1
Yow 14:27
BIBULIYA ENTUKUVU
Mbalekedde emirembe, mbawadde emirembe gyange; sigibawadde ng'ensi bw'egiwa. Emitima gyammwe gireke kweraliikirira na kutya.
Compare
Explore Yow 14:27
2
Yow 14:6
Yezu n'amugamba nti: “Nze kkubo, nze mazima, nze bulamu. Tewali atuuka eri Taata, wabula ng'ayise mu nze.
Explore Yow 14:6
3
Yow 14:1
“Emitima gyammwe gireme kweraliikirira. Mukkiriza Katonda, nange munzikirize.
Explore Yow 14:1
4
Yow 14:26
naye Omuwolereza, ye Mwoyo Mutuukirivu, Taata gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna n'abajjukiza byonna bye mbagambye.
Explore Yow 14:26
5
Yow 14:21
Alina ebiragiro byange n'abikwata, oyo y'anjagala. Ate anjagala, ne Kitange alimwagala, nange ndimwagala, era ndimweyoleka.”
Explore Yow 14:21
6
Yow 14:16-17
Nange ndisaba Taata, n'abawa Omuwolereza omulala, abeerere ddala nammwe emirembe gyonna; ye Mwoyo ow'amazima ensi gw'eteyinza kufuna, kubanga temulaba n'okumumanya temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga asula mu mmwe, alibabeeramu.
Explore Yow 14:16-17
7
Yow 14:13-14
Na buli kye munaasabanga Taata mu linnya lyange, ndikikola, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, ndikikola.
Explore Yow 14:13-14
8
Yow 14:15
“Obanga munjagala, mulikwata ebiragiro byange.
Explore Yow 14:15
9
Yow 14:2
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi. Singa si bwe kiri, nandibagambye nti ŋŋenda okubategekera ekifo?
Explore Yow 14:2
10
Yow 14:3
Bwe ndiba mmaze okugenda, nga mmaze n'okubategekera ekifo, ndidda nate ne mbatwala ewange; nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
Explore Yow 14:3
11
Yow 14:5
Toma kwe kumugamba nti: “Mukama, gy'ogenda tetumanyiiyo; tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
Explore Yow 14:5
Home
Bible
Plans
Videos