YouVersion Logo
Search Icon

Yow 9

9
1Yezu bwe yali ayitaayita, n'alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe. 2Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Rabbi, ono okuzaalibwa nga muzibe ani yayonoona, ye nandiki bazadde be?” 3Yezu n'addamu nti: “Ono tayonoonanga newandibadde bazadde be, naye gwaba gutyo ebikolwa bya Katonda biryoke byolekebwe mu ye. 4Ffe tetulema kukola mirimo gy'oyo eyantuma ng'obudde bukyali misana; ekiro kijja omuntu ky'atayinza kukoleramu. 5#Mat 5,14; Yow 8,12.Nga nkyali mu nsi, ndi kitangaala kyayo.” 6Bwe yasirissa ebyo, n'awanda ku ttaka, n'akolamu obudongo n'amalusu, n'asiiga obudongo ku maaso ge, 7n'amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky'e Silowamu,” ekivvuunulwa nti 'Atumiddwa'. Ye n'agenda, n'anaaba, n'adda ng'alaba. 8Ab'omuliraano n'abalala abaamulabanga ng'asabiriza ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyatuulanga ng'asabiriza?” 9Abamu ne bagamba nti: “Ye wuuwo,” ko abalala nti: “N'akatono, mpozzi amufaanana bufaananyi.” 10Naye ye n'agamba nti: “Ye nze.” Ne bamugamba nti: “Amaaso gaazibuse gatya?” 11Ye n'addamu nti: “Omusajja oli ayitibwa Yezu yakoze obudongo n'abusiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne ndaba.” 12Ne bamugamba nti: “Ali luuyi wa?” Ye n'abagamba nti: “Simanyi.”
Abafarisaayo bakemekkereza eyawonyezebwa
13Awo eyali muzibe ne bamutwala eri Abafarisaayo. 14Kati nno Yezu lwe yakola obudongo n'azibula amaaso ge lwali lwa Sabbaato. 15Abafarisaayo nabo era ne bamubuuza nga bwe yazzeemu okulaba. N'abagamba nti: “Yantadde obudongo ku maaso, ne nnaaba, ne ndaba.” 16Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata Sabbaato.” Abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola obubonero ng'obwo?” Ne bajjamu enjawukana. 17Awo era ne bagamba eyali muzibe nti: “Oyo omugambako ki nga bwe yakuzibudde amaaso?” Ye n'abagamba nti: “Mulanzi.”
18Abayudaaya ne batakkiriza ng'omuntu oyo yali muzibe n'alaba okutuusa nga batumizza bazadde b'eyali afunye okulaba. 19Ne bababuuza nti: “Ono ye mutabani wammwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kati alaba atya?” 20Abazadde be ne babaddamu nti: “Tumanyi ng'ono mutabani waffe, era nga yazaalibwa muzibe; 21naye okuba nga kati alaba, tetukimanyi; n'eyamuzibudde amaaso ffe tetumumanyi. Mumubuuze, anti mukulu; ajja kweyogerera.” 22#Luk 6,22; Yow 7,13; 12,42.Bazadde be baayogera batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali beekobye okugoba mu sinaagooga buli muntu eyandimwatudde nti ye Kristu. 23Bazadde be kyebaava bagamba nti: “Mukulu; mumwebuulize.”
24Awo eyali muzibe kwe kumuyita ogwokubiri ne bamugamba nti: “Wa Katonda ekitiibwa. Ffe tumanyi ng'omuntu oyo mwonoonyi.” 25N'abagamba nti: “Oba mwonoonyi, simanyi; mmanyi kimu nti nze nali muzibe, naye kaakano ndaba.” 26Ne bamugamba nti: “Yakukozeeko ki? Yakuzibudde atya amaaso?” 27N'abaddamu nti: “Namaze dda okubategeeza, ne mutaagala kuwulira; mwagalira ki ate okuwulira ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?” 28Awo ne bamuvuma, ne bagamba nti: “Ggwe muyigirizwa we, naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa. 29Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa; naye ono omusajja tetumanyi gy'ava.” 30Omusajja n'addamu nti: “Kino kyewuunyisa! Temumanyi gy'ava, sso nga yanzibudde amaaso. 31Ate tumanyi nga Katonda tawulira boonoonyi, wabula omuntu bw'atya Katonda, n'atuusa by'ayagala, oyo Katonda amuwulira. 32Okuva edda n'edda tebawuliranga ng'omuntu yazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe. 33Singa omuntu ono abadde tava wa Katonda, teyandibaddeko ky'akola.” 34Ne bamuddamu nti: “Wazaalibwa mu bibi wenna, ggwe onooyigiriza ffe?” Ne bamugobera ebweru.
Yezu yeeyoleka eyali muzibe
35Yezu n'awulira nga bamugobedde ebweru; bwe yamusanga, n'amugamba nti: “Okkiriza Omwana w'Omuntu?”#9,35 Oba: Omwana wa Katonda. 36N'addamu nti: “Ssebo, ye ani ndyoke mmukkirize?” 37Yezu n'amugamba nti: “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.” 38N'agamba nti: “Mukama, nzikiriza;” n'amusinza. 39Yezu n'agamba nti: “Najja mu nsi eno kulamula; abatalaba balabe, n'abalaba bafuuke bamuzibe.” 40Abamu ku Bafarisaayo abaali awo naye ne bawulira, ne bamugamba nti: “Kazzi naffe tuli bamuzibe?” 41Yezu n'abagamba nti: “Muba kubeera bamuzibe, temwandibadde na musango, naye kaakano kubanga mugamba nti: ‘Tulaba,’ omusango gwammwe gusigalawo.”
Omusumba omulungi: atali mubbi oba omunyazi

Currently Selected:

Yow 9: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in