Yow 15
15
1“Nze muzabbibu gwennyini; Kitange ye mulimi. 2Buli ttabi eriri ku nze eritabala bibala, aliwawaagulako; ate buli ttabi eribala ebibala alisalira liryoke lyongere okubala ebibala. 3Kaakano mmwe muli balongoofu olw'okubeera ekigambo kye nababuulira. 4Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo, wabula nga liri ku muzabbibu, nammwe bwe mutayinza, wabula nga muli ku nze. 5Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange mu ye, oyo y'abala ebibala ebingi; kubanga nga temuli nange, temuliiko kye muyinza kukola. 6Oli atabeera mu nze, akanyugibwa ebweru ng'ettabi n'akala; amatabi ago gakuŋŋaanyizibwa ne gasuulibwa mu muliro, ne gookebwa. 7Bwe mubeera mu nze, n'ekigambo kyange ne kibeera mu mmwe, musabanga kyonna kye mwagala, kiribakolerwa. 8Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala abayigirizwa bange, Taata lw'afuna ekitiibwa. 9Nga Taata bwe yanjagala, nange bwe mbaagadde bwe ntyo. Musigale nno mu kwagala kwange. 10Bwe munaakwata ebiragiro byange, mujja kusigala nga mbaagala, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange ne nsigala ng'anjagala. 11Ebyo mbibagambye essanyu lyange libeere ne mummwe, ate essanyu lyammwe lituukirire.
Ekiragiro eky'okwagalana
12 #
13,34; 15,17; 1 Yow 3,23; 2 Yow 5. “Kino kye kiragiro kyange: mwagalanenga nga nze bwe mbaagadde. 13Tewali alina kwagala kusinga kuno, oli okuwaayo obulamu bwe okubeera mikwano gye. 14Mmwe kasita munaakolanga kye mbalagira, munaabanga mikwano gyange. 15Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanyi mukama we ky'akola. Naye nze mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nawulira ewa Kitange nabibamanyisa. 16Si mmwe mwalonda nze, wabula nze nalonda mmwe, ne mbateekawo mugende mubale ebibala, ebibala byammwe bibeerere, na buli kyonna kye muliba musabye Taata mu linnya lyange, akibawe. 17Kino kye mbalagira: mwagalanenga.
Ensi erikyawa abayigirizwa
18“Ensi bw'ebakyawanga, mumanyanga nga yasooka kukyawa nze mmwe nga tennabakyawa. 19Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, anti nga nabalonda ne mbaggya mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. 20#Mat 10,24; Luk 6,40; Yow 13,16.Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti: ‘Omuweereza takira mukama we.’ Obanga nze banjigganya, nammwe balibayigganya; obanga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe balikikwata. 21Ebyo byonna balibibakola olw'okubeera erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi. 22Singa sajja ne mbagamba, tebandibadde na kibi. Naye kati tebalina we bawampanyiza kibi kyabwe. 23Ankyaye aba akyaye ne Kitange. 24Singa saabakoleramu bikolwa omuntu omulala by'atakola, tebandibadde na kibi; naye kati baabiraba, ne bankyawa ko ne Kitange. 25Kwali kutuukiriza ekyawandiikibwa mu tteeka lyabwe nti: ‘Bankyayira bwereere.’ 26Naye Omuwolereza bw'alijja, oyo gwe ndibatumira okuva ewa Taata, ye Mwoyo ow'amazima, asibuka mu Taata, oyo alinjulira. 27Era nammwe muli bajulirwa, kubanga mubadde nange okuva olubereberye.
Currently Selected:
Yow 15: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.