuti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo.”
Ekizimbulukusa
20 # Mat 13,33. Era n'agamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda nnaabugeranya ku ki? 21Bufaanana ng'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akitabula mu bipimo by'obutta bisatu okutuusa bwonna lwe bwazimbulukuka.”
Omuzigo omufunda
22N'ayongera olugendo lwe mu maaso ng'ayita mu byalo ne mu bibuga ng'ayigiriza, nga bw'alaga e Yeruzaalemu. 23Ne wajjawo omu n'amubuuza nti: “Mukama, abalirokoka be batono?” Yezu n'abagamba nti: 24“Mwefubirire okuyingirira mu muzigo omufunda; kubanga, ka mbabuulire, bangi baligeza okuyingira ne batasobola. 25Olwo nnannyinimu bw'alisituka n'aggala oluggi, mmwe mulitandika okuyimirira ebweru n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti: ‘Mukama, tuggulirewo.’ Alibaddamu nti: ‘Simanyi gye muva!’ 26Olwo mulitandika okugamba nti: ‘Twaliiranga ne tunywera mu maaso go, era wayigirizanga mu mbuga zaffe.’ 27#Zab 6,9.Ye alibagamba nti: ‘Mbagamba, simanyi gye muva! Munnyamuke mwenna abakozi b'obubi.’ 28#Mat 22,13; 25,30.Eyo walibaayo #Mat 8,11-12.okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo n'abalanzi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, ate nga mmwe mugobeddwa ebweru. 29Abantu baliva ebuvanjuba n'ebugwanjuba, baliva emambuka n'emaserengeta, ne batuula ku mbaga mu bwakabaka bwa Katonda. 30#Mat 19,30; 20,16; Mar 10,31.Kale mulabe: waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, ate n'ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.”
Erode ayitibwa ekibe
31Mu ssaawa eyo yennyini Abafarisaayo abamu bajja gy'ali ne bamugamba nti: “Dduka ove wano, kubanga Erode ayagala kukutta.” 32Ye n'abagamba nti: “Mugende mugambe ekibe ekyo nti: ‘Nzuuno olwa leero n'enkya ngoba emyoyo emibi ne mponya n'endwadde; olw'essatu ne mmaliriza omulimu gwange. 33Kyokka olwa leero n'enkya n'oluddirira sirema kutambula, kubanga omulanzi tayinza kufiira bweru wa Yeruzaalemu.’
Yeruzaalemu avumirirwa
34 # Mat 23,37-39. “Yeruzaalemu, Yeruzaalemu, ggwe atta abalanzi n'abakutumirwa n'obakuba amayinja! Emirundi emeka gye nayagala okukuŋŋaanya abaana bo ng'enkoko bw'ekumiriza obwana bwayo wansi w'ebiwaawaatiro byayo, n'otaganya! 35#Zab 118,27; Yer 22,5.Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa ttayo. Ka mbabuulire, temulindaba okutuusa lwe muligamba nti: ‘Atenderezebwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama.’ ”
Ow'entumbi awonyezebwa

Currently Selected:

Luk 13: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in