YouVersion Logo
Search Icon

Yow 10

10
1“Mbagambira ddala mazima nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, n'awalampa ayingirire awalala, omuntu oyo mubbi, munyazi; 2naye ayita mu mulyango, ye musumba w'eggana. 3Omuggazi amuggulirawo, n'endiga ze ziwulira eddoboozi lye; endiga ze ezo aziyita amannya gaazo kinneemu, n'azifulumya. 4Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulemberamu, endiga ne zimugoberera; kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5Ow'ebweru tezimugoberera; zimudduka buddusi, kubanga tezimanyi ddoboozi lya bantu b'ebweru.” 6Yezu yabagerera olugero olwo; naye bo tebaategeera ky'abagambye.
7Yezu n'ayongera okubagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti nze mulyango gw'endiga. 8Bonna abansooka okujja babbi, banyazi; n'endiga tezaabawulira. 9Nze mulyango; oli bw'ayingirira mu nze alirokoka; aliyingira n'afuluma, n'asanga eddundiro. 10Omubbi taliiko ky'ajjirira kirala wabula okubba n'okutemula n'okuzikiriza; naye nze nzize zifune obulamu, ate zibufune mu bujjuvu.
Omusumba omulungi: atalundira mpeera
11“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe okubeera endiga ze. 12Akolerera empeera, atali musumba yennyini, endiga nga si zize ku bubwe, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka awo n'adduka; omusege ne gulumba endiga ne guzibunya emiwabo. 13Kyava adduka, kubanga akolerera mpeera, endiga tazeeraliikirira. 14Nze musumba omulungi; mmanyi ezange n'ezange zimmanyi, 15#Mat 11,27; Luk 10,22.kyenkana nga Taata bw'ammanyi nange bwe mmanyi Taata; mpaayo n'obulamu bwange okubeera endiga zange. 16Nninayo n'endiga endala ezitali mu kisibo kino; era nazo sirema kuzireeta; ziriwulira eddoboozi lyange. Olwo eggana liribeera limu n'omusumba omu. 17Taata kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize ate. 18Tewali abunzigyako, wabula nze mbuwaayo ku bwange. Nnina obuyinza obw'okubweddiza. Ekiragiro ekyo nakiggya wa Taata.”
19Empaka ne zisituka buto mu Bayudaaya olw'okubeera ebigambo ebyo, 20kubanga bangi mu bo baagambanga nti: “Alimu omwoyo omubi, mulalu n'obulalu; ye lwaki mumuwuliriza?” 21Abalala ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo si bya muntu akwatiddwa omwoyo omubi; omwoyo omubi guyinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Yezu ayatula bw'ali Omwana wa Katonda
22E Yeruzaalemu yali mbaga nkulu ya Kutukuzibwa,#10,22 Kwe kugamba nti okutukuzibwa kw'Ekiggwa. 23bwali budde bwa mpewo; Yezu yali ng'atambulatambula mu Kiggwa, mu kisasi kya Solomoni. 24Awo Abayudaaya ne bamwebungulula, ne bamugamba nti: “Olituusa wa okutwewanisa emitima? Obanga ggwe Kristu, tubuulire ddala kyere.” 25Yezu n'abaddamu nti: “Mbabuulidde naye temukkiriza; ebikolwa bye nkola mu linnya lya Kitange bye binjulira; 26temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27Endiga zange zo ziwulira eddoboozi lyange; nze nzimanyi, nazo zingoberera, 28era nze nziwa obulamu obutaggwaawo. Tezigenda kuzikirira emirembe gyonna, era tewaliba ayinza kuzinzigya mu mikono. 29Kitange, oyo eyazimpa, akira byonna; era tewali ayinza kuziggya mu mikono gya Taata; 30nze ne Taata tuli omu.”
31Abayudaaya ne bakwata amayinja okugamukasuukirira. 32Yezu n'abaddamu nti: “Nabalaga ebikolwa ebirungi bingi okuva ewa Taata; kikolwa ki ku ebyo kye munnanga okunkuba amayinja?” 33#Abal 24,16.Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Okukukuba amayinja tetukulanga kikolwa kirungi, tukulanga kuvuma Katonda; kubanga ggwe omuntu obuntu weefuula Katonda.” 34#Zab 82,6.Yezu n'abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti: ‘Nze nagamba nti: Muli bakatonda’? 35Kale nno oba abo ekigambo kya Katonda be kyabuulirwa bayitibwa bakatonda, ate Ebiwandiiko Ebitukuvu tebiyinza kujjulukuka, 36olwo mmwe ate ne mugamba ku oyo Taata gwe yatukuza nti avumye Katonda, kubanga ŋŋambye nti: ‘Ndi mwana wa Katonda’? 37Obanga sikola bikolwa bya Kitange, mulekeyo okunzikiriza. 38Naye oba mbikola, nga nze temwagala kunzikiriza, byo ebikolwa mubikkirize, lwe munaamanya ne mutegeera nti Taata ali mu nze nange ndi mu Taata.” 39Era baali baagala okumukwata, naye ye ne yeesumattula mu ngalo zaabwe.
Yeewogomako emitala wa Yorudani
40 # 1,28. Ate n'addayo emitala wa Yorudani mu kifo Yowanna mwe yasookera okubatiza, n'asigala eyo. 41Bangi ne bajja gy'ali. Baagambanga nti: “Yowanna kituufu teyakolayo kabonero na kamu, naye byonna Yowanna bye yayogera ku ono byali bya mazima.” 42Eyo bangi ne bamukkiriza.
Lazaro ow'e Betaniya alwala n'afa

Currently Selected:

Yow 10: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in