1
Yow 10:10
BIBULIYA ENTUKUVU
Omubbi taliiko ky'ajjirira kirala wabula okubba n'okutemula n'okuzikiriza; naye nze nzize zifune obulamu, ate zibufune mu bujjuvu.
Compare
Explore Yow 10:10
2
Yow 10:11
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe okubeera endiga ze.
Explore Yow 10:11
3
Yow 10:27
Endiga zange zo ziwulira eddoboozi lyange; nze nzimanyi, nazo zingoberera
Explore Yow 10:27
4
Yow 10:28
era nze nziwa obulamu obutaggwaawo. Tezigenda kuzikirira emirembe gyonna, era tewaliba ayinza kuzinzigya mu mikono.
Explore Yow 10:28
5
Yow 10:9
Nze mulyango; oli bw'ayingirira mu nze alirokoka; aliyingira n'afuluma, n'asanga eddundiro.
Explore Yow 10:9
6
Yow 10:14
Nze musumba omulungi; mmanyi ezange n'ezange zimmanyi
Explore Yow 10:14
7
Yow 10:29-30
Kitange, oyo eyazimpa, akira byonna; era tewali ayinza kuziggya mu mikono gya Taata; nze ne Taata tuli omu.”
Explore Yow 10:29-30
8
Yow 10:15
kyenkana nga Taata bw'ammanyi nange bwe mmanyi Taata; mpaayo n'obulamu bwange okubeera endiga zange.
Explore Yow 10:15
9
Yow 10:18
Tewali abunzigyako, wabula nze mbuwaayo ku bwange. Nnina obuyinza obw'okubweddiza. Ekiragiro ekyo nakiggya wa Taata.”
Explore Yow 10:18
10
Yow 10:7
Yezu n'ayongera okubagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti nze mulyango gw'endiga.
Explore Yow 10:7
11
Yow 10:12
Akolerera empeera, atali musumba yennyini, endiga nga si zize ku bubwe, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka awo n'adduka; omusege ne gulumba endiga ne guzibunya emiwabo.
Explore Yow 10:12
12
Yow 10:1
“Mbagambira ddala mazima nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, n'awalampa ayingirire awalala, omuntu oyo mubbi, munyazi
Explore Yow 10:1
Home
Bible
Plans
Videos