YouVersion Logo
Search Icon

Amas 42

42
1Yakobo bwe yawulira nti mu Misiri waliyo eŋŋano, n'agamba batabani be nti: “Lwaki muzze awo buli omu okutunula obutunuzi ku munne?” 2N'ayongerako nti: “Mpulidde nti mu Misiri waliyo eŋŋano; muserengete, mutugulireyo tulame, tuleme kufa.” 3Baganda ba Yozefu ekkumi ne baserengeta bagule eŋŋano mu Misiri. 4Benyamiini muganda wa Yozefu, Yakobo teyamusindika na baganda be ng'atya nti: “Sikulwa ng'akabenje kamugwiira.”
5Batabani ba Yisirayeli be bamu ku bantu abaagenda okugula eŋŋano. Anti ne mu nsi y'e Kanaani waaliyo enjala. 6Kati Yozefu yali mukungu atwala ensi, nga y'aguza abantu eŋŋano. Baganda be bwe bajja, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka ne bamuvunnamira. 7Bwe yabalaba n'abategeera, naye ne yeeyisa ng'atabamanyi, n'ayogera nabo na bukambwe; n'ababuuza nti: “Muva wa?” Ne baanukula nti: “Mu nsi y'e Kanaani, tuzze kugula mmere.”
8Yozefu baganda be yabategeera, naye bo tebaamumanya. 9#37,5-11.N'ajjukira ebirooto bye yali aloose ku bo, n'abagamba nti: “Muli bakessi; muzze kulaba bitundu bya nsi ebitakuumiddwa bulungi.” 10Ne bagamba nti: “Si bwe kityo, ssebo; wabula abaweereza bo bazze kugula mmere. 11Ffenna tuli baana ba kitaffe omu; tuli bantu balungi, abaweereza bo si bakessi.” 12Ye n'abaanukula nti: “Sikkiriza. Muzze kwekkaanya bitundu bya nsi ebitakuumiddwa bulungi.” 13Ko bo nti: “Abaweereza bo tuli ba luganda kkumi na babiri, baana ba kitaffe omu mu nsi Kanaani; omuggalanda ali ne kitaffe kaakati, omulala takyaliwo.” 14N'agamba nti: “Si kye ŋŋambye ekyo? Muli bakessi. 15Mujja kugezebwa bwe muti: Mazima Faraawo nga mulamu, temujja kuva wano, okutuusa nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano. 16Mutume omu mu mmwe aleete muganda wammwe; mmwe mujja kusigala mu kkomera, bye mugamba bimale okukakasibwa oba bya mazima. Oba si ekyo, Mazima Faraawo nga mulamu, muli bakessi.” 17N'abassa mu kkomera okumala ennaku ssatu.
18Ku lunaku olwokusatu n'agamba nti: “Mukole kye nnaagamba lwe munaalama, anti nange ntya Katonda: 19Oba mwogera mazima, muganda wammwe omu asigale mu kkomera; mmwe abalala mugende, mutwale ewammwe eŋŋano gye muguze olw'ab'omu maka gammwe abalumwa enjala; 20ne muganda wammwe asembayo obuto mumundeetere, ndyoke nkakase bye mugamba, lwe mutaafe.” Ne bakola ekyo. 21#37,18-27.Ne bagambagana bokka na bokka nti: “Tubonerezebwa lwa muganda waffe; twalaba ennaku gye yalimu n'atuwanjagira tuwonye obulamu bwe, naye ne tutamuwuliriza; ennaku eno kyevudde etujjira.” 22Rubeni n'agamba nti: “Saabagamba nti: ‘Muleme kukola mwana kibi?’ Mmwe temwampuliriza. Kati tubuuzibwa omusaayi gwe.” 23Baali tebamanyi nti Yozefu ategeera kubanga yayogeranga nabo mu mutaputa. 24Ne yeewungulako okuva we baali n'akaaba; bwe yadda n'ayogera gye bali n'abalondamu Simewoni n'amusiba, nga nabo weebali.
Badda e Kanaani
25Awo Yozefu n'alagira bajjuze ensawo zaabwe eŋŋano, ssente za buli omu bazizze mu nsawo ye, babawe n'entanda ey'ekkubo. Ne babakola bwe batyo. 26Bali ne bassa eŋŋano yaabwe ku ndogoyi zaabwe ne bagenda. 27Mu mugiini, omu bwe yasumulula ensawo awe ku ndogoyi ye emmere, n'alaba ssente ku mumwa gw'ensawo. 28N'agamba baganda be nti: “Ssente zange baazinzirizza; laba ziizino mu nsawo.” Ne bawuniikirira, buli omu n'atunula ku munne nga batidde, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky'atukoze?”
29Bwe baatuuka ewa kitaabwe Yakobo mu nsi Kanaani ne bamunyumiza byonna ebyabatuukirira, nga bagamba nti: 30“Omukulu w'ensi yatukambuwalira; yatutwala ng'abaali bagenze okuketta ensi. 31Ne tumwanukula nti: ‘Tuli bantu balungi, tetuli bakessi. 32Tuli ba luganda kkumi na babiri, tuzaalibwa kitaffe omu, omu ye takyaliwo, ate omuto ali ne kitaffe mu nsi Kanaani.’ 33Omusajja afuga ensi eyo n'atugamba nti: ‘Kuno kwe nnaategeerera nga temuli bakessi: muganda wammwe omu mumuleke wano, mutwale emmere olw'enjala eruma ab'ewammwe, mugende; 34muganda wammwe asembayo obuto mumundeetere, lwe nnaategeera nti temuli bakessi muli bantu balungi; olwo muganda wammwe ali mu kkomera nzija kumubaddiza; olwo nammwe mulikkirizibwa okusuubulira mu nsi eno.’ ”
35Bwe baali bafukumula ensawo, buli omu n'asanga akasawo ka ssente ze mu nsawo ye; bo ne kitaabwe bwe baalaba obusawo bwa ssente, ne batengera. 36Kitaabwe Yakobo n'agamba nti: “Mummazeeko abaana: Yozefu takyaliwo, Simewoni naye kye kimu, kati ne Benyamiini mwagala kumutwala. Buli kimu kigwiridde nze!”
37Rubeni n'amwanukula nti: “Bwe simukomyangawo gy'oli, batabani bange ababiri obattanga; mmunkwase, ŋŋenda kumukuddiza.” 38Naye ye n'agamba nti: “Omwana wange tajja kuserengeta nammwe. Muganda we yafa, ye yekka asigaddewo. Singa akabenje kamugwiira mu kkubo, omutwe gwange ogujjudde envi mugenda kuguserengesa emagombe mu nnaku.”
Batabani ba Yakobo badda e Misiri

Currently Selected:

Amas 42: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in