Amas 41
41
1Nga wayise emyaka ebiri, Faraawo n'afuna ekirooto. Laba, yali ayimiridde ku mugga Kiyira. 2Mu mugga ne muvaamu ente musanvu ennyirivu, engevvu, ne zirya mu lusa. 3Ate endala musanvu ne zigoberera nga ziva mu mugga; zino nga zirabika bubi, nga nkovvu; ne ziyimirira ku lubalama lw'omugga okuliraana ziri ennungi. 4Zino embi, enkovvu, ne zirya ziri omusanvu ennungi, engevvu. Faraawo n'asisimuka.
5N'addamu ne yeebaka, era n'aloota ogwokubiri: Laba, ebirimba by'eŋŋano musanvu ne bikula ku kikolo kimu, nga birembedde, birungi. 6Ebirimba ebirala musanvu ne bimera oluvannyuma lwa biri; byo nga bitono, biwotofu bikaze empewo y'ebuvanjuba. 7Bino ebitono ebiwotofu ne bimira biri omusanvu ebirungi ebirembedde. Faraawo n'asisimuka: Kyali kirooto bulooto.
8Enkeera Faraawo yali omutima gumutabanguse, n'atumya abalaguzi n'abantu abagezi bonna mu Misiri, n'abanyumiza ebirooto, ne wabulawo abimuvvuunula. 9Omukulu w'abasenero n'agamba Faraawo nti: “Olwa leero nzijukidde ensobi zange. 10Olumu Kabaka yasunguwalira abaweereza be, nze n'omukulu w'abafumbiro, n'atussa mu kkomera ly'omukulu w'abakuumi. 11Twaloota mu kiro kimu ebirooto buli omu, nga buli kirooto kirina amakulu gaakyo ku akiroose. 12Waaliyo eyo omulenzi Omwebureeyi omuweereza w'omukulu w'abakuumi, bwe twamunyumiza ebirooto byaffe, 13n'abivvuunula, buli omu n'amuwa amakulu g'ekirooto kye. Byonna byatuukirira nga bwe yavvuunula: nze nazzibwa ku mulimu gwange, ate oli n'awanikibwa ku kalabba.”
14Awo kabaka n'atumya Yozefu, n'aggyibwa bunnambiro mu kkomera, n'amwa enviiri, n'akyusa ebyambalo, n'ajja mu maaso ga Faraawo. 15Faraawo n'amugamba nti: “Naloose ekirooto, naye tewali akinzivuunulira. Naye mpulidde nti ggwe bw'owulira ekirooto, okivvuunula.” 16Yozefu n'amwanukula nti: “Si nze, wabula Katonda y'anaayanukula Faraawo mu ngeri eneemusanyusa.”
17Faraawo n'anyumiza Yozefu nti: “Mu kirooto, nabadde nyimiridde ku lubalama lwa Kiyira, 18ente musanvu ne zambuka nga ziva mu mugga; nga ngevvu, zifaanana bulungi, nnungi mu ndabika, ne zirya mu lusa. 19Ate endala musanvu ne zizigoberera, nga nnyenjebufu, zifaanana bubi nnyo era nga nkovvu; ente embi okwenkana awo sizirabangako mu Misiri mwonna. 20Zino enkovvu, embi mu ndabika, ne zirya ziri omusanvu engevvu ezaasooka. 21Naye bwe zaamaze okulya, nga kizibu okugamba nti ziriko kye ziridde; zaasigadde zitunula bubi nga bwe zaabadde mu kusooka. Ne nsisimuka. 22Ate mu kirooto kyange ekirala: laba, ebirimba musanvu byabadde nga bikuze ku kikolo kimu, birembedde era nga birungi. 23Ate n'ebirala musanvu nga biwotofu, bitono, nga bikaze empewo y'ebuvanjuba, nabyo ne bibiddirira. 24Ebirimba ebirerya ne bimira ebirimba ebirungi. Nnyumirizza abalaguzi ekirooto, waabuzeewo akivvuunula.”
25Yozefu n'agamba Faraawo nti: “Ebirooto bya kabaka biri ekintu kimu: Katonda abuulidde Faraawo ky'agenda okukola. 26Ente omusanvu ennungi gye myaka musanvu, n'ebirimba by'eŋŋano omusanvu ebirungi, gye myaka musanvu. Byombi ebirooto bitegeeza kimu. 27N'ente omusanvu enkovvu, embi, ezaddiridde ziri okuvaayo zitegeeza emyaka musanvu; n'ebirimba omusanvu ebirerya, ebikaze empewo y'ebuvanjuba, gye myaka musanvu egy'enjala. 28Nga bwe mbuulide Faraawo, bwe kiri, nti Katonda abikkulidde Faraawo ky'agenda okukola. 29Awo nno mu Misiri mwonna mujja kubaamu emyaka musanvu egy'ekyengera; 30egyo giriddirirwa emyaka musanvu emirala egy'enjala eryerabiza n'ekyengera wonna mu Misiri. Enjala ejja kusaanyaawo ensi. 31Omwero gulyerabirwa olw'enjala eriddirira, kubanga eriba ya maanyi nnyo. 32Ekirooto kyaddiddwamu Faraawo emirundi ebiri okutegeeza nti Katonda amaze okusalirawo ddala ekintu kino, era ajja kukituukiriza mangu. 33Kale nno Faraawo yanditaddewo omusajja omutegeevu, ate omugezi, amuwe okulabirira Misiri. 34Faraawo era yandironze bannampala bawooze ekyokutaano eky'amakungula mu myaka omusanvu egy'ekyengera. 35Bakuŋŋaanye eŋŋano yonna mu myaka omusanvu egy'ekyengera, etuumibwe mu bibuga ng'emmere nga Faraawo y'agirinako obuyinza, bagikuume; 36Emmere eno yanditeereddwa mu mawanika ku lw'obulungi bw'eggwanga, yeeyambisibwe mu myaka egy'enjala eneegwa mu Misiri, eggwanga bwe lityo lireme kuzikirira olw'ebbula ly'emmere.”
Yozefu akuzibwa
37Ekirowoozo ekyo ne kisanyusa Faraawo n'abakungu be bonna. 38Faraawo n'agamba abakungu be nti: “Tunaasobola okuzuula omuntu afaanana ng'ono, ajjudde omwoyo gwa Katonda?” 39Awo Faraawo n'agamba Yozefu nti: “Kubanga Katonda akwolese bino byonna, teri mulala akwenkana butegeevu. 40Ggwe onookulira ennyumba yange, abantu bange bonna ba kukugonderanga; nze nnaakusinzanga ku kitiibwa lwa nnamulondo eno yokka.” 41Faraawo n'agamba Yozefu nti: “Kati nkuwadde obuvunaanyizibwa ku nsi y'e Misiri yonna.” 42N'anaanula empeta ku mukono gwe n'aginaanika ku mukono gwa Yozefu; n'amwambaza ebyambalo ekyabafuta, n'amussa omukuufu ogwa zaabu mu bulago. 43N'amutuuza ku kigaali kye mu kifo ekimuddirira, nga waliwo akulemberamu ng'agenda aleekaana nti: “Mukole ekkubo.”#41,43 Oba nti “Mmuvunname!” Bw'atyo n'amuwa obuvunaanyizibwa ku nsi yonna ey'e Misiri.
44Kabaka n'agamba Yozefu nti: “Nze Faraawo, naye tewali n'omu mu nsi yonna ey'e Misiri anaasitula mukono oba kigere kye nga ggwe tomuwadde lukusa.” 45Faraawo n'atuuma Yozefu erinnya Zafenati-Paneya,#41,45 Zafunati-Paneya liri mu lulimi Lumisiri, nga litegeeza Omulokozi w'Ensi. n'amuwa Asenati muwala wa Potifera, kabona w'e Oni abeere mukazi we. Yozefu n'atandika okutalaaga wonna mu nsi y'e Misiri.
46Okulya obwami ewa Faraawo Yozefu yali wa myaka amakumi asatu. N'ava ewa Faraawo ne yeetooloola ebitundu byonna eby'e Misiri. 47Mu myaka omusanvu egy'ekyengera ettaka ne libaza nnyo. 48Yozefu n'akuŋŋaanya emmere ensi y'e Misiri gye yabaza mu myaka omusanvu, n'agitereka mu bibuga, nga mu buli kibuga aterekawo eyo eyabazibwa mu nnimiro ezetooloddewo. 49Yozefu yatuuma eŋŋano nnyingi nnyo okwenkana omusenyu gw'ennyanja okutuusa lwe yalekeraawo n'okuwandiika buli eyaleetebwanga, kubanga yasukkirira empima.
Batabani ba Yozefu
50Enjala nga tennagwa Yozefu yafuna abaana ab'obulenzi babiri mukazi we Asenati muwala wa Potifera kabona w'e Oni be yamuzaalira. 51Omuggulanda yamutuuma Manasse ng'agamba nti: “Omukama anneerabizza ebizibu byange byonna n'ennyumba ya kitange.”#41,51 Manasse liva mu, oba litegeeza, kwerabira. 52Owookubiri n'amutuuma Efurayimu, ng'agamba nti: “Katonda ampadde okuzaala mu nsi mwe ndabidde ennaku.”#41,52 Efurayimu livuga nga amazadde abiri kwe kugamba abaana be ababiri.
53Emyaka omusanvu egy'ekyengera mu Misiri ne giggwaako, 54emyaka omusanvu egy'enjala ne gitandika nga Yozefu bwe yali alanze. Mu nsi endala zonna nga njala, naye mu Misiri yonna emmere nga gy'eri. 55Enjala bwe yeeyongera mu Misiri, abantu ne beekubira omulanga ewa Faraawo nga basaba emmere. Ye n'ayanukula Abamisiri nti: “Mugende ewa Yozefu, kyonna ky'anaabagamba, kye muba mukola.” 56Enjala n'ebuna wonna mu nsi. Yozefu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri emmere, kubanga enjala yali ekanyizza mu nsi y'e Misiri. 57Amawanga gonna ne gajjanga mu Misiri, okugula eŋŋano ewa Yozefu, kubanga enjala yali ekanyizza mu nsi yonna.
Yozefu asisinkana baganda be omulundi ogusooka
Currently Selected:
Amas 41: BIBU1
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.