YouVersion Logo
Search Icon

Yow 8

8
1Ye Yezu n'alaga ku Lusozi lw'Oliva; 2mu makya n'adda mu Kiggwa. Abantu bonna ne bajja gy'ali, n'atuula n'abayigiriza. 3Abawandiisi n'Abafarisaayo ne bamuleetera omukazi eyakwatirwa mu bwenzi, ne bamussa wakati, 4ne bamugamba nti: “Muyigiriza, omukazi ono akwatiddwa kaakano mu kikolwa eky'obwenzi. 5#Abal 20,10; Et 22,22-24.Kati nno Musa mu tteeka yatulagira ow'engeri eyo okumukuba amayinja. Kale ggwe ogamba ki?” 6Ekyo baakyogera kumukema bukemi bafunewo ensonga ey'okumuwawaabira. Yezu n'akutama, n'awandiika ku ttaka n'olunwe lwe. 7Kubanga baali tebatadde kumuteeteza, n'akutaamulukuka, n'abagamba nti: “Mu mmwe ataliiko kibi y'aba asooka okumukasuukirira ejjinja.” 8N'addamu okukutama, era n'awandiika ku ttaka. 9Bwe baawulira ekyo, ne beeseebulula kinnoomu nga basookera ku basinga obukulu. Yezu n'asigala yekka ng'omukazi ayimiridde awo. 10Yezu n'akutaamulukuka, n'amugamba nti: “Mukazi, baluwa? Tewali akusalidde musango?” 11Omukazi n'agamba nti: “Ssebo, tewali.” Yezu n'agamba nti: “Nange sijja kukusalira musango; genda, naye koma okwo, n'okuva kati togezanga kwonoona.”
C. OKUWAKANYIZIBWA ABAYUDAAYA
Yezu yeejulira
12 # Mat 5,14; Yow 9,5. Era Yezu n'ayongera okwogera nabo, n'agamba nti: “Nze kitangaala ky'ensi; angoberera tatambulira mu kizikiza; alibeera n'ekitangaala eky'obulamu.”
13 # 5,13. Abafarisaayo ne bamugamba nti: “Ggwe weejulira wennyini; okujulira kwo si kwa mazima.” 14Yezu n'abaddamu nti: “Newandibadde neejulira nzennyini, okujulira kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nsibuka ne gye ndaga; sso mmwe temumanyi gye nva na gye ndaga. 15Mmwe mulamula ng'abantu, naye nze siriiko gwe nnamula. 16Singa mba nnamudde, ensala yange eba ya mazima, kubanga siba bw'omu nga nnamula, wabula tuba nze n'oyo eyantuma. 17Ne mu tteeka lyammwe baawandiika nti: ‘Obujulizi bw'ababiri buba bwa mazima.’ 18Nze neejulira nzennyini, ate ne Taata eyantuma anjulira.” 19Awo ne bamugamba nti: “Kitaawo ali luuyi wa?” Yezu n'abaddamu nti: “Nange temummanyi ne Kitange temumumanyi; muba kummanya, ne Kitange mwandimumanye.” 20Ebigambo bino Yezu yabyogerera mu kifo ky'eggwanika bwe yali ng'ayigiriza mu Kiggwa; tewaali n'omu amukwata, kubanga akadde ke kaali tekannatuuka.
Yezu ayongera okwogera ku buvo n'obuddo bwe
21Yezu ate n'abagamba nti: “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu kibi kyammwe; gye ŋŋenda temuyinza kujjayo.” 22Abayudaaya ne bagamba nti: “Agenda kwetta, anti agambye nti: ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.’ ” 23Yezu n'abagamba nti: “Mmwe muli ba wansi, nze ndi wa waggulu. Mmwe muli ba mu nsi eno, nze siri wa mu nsi eno. 24Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu kibi kyammwe.” 25Ne bamugamba nti: “Ggwe ani?” Ye n'abagamba nti: “Ky'ekyo kye mbadde mbagamba okuva olubereberye.#8,25 Oba: Ye lwaki nandyogedde nammwe? oba: Ky'ekyo kye mbagamba. 26Nnina bingi eby'okuboogerako n'eby'okubalamulamu; ye oli eyantuma wa mazima, nange bye naggya gy'ali bye mbuulira ensi.” 27Ne batategeera nga yali ababuulira ku Taata. 28Yezu n'abagamba nti: “Bwe muliba mumaze okuwanika Omwana w'Omuntu, olwo lwe mulitegeera nga nze wuuyo; era nga sikola bintu ku bwange, wabula nga njogera ebyo nga Taata bwe yanjigiriza. 29Oli eyantuma ali nange, tandese bw'omu, kubanga bulijjo nkola ebyo ebimusanyusa.”
Bazzukulu ba Yiburayimu aba nnamaddala
30Bwe yayogera ebyo, bangi ne bamukkiriza. 31Abayudaaya abaamukkiriza Yezu n'abagamba nti: “Bwe mulinywerera ku kigambo kyange, mulibeera bayigirizwa bange ddala; 32#2 Kor 3,17; Gal 5,1.mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ab'eddembe.” 33#Mat 3,9; Luk 3,8.Bo ne bamuddamu nti: “Tuli bazzukulu ba Yiburayimu, tetubeerangako baddu ba muntu; lwaki ogamba nti: ‘Muliba ba ddembe’?” 34Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambira ddala mazima nti buli akola ekibi, abeera muddu wa kibi. 35Omuddu taba wa lubeerera mu nnyumba; omwana ye aba wa lubeerera. 36Omwana bw'aliba abanunudde, mulibeerera ddala ba ddembe. 37Mmanyi nga muli bazzukulu ba Yiburayimu, sso munoonya okunzita, kubanga ekigambo kyange tekirina kifo mu mmwe. 38Nze njogera kye nalaba ewa Kitange; nammwe mukola kye mwalaba ewa kitammwe.”
39Bo ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Yiburayimu.” Yezu n'abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Yiburayimu, mwandikoze nga Yiburayimu. 40Naye kaakano mwagala okunzita, nze omuntu ababuulidde amazima ge naggya ewa Katonda; ekyo Yiburayimu si kye yakola. 41Mukola kitammwe kye yakola.” Bo ne bamugamba nti: “Ffe tetuzaalibwanga mu bukaba, tulina Kitaffe omu, Katonda.” 42Yezu n'abagamba nti: “Katonda aba kubeera Kitammwe, nange mwandinjagadde, kubanga nze nasibuka mu Katonda era mwe nava; sajja ku bwange nzekka, wabula ye ye yantuma. 43Lwaki temutegeera kye ŋŋamba? Kubanga temwetegese kuwulira kigambo kyange. 44Mmwe muva mu kitammwe Sitaani; kitammwe bye yeegomba bye mwagala okukola. Ye okuviira ddala mu masooka mutemu, amazima tagaliiko, kubanga mu ye temuli mazima n'akamu. Bw'alimba aba agoberedde enkula ye, kubanga ye mulimba era ye kitaawe w'obulimba. 45Kubanga njogera mazima, kyemuva mutanzikiriza. 46Mu mmwe ani annumiriza ekibi? Bwe mbabuulira amazima, lwaki temunzikiriza? 47Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Mmwe nno kyemuva mulema okuwulira ebigambo bya Katonda kubanga temuli ba Katonda.”
Yezu ne Yiburayimu
48 # 7,20; 10,20; 4,9. Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamariya, olimu n'omwoyo omubi?” 49Yezu n'addamu nti: “Nze siriimu mwoyo mubi; Kitange gwe mpa ekitiibwa; naye mmwe temumpa kitiibwa. 50Nze seenoonyeza kitiibwa; akinnoonyeza w'ali era y'alamula. 51Mbagambira ddala mazima nti buli alikwata ekigambo kyange, taliraba ku lumbe emirembe gyonna.” 52Abayudaaya ne bagamba nti: “Kati tutegeeredde ddala ng'olimu omwoyo omubi; kale Yiburayimu yafa, n'abalanzi baafa, ate ggwe ogamba nti: ‘Buli akwata ekigambo kyange, taliraba ku lumbe emirembe gyonna.’ 53Kazzi ggwe mukulu okusinga kitaffe Yiburayimu eyafa? N'abalanzi baafa. Ggwe weeyita ani?” 54Yezu n'addamu nti: “Singa nze neegulumiza nzekka, ekitiibwa kyange temwandibadde kantu; Kitange y'angulumiza, mmwe gwe muyita Katonda wammwe, 55sso nga temumumanyi na kumumanya. Naye nze mmumanyi; singa ŋŋamba nti simumanyi, nandibadde mulimba nga mmwe; naye nze mmumanyi n'ekigambo kye nkikwata. 56Kitammwe Yiburayimu yasagambiza olw'okulowooza ng'aliraba olunaku lwange; yalulaba n'asanyuka.” 57Abayudaaya ne bamugamba nti: “Tonnaweza myaka ataano, n'oba nga walaba Yiburayimu?” 58Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambira ddala mazima nti Yiburayimu yali tannabaawo, nze nga wendi.”#8,58 Yezu akozesa ebigambo ebimwenkanyankanya ne Katonda, nga Omukama bwe yabigamba Musa ku kisaka ku lusozi Korebu, laba Okuv 3,4. 59Awo ne bakwata amayinja okugamukasuukirira; naye Yezu ne yeekweka, n'ava mu Kiggwa.
Eyazaalibwa nga muzibe awonyezebwa

Currently Selected:

Yow 8: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in