Yow 14
14
1“Emitima gyammwe gireme kweraliikirira. Mukkiriza Katonda, nange munzikirize. 2Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi. Singa si bwe kiri, nandibagambye nti ŋŋenda okubategekera ekifo? 3Bwe ndiba mmaze okugenda, nga mmaze n'okubategekera ekifo, ndidda nate ne mbatwala ewange; nze gye ndi nammwe gye muba mubeera. 4Gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.” 5#11,16; 20,24.Toma kwe kumugamba nti: “Mukama, gy'ogenda tetumanyiiyo; tuyinza tutya okumanya ekkubo?” 6#Mat 11,27; Luk 10,22.Yezu n'amugamba nti: “Nze kkubo, nze mazima, nze bulamu. Tewali atuuka eri Taata, wabula ng'ayise mu nze. 7Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye. Era n'okuva kati mumumanyi n'okumulaba mumulabye.” 8Filippo kwe kumugamba nti: “Mukama, tulage ku Taata, kinaatumala.” 9Yezu n'amugamba nti: “Filippo, mbadde nammwe ebbanga lino lyonna era temunnammanya? Anti alaba nze ng'alabye Taata; obadde otya okuŋŋamba nti: ‘Tulage ku Taata?’ 10Temukkiriza nga ndi mu Taata ne Taata ng'ali mu nze? Ebigambo nze bye njogera sibyogera ku bwange. Taata ali mu nze yennyini y'akola ebikolwa. 11Mukkirize nga ndi mu Taata ne Taata ng'ali mu nze. Waakiri mukkirize olw'ebikolwa byennyini. 12Mbagambira ddala mazima nti anzikiriza ebikolwa bye nkola naye alibikola, era alikola n'ebisingawo; kubanga nze ŋŋenda ewa Taata. 13Na buli kye munaasabanga Taata mu linnya lyange, ndikikola, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, ndikikola.
Asuubiza Mwoyo Omuwolereza
15“Obanga munjagala, mulikwata ebiragiro byange. 16#14,26; 15,26; 16,7-14.Nange ndisaba Taata, n'abawa Omuwolereza omulala, abeerere ddala nammwe emirembe gyonna; 17ye Mwoyo ow'amazima ensi gw'eteyinza kufuna, kubanga temulaba n'okumumanya temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga asula mu mmwe, alibabeeramu.
18“Sijja kubaleka nga bamulekwa; ndikomawo gye muli. 19Mu bbanga ttono ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe mulindaba; kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu. 20Ku lunaku olwo mulimanya nga bwe ndi mu Kitange, nammwe mu nze, ate nange mu mmwe. 21Alina ebiragiro byange n'abikwata, oyo y'anjagala. Ate anjagala, ne Kitange alimwagala, nange ndimwagala, era ndimweyoleka.” 22Yuda, atali oli Yisikariyoti, n'amugamba nti: “Mukama, ffe olitweyoleka otya n'oteeyoleka nsi?” 23Yezu n'amuddamu nti: “Oba oli anjagala, alikwata ekigambo kyange, ne Kitange alimwagala; tulijja gy'ali ne tukuba ekisulo kyaffe mu ye. 24Atanjagala, ebigambo byange tabikwata; ekigambo kye mwawulira si kyange, wabula kya Taata oli eyantuma.
25“Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe, 26naye Omuwolereza, ye Mwoyo Mutuukirivu, Taata gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna n'abajjukiza byonna bye mbagambye. 27Mbalekedde emirembe, mbawadde emirembe gyange; sigibawadde ng'ensi bw'egiwa. Emitima gyammwe gireke kweraliikirira na kutya. 28Muwulidde nga bwe mbagambye nti: ‘Ŋŋenda ate ndikomawo gye muli.’ Singa mubadde munjagala, mwandisanyuse, kubanga ŋŋenda ewa Taata; anti Taata mukulu okunsinga. 29Kale nno ekyo nkibagambye tekinnatuuka; bwe kirituuka, mulyoke mukkirize. 30Sikyayogedde bingi nammwe, kubanga omufuzi w'ensi eno ajja; nze tandiiko buyinza. 31Naye ensi etegeere nga njagala Taata, era nga nkola nga bwe yandagira. Musituke, mugire tuve wano.
B. YEZU AYONGERA OKUBUULIRIRA ABAYIGIRIZWA
Babe abayigirizwa abaleeta ebibala
Currently Selected:
Yow 14: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.